Surah Al-Burooj ( The Big Stars )

Surah Al-Burooj ( The Big Stars ) - Luganda Aya count 22

1. Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi).
2. Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero)
3. Era ndayira oyo aliwa obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku lunaku lw’enkomerero).
4. Katonda yagoba mu kusaasirakwe abo abaasima agannya.
10. Mazima abo abaawalagganya abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, bakutuukibwako e bibonerezo by’omuliro Jahannama era balina e bibonerezo by’omuliro ogwokya ennyo.
12. Mazima okukwata kwa Mukamaawo kwamaanyi nnyo.
13. Kubanga yye ye mutandisi wa buli kintu era yewookubizzaawo.
15. Yye ye nannyini Arishi, Oweekitiibwa.
18. Aga Firawo n’abantu ba Thamuud?
21. Wabula yo Kur'ani (eyassibwa ku Nabbi Muhammad) ya kitiibwa.
22. Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri.
Share