Surah Abasa ( He frowned )

Surah Abasa ( He frowned ) - Luganda Aya count 42

1. (Nabbi Muhammad) azze emitaafu, n’akubayo amabega.
3. Ki ki ekikumanyisa ob'olyawo (muzibe oyo) aneetukuza.
11. Nedda si bwe kyandibadde, mazima yyo (Kur'ani) kya kwe buulirira.
13. Eri mu biwandiiko eby’ekitiibwa ennyo.
15. Ebiri mu mikono gya Ba Malayika abawandiisi.
17. Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Katonda?
18. (Omuntu talaba) kintu ki Katonda mwe yamutonda?
19. Mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera (byonna ebiri mutuukako).
20. Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa;
21. Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli.
22. Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde.
23. Wabula omuntu tatuukiriza ebyo Katonda by’amulagira okukola.
24. Omuntu ateekwa atunuulire by’alya (emitendera gye biyitamu).
25. Mazima ffe tufuukirira amazzi olufukirira (olusaanidde.)
26. Ne tulyoka twasa ettaka olwasa (olusaanira ebimera).
28. E mizabbibu n’ebimera e bizimba omubiri.
30. N’ennimiro ezisaakaatiddemu (e miti emiwanvu)
31. N’ebibala n’omuddo oguliibwako e bisolo.
38. Ebyenyi ebimu ku lunaku olwo bigenda kuba byakaayakana.
39. Nga biriko akamwenyumwenyu, nga bisanyufu.
Share