Surah Al-An'am ( The Cattle )

Surah Al-An'am ( The Cattle ) - Luganda Aya count 165

2. Yye yooyo (Katonda) e yabatonda nga abajja mu ttaka, oluvanyuma naasalawo buli omu mu mmwe e bbanga lya naawangaala, ate nassaawo e bbanga e ddala e ggere e rimanyiddwa yye yekka, ensi lwerikoma. Ate oluvanyuma mmwe mubuusabuusa.
13. Era bibye (Katonda) byonna e bibeerawo e kiro n’emisana, anti bulijjo yye, yaawulira era amanyi e nnyo.
14. Gamba nti: ndeke Katonda neeteerewo e kintu e kirala kyonna e kitali yye! nga ye mukwano gwange ow’omunda, nga ate yye (Katonda) yeeyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, era yye, yaaliisa ng’ate talisiibwa gamba nti, mazima nze nalagirwa okuba omusaale mwabo abeewaayo era tobeeranga mu bagatta Katonda n'ebintu e birala.
15. Gamba, nti mazima nze ntya nnyo e bibonerezo by'olunaku oluzito singa mba njeemedde mukama omulabirizi wange.
16. Omuntu alyesambisibwa ku byo olunaku olwo, mazima Katonda aliba amusaasidde era e kyo bwe buwanguzi obwa nnamaddala.
18. Era yye, ye Nantalemwa, alina mu mikono gye e nsonga z’abaddu bonna, anti yye ye mugoba nsonga amanyi buli kimu.
20. Abo be twaawa e kitabo bamutegeera (Nabbi Muhammad) nga bwebategeera abaana baabwe, abo abaafaafaganirwa e myoyo gyabwe (nebatategeera ntegeera ntuufu) abo nno bo tebakkiriza (byo bagamba).
21. Ani yeeyisa obubi okusinga oyo atemerera Katonda nga ddala amanyi nti alimba! oba n’alimbisa e bigambo bya Katonda. Anti mazima abeeyisa obubi tebagenda kwesiima.
23. Awo nno bwe balimala okugwa mu kizibu (olwo kubuuzibwa e kibuuzo e kyo) tebaliba na kya kukola okugyako okugaana ne bagamba nti, tulayira Katonda Mukama omulabirizi waffe tetubangako mu bagatta ku Katonda bintu birala.
26. Nga nabo bagaana abantu okujja eri Nabbi, era nga nabo be nnyini bamwesamba, (mweekyo) tebazikiriza okugyako myoyo gya bwe naye tebategeera.
27. Singa olisobola okubalaba bwe baliyimirizibwa ku muliro, olwo nno ne bagamba nti nga tulabye singa tuzzibwaayo (ku nsi) ne tutalimbisa bigambo bya Mukama omulabirizi waffe olwo nno tube mu bakkiriza.
28. Olwo nno biriba bye yolese gye bali e byo bye baakwekanga mu kusooka, ne bwe baaliziddwaayo baalizzeemu okukola e kya bagaanibwa, era bo baliba balimba (mu byonna bye baliba boogera).
29. Era bagamba nti tewali bulamu bulala, okugyako buno bwe tuwangala obw'okunsi, era tetugenda kuzuukizibwa.
30. Waalisaanye olabe, e mbeera gye balibeeramu nga bayimiriziddwa mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, n’abagamba nti kino kye mulaba si mazima, bagenda kugamba nti bwe gutyo bwe guli ayi Mukama omulabirizi waffe naagamba nti: kale nno mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo olwe'byo bye mwawakanya.
35. E ky'okukwawukanako bwe kiba nga kikuyitiriddeko, kale nno bwoba nga osobodde okufuna omukwesese mu ttaka oba amadaala agakutwala waggulu obeere ng’obaleetera e kya magero kyonna (kola e kyo, naye nga tekirina makulu kubanga) singa Katonda yayagala yaali bagattidde ku bulungamu, kale (Nabbi Muhammad) tobeeranga mu batategeera.
37. (Abagatta Katonda e bintu e birala) bagamba nti singa assiddwaako e kya magero kyonna okuva e wa Mukama omulabirizi we, bagambe nti mazima Katonda asobola okussa e kyamagero kyonna ,naye abasinga obungi tebamanyi.
38. Tewali kintu kyonna kitambula ku nsi nga kiramu ka kibe kinyonyi e kibuuka n'ebiwawaatiro bya kyo okugyako bulijjo bikolera mu bibinja nga mmwe, tewali kintu kyonna kye twaleka okugyako nga twakiwandiika mu Lauhul Mahfuudhu (Eggwandisizo lya Katonda) oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa bwe gye bagenda okunganyizibwa.
40. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mulaba mutya singa biba bibajjidde e bibonerezo bya Katonda oba olunaku lwe nkomerero nga lwe lubajjidde, (mu mbeera eyo muyinza) okulaajanira atali Katonda omu bwe muba nga mwogera mazima.
41. E kituufu kiri nti mulaajanira Katonda wa mmwe e yabakola yekka, n'abaggyirawo e kyo kye mumumulaajanidde bwaba nga ayagadde nemwerabira n'okwerabira e byo bye mubadde mumugattako.
44. Kavuna baaleka e byo bye bajjukizibwa na byo, netubaggulirawo e miryango gya buli kintu mu byenfuna, okutuusiza ddala lwe baayitiriza okweyagalira mu e byo bye twabawa, netubabonereza mbagirawo nebatuuka n’okuba nti tebalina kantu konna.
45. Katonda yabazikiriza okutuusiza ddala ku asembayo mwabo abeeyisa obubi, bulijjo okutenderezebwa kwonna kwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
46. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) mulaba mutya singa Katonda abafuula ba kiggala era ba muzibe, naateeka ne nvumbo ku mitima gya mmwe, katonda ani atali Katonda omu ayinza okubibaddiza, laba e ngeri gye tunnyonnyolamu obubonero (bwange) ate bo ne babuvaako.
47. Gamba, mmwe mulaba nti singa e bibonerezo bya Katonda bibatuukako e kibwatukira, oba ne bijja nga mutegedde, waliwo abayinza okubonerezebwa abalala okugyako abo abeeyisa obubi.
48. Bulijjo tetutuma babaka okugyako nga basanyusa abakozi b’obulungi era nga bwe batiisa abakozi b’ebibi, oyo yenna akkiriza n’akola e mirimu e mirungi abo tebalina kutya, era tebagenda kunakuwala.
50. Gamba ggwe (Nabbi Muhammad nti) si bagamba nti nze nnina amawanika ga Katonda, wadde okubagamba nti manyi e byekusifu, nga bwe siyinza kubagamba nti mazima nze ndi Malayika, tewali kyengoberera okugyako obubaka obutumwa gyendi. Gamba nti muzibe nooyo alaba benkana, abaffe temufumiitiriza.
51. Tiisa nayo (Kur’ani) abo abatya okuzuukizibwa ne bazzibwa eri Mukama omulabirizi waabwe, nga oggyeko yye, tebalina wa mukwano ffa nfe wadde omuwolereza. Olwo nno balyoke babeere mu batya Katonda.
53. Mu ngeri yeemu abantu twabagezesa nga tukozesa bannaabwe (abamu netubafuula abagagga abalala baavu, abamu) nebatuuka okugamba nti abo mu ffe fenna Katonda beyasalawo okugonnomolako e kyengera (e kyobukkiriza), (naye okutuuka okwogera e kyo tebamanyi nti) bulijjo Katonda amanyi nnyo e bikwata ku baddu abeebaza.
57. Gamba nti mazima nze ndi ku mazima agava ewa Mukama omulabirizi wange, naye nga mmwe mugalimbisa, kye mwagala kijje amangu (e kyebibonerezo) tekiri mu mikono gyange, okusalawo tekuli wantu wonna okugyako wa Katonda, byonna byayogera mazima, era bulijjo yaasinga abalamuzi bonna.
60. Era yye yooyo abeebasa e kiro (nemuba nga abafudde) era amanyi bye mwakoze e misana, ate oluvanyuma abazza e ngulu nga bukedde (ne kifanana nga abazuukizza okuva mu kufa,) ekyo kisobozese buli kitonde okumalayo ebbanga eryakigererwa. Oluvanyuma gyali yeeri obuddo bwa mmwe, olwo nno abategeeza byonna bye mwakolanga.
62. Oluvanyuma ne bazzibwa ewa Katonda Mukama waabwe owanamaddala, mukimanye nti obuyinza bwonna bubwe, era nga bulijjo mwangu mu kubala okusinga ababazi bonna.
63. Gamba ani ayinza okubataasa ku nzikiza yo'lukalu n’enizikiza y'enyanja, nemuba nga mumusaba olw'okulaga obugonvu mu lwatu ne mu kyama nemutuuka n'okugamba nti singa (gwetusaba) atuwonya obuzibu buno tujja kubeerera ddala mu beebaza.
64. (Tebayinza kumufuna n’olwekyo) gamba nti Katonda yajja okubibawonya, na mu buli kizibu kyonna. E kyo bwe kiggwa ate nemugatta ku Katonda e bintu e birala.
66. (Kur’ani) abantu bo bagirimbisa, ate nga ddala yo mazima meereere, bagambe nti n’olwekyo si nze mbasalirawo.
67. Buli kintu kibaako e kkomo, (nakino) bwe kirituuka mugenda kumanyira ddala.
69. Era abo abatya Katonda tebavunaanyizibwa ku kintu kyonna kikwata ku bantu abo, (wabula omulimu gwabwe) kubuulirira oba olyawo balyoke batye Katonda.
70. Vva kwabo abaafuula e ddiini yaabwe e kintu e kyomuzannyo era e kyekinyumu, obulamu bw'ensi ne bubagayaaza, naye buulirira nga okozesa Kur’ani omwoyo guleme kuzikirizibwa olw'ebyo bye yakola, tegulina nga oggyeko Katonda, w’amukwano wadde omuwolereza, nebweguliwaayo e nnunuzi e faanana etya, tegenda kukkirizibwa kuva gyeguli, abo beebo abaazikirizibwa olw'ebyo bye baakola, baliweebwa e byokunywa e by’olweje, era balissibwako e bibonerezo e biruma ennyo olw’ebyo bye baawakanyanga.
71. Gamba nti, tuleke Katonda tusinze e byo e bitatugasa! era e bitayinza kukutusaako kabi! tutambuzibwe e kyenyumanyuma oluvanyuma lwa Katonda okutulungamya! tufaanane nga oyo Sitane gwezibuza mu nsi, n’asoberwa naaba mu masangazira so nga alina mikwano gye abamuyita okujja eri obulungamu, (nga bagamba nti) jangu eno (ekyo bwekiba nga tekisobola kwemalirira) gamba nti mazima okulungamya kwa Katonda, bwe bulungamu bwokka, era twalagirwa okwewa ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde.
75. Mu ngeri y’emu twalaga Ibrahim ebiri mu bwengula ne nsi (nengeri namateeka kwebitambulira) alyoke abeere mu baddu abannyikivu mu bukkiriza.
76. Ekiro bwe kyamubikka, yalaba e munyenye naagamba nti oyo ye Mukama omulabirizi wange, e munyenye bweyabula (Ibrahim) naagamba nti nze saagala ba katonda babulawo.
77. Bweyalaba omwezi nga gwetadde naagamba nti oyo ye Mukama omulabirizi wange, omwezi bwe gwabula (Ibrahim) naagamba nti Mukama omulabirizi wange bwatannungamye nja kubeerera ddala mu bantu ababuze.
78. Ate nno bweyalaba nga e njuba evuddeyo naagamba nti: ono ye Mukama omulabirizi wange, ono ye munene ddala, (Enjuba) bweyagwa naagamba nti abange abantu bange nze e byokugatta ku Katonda e bintu e birala si biriimu.
79. Mazima nze njolekezza e kyenyi kyange eri oyo eyatonda e ggulu omusanvu ne nsi, nga njawukanira ddala ku nsinza zonna. Siri wa mu bagatta Katonda na bintu birala.
80. Abantube ne bamuwakanya naagamba nti mumpakanya ku Katonda nga ate mazima yannungamya, era nga sitya e byo bye mumugattako (okuba nga bintusaako akabi), be ppo nga Mukama omulabirizi wange alina kyakkirizza, Mukama omulabirizi wange yeetooloola buli kintu mu kumanya, abaffe temwebuulirira.
82. (E kituufu kiri nti) abo abakkiriza ne batatabula kweyisa bubi (Shirik), mu bukkiriza bwabwe, abo nno be balina e mirembe era abo be baalungamizibwa.
83. Obwo bwe bujulizi bwaffe bwe twawa Ibrahim akozese ku bantube (e kyamussa mu kifo e kyenjawulo), bulijjo tusitula amadaala gw’oyo gwetuba twagadde, anti mazima ddala Mukama omulabiriziwo agoba nsonga mumanyi nnyo.
87. Era (twalungamya abantu abalala) nga bava mu bakadde baabo ne bazzukulu baabwe ne baganda baabwe, era netubafuula ab'enjawulo, era netubalungamya ku kubo e ggolokofu.
88. Okwo kwe kulungamya kwa Katonda, alungamya na kwo oyo gwaba ayagadde mu baddube, naye singa baagatta e kintu e kirala kyonna ku Katonda, bandiyonoonekeddwa e byo bye baali bakola.
90. Abo beebo Katonda be yalungamya, obulungamu bwabwe bwoteekwa okugoberera, ogambe nti, (kyenkola) si kibasabirako mpeera kyenkola, tekiri kyo (kintu kirala kyonna) okugyako okuba nti kujjukiza eri abantu bonna.
92. Kura’ni eno kitabo twakissa nga kya mukisa, nga kikakasa e byo e byakulembera, era okikozese nga otiisa abantu b’omu (Makkah), maama w'ebibuga, n'abantu bo'mu bitundu e bikyetoolodde. Bo abo abakkiriza olunaku lw’enkomerero bakkiriza e kitabo kino, era bulijjo e sswala zaabwe bazikuuma butiribiri.
93. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera ku Katonda e bigambo e byo bulimba, oba naagamba nti nnaweebwa obubaka so nga taweebwanga bubaka bwonna, era ani mubi okusinga oyo agamba nti njakuleeta e bigambo e bifaanana n'ebyo Katonda bye yassa! naye n’omala olaba e kiseera abeeyisa obubi bwe babeera mu bulumi bw'okufa nga ba Malayika bagolodde e mikono gyabwe (nga bwebagamba nti,) muggyemu e myoyo gyammwe, olwaleero luno mugenda kusasulwa e bibonerezo e binyoomesa olw'ebyo bye mwayogeranga ku Katonda e byobutaliimu, e kyabatuusa okwekuza nemuva ku bigambo bye.
96. (Era ye yooyo) ayasa n’ayawula obudde ne bufuuka e misana, e kiro naakifuula e kiwummulo e njuba n’omwezi nga byombi bitambula nga bigoberera e nkola gye yabiteerawo, okwo kwekusalawo kwa nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.
97. Era yye yooyo e yabateerawo e munyeenye mube nga mulungama nazo nga muli mu bizikiza, by’olukalu n'ebizikiza by’enyanja mazima tunnyonnyodde e bigambo olunnyonnyola olumala eri abantu abamanyi.
98. Era ye yooyo eyabakola nga abaggya mu muntu omu, nga musinziira mu nnabaana wa ba maama ba mmwe, era nga musinziira mu migongo gya bataata, tunnyonnyodde e bigambo (olunnyonnyola olumala) eri abantu abategeera.
100. Bateeka ku Katonda ababeezi abava mu Majinni so nga ye yabatonda, wabula ate nebamupaatiikako abaana ab’obulenzi n’abobuwala ekitalina wekiva, Katonda asukkulumye era yeesambye ku ebyo bye bamutemerera.
102. Oyo nno ye Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kintu kyonna kisinzibwa mu butuufu okugyako yye yekka, omutonzi wa buli kintu, kale nno ggwe mubamusinza, era bulijjo y’alina obuyinza ku buli kintu.
103. Amaaso tegasobola kumulaba, so nga ate ye agalaba n’amalayo e bintu byonna, anti ye Katonda alina obusobozi bw’okumanya buli kintu atalina kiyinza kumwekweka.
104. Mazima obujulizi bubajjidde nga buva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, omuntu anaalaba anaaba ye yambye yekka, ate oyo anaaziba amaaso akabi k’ekyo kadda ku ye. Nze siri wa kuddaawo kubalunda.
105. Bwetutyo nno bwe tunnyonnyola e bigambo, batuuke n’okugamba nti (Muhammad) wasoma (ku ba Yudaaya okutuuka okumanya bino byonna) era tube nga tubinnyonnyola eri abantu abamanyi.
106. (Ggwe Muhammad ky’oba okola) goberera e byo e bissibwa gyoli nga biva ewa Mukama omulabirizi wo, tewali kintu kyonna kirina kusinzibwa okugyako ye, era weesambe abagatta e bintu e birala ku Katonda.
107. Singa Katonda yayagala tebandimugasseeko bintu birala, era tetukussangawo obe kalondoozi ku bo, era ggwe toyinza kuba avunaanyizibwa ku nsonga zaabwe.
112. (Nga bwetukugezesa ggwe Nabbi Muhammad n’oba n’abalabe mu bakaafiiri) ,bwe kityo buli Nabbi twamuteekako omulabe nga ali mu bantu ne mu majinni, abamu batumira bannaabwe e bigambo e biwoomu, naye nga bibi olwe kigendererwa kyo kugayaaza, naye singa Mukama omulabiriziwo aba ayagadde tebandikikoze kale nno baleke n'ebyo bye bagunjawo.
114. Nyinza okuleka Katonda nenfuna omulala ansalirawo! nga ate yye Katonda y'oyo eyassa gye muli e kitabo( kuran) nga kinnyonnyola buli kimu, abo nno betwawa e kitabo( Tawraat n'enjili) bamanyi mazima ddala kyassibwa nga kiva ewa Mukama omulabiriziwo, nga kyonna mazima meereere, kale nno tobeer mu babuusabuusa.
115. E kigambo kya Mukama omulabirizi wo kituukiridde nga kyonna mazima na bwenkanya, tewali asobola kukyusa bigambo bye era bulijjo yye awulira era amanyi nnyo.
116. Singa on'ogondera abantu abasinga obungi mu nsi bajja kukubuza bakujje ku kkubo lya Katonda (byonna bye bakola temuli) okugyako okuba nti bateebereza, kye bakola tekiri okugyako kuteeba buteebi.
117. Mazima Mukama omulabirizi wo y'asinga okutegeera oyo eyabula ne ava ku kkubo lye, era nga bwali nti yaasinga okutegeera ebikwata ku balungama.
119. Ate muyinza mutya obutalya e byo e byogereddwako e rinnya lya Katonda nga mazima yabannyonnyola e byo bye yaziyiza ku mmwe, mpozzi e kyo kye muba mukoze olwo buwaze, naye ate mazima ddala abantu bangi babuza (abalala) nga bagoberera okwagala kwa bwe okutaliimu kwesigama ku kumanya, mazima bulijjo Mukama omulabiriziwo amanyi nnyo e bikwata ku basukka e nsaloze.
127. Olw'ebyo bye baali bakola ku nsi bagenda kufuna e nyumba ey'emirembe ewa Mukama omulabirizi waabwe, era yye ye mutaasa waabwe.
128. (Ggwe Nabbi Muhammad) lowooza olunaku Katonda lwalikungwanya (abakaafiiri) bonna, (abagambe nti) abange mmwe amajinni mwabuza abantu bangi nnyo, mikwano gya majinni mu bantu ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe fenna twesanyusizanga wamu netutuuka ku kiseera kyaffe kye watugerera okuba ku nsi, Katonda n'abagamba nti omuliro bwe buddo bwa mmwe, muli baakugubeeramu bugenderevu okugyako oyo Katonda gwaliba yagadde, anti mazima Mukama omulabiriziwo mugoba nsonga muyitirivu wa kumanya.
129. Bwe tutyo bulijjo abeeyisa obubi tubafuula mikwano gy’a ba nnaabwe bwe bafaanana olw'ebyo bye bakola.
131. Ekyo nno (e kyokutuma ababaka) kyaliwo lwakuba nti Mukama omulabiriziwo yali tayinza kuzirikiza bantu ba kitundu kyonna olw'okweyisa obubi nga abantu b'omukitundu e kyo tebamaze kumanyisibwa (mateekage).
132. Buli omu ku bo alina amadaala okusinziira ku bye yakola Mukama Katonda omulabiriziwo tayinza kumala galeka e byo bye bakola.
133. Mukama omulabiriziwo y’atalina kye yeetaaga, ye nannyini kusaasira, bwaba ayagadde asobola okubajjawo oluvanyuma lwa mmwe naaleeta abo baaba ayagadde, nga nammwe bwe yabassaawo nga abajja mu zzadde ly’abantu abalala.
134. Mazima e byo bye mulagaanyisibwa bya kutuukirira ate mmwe temugenda kusobola kubiremesa.
135. Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) abange abantu bange mubeere ku nkola ya mmwe nange, nkole e byange, kyaddaaki mujja kumanya obuddo obw'enkomerero e nnungi bwani, mazima ddala bulijjo abeeyisa obubi tebagenda kutuuka ku buwanguzi.
136. (Mu bibi abantu abatagenda kutuuka ku buwanguzi bye bakola kwe kuba nti) bateerawo Katonda omugabo mu birime ne mu bisolo, mu kujweteka kwabwe ne bagamba nti, guno omugabo gw’a Katonda, naguno gwa ba katonda baffe abalala, oguba ogwa ba katonda baabwe tegutuuka w’a Katonda, ate oguba ogwa Katonda, gwo gutuuka ku ba katonda baabwe abalala, e nnamula yaabwe mbi.
137. Mu ngeri yeemu, abagatta ku Katonda e bintu e birala, ba katonda baabwe baabalaga nti kirungi okutta abaana baabwe, nebabatuusa okukola ekivve (eky'okutta omuntu ) nga bababuza, era babe nga babuzaabuza e ddiini yaabwe, singa Katonda yayagala tebandikikoze kale baleke n'ebyo bye bagunja.
138. Era abagatta ku Katonda ebintu e birala mu ndaba yaabwe bagamba nti, bino e bisolo n’ebirime tebikkirizibwa kuriibwa okugyako oyo gwetuba twagadde, ate nebaba n’ebisolo bye baziza okwebagala, ate nebaba n’ebisolo e birala bye batayogererako linnya lya Katonda ( nga bagenda okubisala) byonna nga bigambo bigunje ku Katonda, Katonda ajja kubasasula olw'ebyo bye baali bagunja.
139. Era (abagatta ku Katonda e bintu e birala) baagamba nti amawako g’ebisolo gakkirizibwa kuliibwa basajja bokka mu ffe, era tegakkirizibwa bakyala baffe, naye (amawako ago) bwegavaamu nga gafudde olwo bonna bakkiziribwa okubirya, Katonda ajja kubasasula olw'okutetenkanya kwabwe okwo, anti mazima Katonda mugoba nsonga, muyitirizu wa kumanya.
141. Era yye (Katonda) yooyo eyateekawo amalimiro agabalira ku ttaka naago agatabalira ku ttaka, n’emitende n'ebimera ( ebirala) nga okuwooma kwabyo kwawukamu, n'e mizayituuni n’enkoma mawanga ebifaanagana mundabika yaabyo ate nga obuwoomu bwabyo bwawukamu, mulye e bibala byabyo bwe biba nga bibaze ate mujjemu n'omugabo gwabyo (gwa Zakka) olunaku lwemuba lwe mubikungula, wabula temusukkanga e kigero kyabyo ( mu nkozesa ne mu kutoola zzaka), anti Katonda tayagala basukka kigero.
142. Era Katonda yateekawo e bisolo e byetikka n’ebirala nga biggyibwako eby'okwaliira, mulye mu ebyo Katonda bye yabagabira temugobereranga obuwufu bwa Sitane, anti mazima yye gye muli mulabe wa lulango.
143. E bisolo e birundibwa (Katonda bye yatukkiriza okulya) e mitindo gyabyo giri munaana, e biri mu ndiga, n’ebiri mu mbuzi, bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti e nsajja z’ombiriri Katonda ze yaziza ku mmwe, oba e nkazi, oba amawako g’azombiriri, mumbulire nga musinziira ku kumanya bwe muba nga bye mwogera bya mazima.
145. Gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti: mu bubaka obwampebwa temuli kiri Haramu kwoyo aba ayagadde okukirya, be ppo nga ebadde nnyamanfu oba omusaayi ogwa kafekye, oba e nnyama ye mbizzi, mazima e kikolwa e ky’okulya e bintu e byo kivve, oba (mu biri haram) y'ensolo esalibwa mu bugyemu nga eyogereddwaako e rinnya eritali lya Katonda. Wabula omuntu aba alemereddwa nga takikola lwa jjoogo wadde okumenya amateeka ga Katonda, mazima Mukama omulabiriziwo musonyiyi era musaasizi.
148. Abo abagatta ebintu e birala ku Katonda bajja kugamba nti singa Katonda yayagala ffe ne bakadde baffe tetwandigasse kintu kirala ku Katonda, era tewali kintu kye twandifudde Haramu, bwe batyo n'abaakulembera bwe baalimbisa okutuusa lwe baakomba ku bukaawu bwe bibonerezo byaffe, gamba nti abaffe (mwogera e byo) nga mulina kye musinziirako! kale mu kitulage, tewali kye mugoberera okugyako okufumiitiriza era kye mukola si kirala okugyako okuteebereza.
149. Gamba (Ggwe Muhammad) obujulizi obumatiza bwa Katonda. Kale nno singa yayagala mwenna yaalibalungamizza.
152. Era temusembereranga e mmaali ya ba mulekwa okugyako mu ngeri esinga okuba e nnungi okutuusa omwana oyo nga akuze mu birowoozo, era mutuukirize e bipimo n'ebigero mu bwesimbu, omuntu tetumulaalikako okugyako e kyo kyasobola, era bwe muba nga mwogera mulage amazima aweebwako obujulizi ne bwaba wa luganda, era mu ngeri e yenjawulo mutuukirize obweyamu bwa mmwe bwe mwawa Katonda. E byo nno Katonda yabibakalaatira kibayambe okujjukira (mwekube mu kifuba).
154. Era (mukimanye) nti twawa Musa e kitabo nga kujjuuliriza eri oyo akola obulungi era nga kittottola buli kintu, era nga bulungamu na kusaasira, kibasobozese okukkiriza nti bagenda kusisinkana Mukama omulabirizi waabwe.
157. Oba muleme kugamba nti singa mazima ddala twassibwako e kitabo twandibadde balungamu okusinga bali, mazima obunnyonnyofu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe n'obulungamu n’okusaasira byabajjira, kaakati ani eyeeyisa obubi okusinga oyo alimbisa e bigambo bya Katonda n'abyawukanako, abo abaawukana ku bigambo byaffe tugenda kubasasula nga tubatuusaako e bibonerezo e bikakali olw'okuva kwabwe ku bigambo bya Katonda.
158. Abaffe balina kye balindirira mpozzi ba malayika okubajjira, oba Mukama omulabirizi wo ajje, oba obumu ku bubonero bwa Mukama omulabiriziwo bujje, (wabula) olunaku, obumu ku bubonero bwa mukama omulabiriziwo lwe burijja, omuntu tagenda kuganyulwa mu kukkiriza kwe kavuna aliba nga mu kusooka teyali mukkiriza oba obukkiriza bwe nga tebwamuyamba kukola burungi gamba (ggwe Muhammad) nti mulindirire mazima naffe tulindiridde.
159. Mazima ddala abo abatemaatema mu ddiini yaabwe, nebafuuka biwayi tolina kakaatwe nabo ku kintu kyonna, mazima e nsonga zaabwe ziri wa Katonda (yaagenda okubalamula), olwo nno alyoke abategeeze e byo bye baakolanga.
160. Omuntu alijja nga akoze e kirungi kimu, alifuna e mpeera yaakyo e mirundi kkumi, ate oyo alijja nga akoze e kibi, tagenda kusasulwa okugyako e kyenkana n'ekyo kye yakola, era nga bulijjo, nabo tebagenda kuyisibwa bubi.
161. Gamba mazima nze Mukama omulabirizi wange yannungamya ku kkubo e ggolokofu, nga ddiini e nnambulukufu, nga ye ddiini ya Ibrahim, eyali omwesimbu munzikiriza, era tabangako wa mubagatta ku Katonda kintu kirala.
162. Gamba (Ggwe Muhammad) nti mazima okusaala kwange, n’okusaddaaka kwange e bisolo, n’obulamu bwange, n’okufa kwange, byonna biri eri Mukama omulabirizi w’ebitonde.
164. Gamba Ggwe (Nabbi Muhammad) abaffe nyinza okuleka Katonda nenfuula e kintu e kirala kyonna okuba nga ye mulabirizi wange, so ng’ate yye ye mulabirizi w’abuli kintu, tewali kibi muntu kyakola okugyako nga kidda gyali, era tewali muntu yeetikka kibi kya mulala. Oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe yeeri obuddo bwa mmwe.
165. Era yye yooyo eyabateekawo nga mujja musikira obuvunaanyizibwa ku nsi, era naasitula abamu ku mmwe mu madaala, olwo nno abenga abagezesa mu ebyo bye yabawa, mazima Mukama omulabirizi wo mwangu wa kubonereza, era mazima ddala yye musonyiyi nnyo musaasizi.
Share