Surah At-Talaq ( The Divorce )

Surah At-Talaq ( The Divorce ) - Luganda Aya count 12

1. Owange ggwe Nabbi, bwe muba nga muta abakyala, mubate nga bali ku mbeera eyobutukuvu (Nga tebali mu Haidh), mubalenga n'obwegendereza ebbanga lya Idda (Idda kye kiseera omukyala ateereddwa kyamala nga tannaba ku kkirizibwa kuddamu kufumbirwa). Era mutye Katonda omulezi wa mmwe, temwetantalanga okubaggya mu mayumba gaabwe (mwe babadde bawangaalira nga bali mu bufumbo bwa bwe), so nga nabo tebavanga mu mayumba ago okugyako nga bakoze ebikolobero eby'olwatu. Ezo z'ensalo z'amateeka ga Katonda. Oyo yenna abuuka ensalo z'amateeka ga Katonda, aba y'eryazaamanyizza, tomanya oba olyawo Katonda naaleetawo embeera endala oluvanyuma lw'ekyo.
2. Kale nno bwe baba nga basemberedde okumalako ebbanga lya Idda yaabwe mubaddirengamu, mu ngeri ennungi, oba mwawukane nabo mu ngeri ennungi (ebbanga lya Idda bwe riba liweddeko). Mubeerewo n'abajulizi babiri abeesimbu mu bantu ba mmwe, muwenga obujulizi mu bwe simbu kulwa Katonda, ebyo nno bibuulirirwa nabyo oyo yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero. Bulijjo oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu.
7. Omusajja alina okulabirira omukyala okusinziira ku busobozibwe, nooyo Katonda gwe yawa ebyenfuna ebinafu naye alabirira omukyala okusinziira nga Katonda bwe yamuwa, Katonda tawaliriza muntu yenna okusukka kwe byo bye yamuwa. Katonda ajja kuteekawo obwangu oluvanyuma lwo buzito.
9. (Ebitundu ebyo) ne bikomba ku bukaawu bw'obujeemu bw'abyo, n'eba nga enkomerero y'obujeemu bwabwe kufaafaganirwa.
Share