Surah Al-Ma'arij (The Ways of Ascent )

Surah Al-Ma'arij (The Ways of Ascent ) - Luganda Aya count 44

1. \"Mu ngeri y'okunyomerera\" omu ku bakafiiri\" yasaba oba ebibonerezo bijja bijje, so nga ate ddala byakujja.
2. Bituuke ku bakafiiri tewali agenda kubigaana kubatuukako.
3. Nga biva eri Katonda nnyini madaala agalinya muggulu.
4. Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana e myaka e mitwalo etaano (egy'okunsi).
5. Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulungi.
6. Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala.
7. Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi.
8. Ku lunaku eggulu lwelirikulukuta nga omuzigo omusanuuse.
10. Era tewali wamukwano agenda kubuuza bikwata ku ffa nfe we.
11. Bagenda kuba nga beeraba (naye nga tebayinza kuyambagana). Omwonoonyi olwokwagala okuwona ebibonerezo byolunaku olwo, aliyagala okwenunula nga awaayo abaanabe.
14. Nabantu bonna abali munsi, nga ekyo akikola awone ebibonerezo bya Katonda.
15. Tekigenda kuba nga bwayagala, mazima ayolekedde muliro ogubumbujja.
17. Gugenda kukowoola buli eyakubayo amabega nakyuka okuva ku mazima.
18. Era nga yakungaanyanga emmali nagitereka \"natagyamu mugabo gugitukuza\".
22. Okugyako abo abayimirizaawo e sswala.
28. Kubanga mazima ebibonerezo byamukama Katonda sibyakuwonwa.
32. Era abantu abalungi abogeddwako waggulu, bebatuukiriza obwesigwa bwabwe nendagaano zaabwe.
36. Lwaki abakafiiri bajja gyoli nga banguwa \"so nga ate bakulimbisa\".
37. Nga bali ku mukono gwo ogwa ddyo ne ku mukono ogwa kkono mu bibinja.
39. Nedda sibwekiri, mazima ffe twabakola nga tubajja mwebyo byebamanyi.
42. Ggwe baveeko babeere mu bukafiiri bwabwe nga bwebazannya okutuusa lwebalisisinkana olunaku lwabwe, olwo lwebalaganyisibwa.
Share