Surah Al-Mutaffifin (Those Who Deal in Fraud)

Surah Al-Mutaffifin (Those Who Deal in Fraud) - Luganda Aya count 36

1. Okuzikirira kuli ku abo abakendeeza ebipimo.
3. So nga bwe baba nga be balengera abalala, oba be bapima, bakendeeza (ebipimo).
5. Ku lunaku oluzito (olw'enkomerero).
6. Olunaku abantu lwe baliyimirira mu maaso g'omulezi w’ebitonde.
7. Mazima ddala ebiwandiiko by’emirimu gy’aboonoonyi biri mu Sijjiin.
9. Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebibi by’omuntu.
10. Okuzikirira ku lunaku olwo, kulibeera ku abo abalimbisa.
11. Abo abalimbisa olunaku lw’okusasulwa (olw’enkomerero).
12. Tewali alimbisa lunaku olwo okugyako oyo asukka ensalo z’amateeka ga Katonda era omwonoonyi.
15. Mazima ddala abatakkiriza ku lunaku olwo baakuziyizibwa okulaba Omulezi waabwe (Katonda).
18. Mazima ddala ebiwandiiko by’abakozi b’obulungi biri mu Illiyyiina.
20. Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebirungi by’omuntu.
21. Bakisemberera Ba malayika abali okumpi ne Katonda.
22. Mazima abakozi b’obulungi bagenda kubeera mu byengera.
23. Nga bali ku bitanda ebiwunde nga batunuulira ebintu ebibeetoolodde.
24. Essanyu eriribeera ku maaso gaabwe ligenda ku kulaga okwesiima kwe balibaamu.
25. Baligabulwanga omubisi (ogw’omu jjana) omusaanikire obulungi.
26. (Olunaagunywangako) ng'owulira akawoowo ka misk. Ne mu kyo, abaagala okuvuganya mu kukola emirimu emirungi bavuganye.
27. Omubisi ogwo gugenda kutabulwa mu Tasnim.
28. Tasnim nsulo erinywebwangako abalibeera okumpi ne Katonda.
33. Naye tebatumwanga kubeera nga bebalondoola emirimu gya bali.
34. Wabula olwaleero (olunaku lw'enkomerero) abo abakkiriza bajja kubeera nga basekerera abatakkiriza.
35. (Abakkiriza) nga bali ku bitanda ebiwunde nga babakeneka.
36. (Nga bwe bagamba nti) abaffe abatakkiriza basasuddwa bye baalinga bakola.
Share