Surah As-Sharh ( The Opening Forth)

Surah As-Sharh ( The Opening Forth) - Luganda Aya count 8

1. Tetwakwanjululiza ekifubakyo (eri obwa Nabbi n’okumanya ebigambo eby’amagezi).
3. Obuzito obwo obwalibadde bukubendula omugongo.
5. (Kisaana kitegerekeke nti) mazima ddala buli awabeera obuzibu, wabaawo obwangu
6. Mazima ddala buli awabeera obuzibu wabaawo obwangu.
7. Bwoba nga omaze okukola emirimu (egikuyimirizaawo ku nsi) olwo nno yimirira (osinze Katondawo).
8. Era eri Omuleziwo Katonda, gy’oba oteeka e ssuubilyo lyonna.
Share