Surah Al-Hashr ( The Gathering )

Surah Al-Hashr ( The Gathering ) - Luganda Aya count 24

2. Y'eyafulumya abo abaakafuwala mu bayudaaya (Ab'ekiika kya ba Banu Nadhiri) mu ngeri y'okubawangangusa okuva mu mayumba gaabwe olufuluma olwasooka. Temulowoozangako mmwe abakkiriza nti (ba Banu Nadhiri) bayinza okugobwa ate bo (ba Banu Nadhiri) baalowooza nti ebigo byabwe bijja kulemesa Katonda okubatuusaako ekyo kyayagala. Katonda nakibatuusaako mu kiseera webaali batakisuubirira. Era Katonda nateeka mu mitima gyabwe okutya okwensusso nga bo bennyini be bemenyera amayumba gaabwe n'emikono gyabwe, n'emikono gya bakkiriza negikola ekyo. Kale nno abategeera mumwe mugyemu ekyokuyiga.
4. Ekyo nno lwansonga yaakuba nti baawakanya Katonda n'omubakawe. Ate nga oyo yenna awakanya Katonda, amanye nti mazima Katonda muyitirivu waakubonereza.
5. Emiti gye ntende gyonna gyemwatema oba jemwaleka nga giyimiridde nga bwegyali, ebyo byonna byakolebwa lwa kiragiro kya Katonda, era alyoke aswaze abo abonoonyi.
7. Emmaali eyo yonna Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza okuva mu byalo (bya ba Banu Nadhiri ng'olutalo luggweredde mu kutegeeragana) eba y'a Katonda, n'omubakawe, n'aboluganda lwa Nabbi olwokumpi, ne ba mulekwa, ne ba masikiini, n'abatambuze naabo abafunye ebizibu mu ngendo zaabwe. Emmaali eyo ereme kuba nga abeegasa nayo bagagga bokka mu mmwe. Ebyo byonna omubaka byaba abaleetedde mubitwale. Ate ebyo byonna byaba abaziyizza mubireke mutye Katonda anti Katonda muyitirivu w'akubonereza.
12. Wabula singa (abayudaaya) bagobwa, abananfunsi tebagenda nabo. Ate ne bwebaba balwanyisiddwa tebabataasa. So nga ne bwebaba bagezezzaako okubataasa babaddukako, n'oluvanyuma nebatafuna kutaasibwa kwonna.
14. (Abayudaaya n'abananfunsi) tebayinza kubalwanyisa nga bali wamu okugyako nga bali mu byalo ebiriko ebigo, oba nga bali mabega w'abisenge. Obulabe wakati waabwe bokka buyitirivu obalowooza okuba nti bali wamu, so nga emitima gyaabwe myawukamu. Ekyo nno lwakuba nti bo kibiina kyabantu abatategeera.
15. (Ba Banu Nadhiri) bafaanana naabo abaabakulembera e mabegako katono (Abakafiiri be Makkah abaawangulwa obubi ennyo ku lutalo lwe Badri) baaloza ku bukaawu bwe bikolwa byabwe (ku nsi) ate nga balinayo ebibonerezo ebiruma ennyo (ku nkomerero).
16. (Abananfunsi mu kusendasenda abayudaaya) balinga Sitaane bwe gamba omuntu nti kaafuwala. Wabula bwakaafuwala Sitaane emugamba nti nze siri naawe, mazima nze ntya Katonda omulezi w'ebitonde.
22. Yye Katonda, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye yekka, amanyi ebitalabwa n'ebirabwa. Yye yemusaasizi, oweekisa ekibuna kuno ku nsi, aliba n'ekisa ekyenjawulo ku lunaku lw'enkomerero.
23. Yye Katonda, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, omufuzi wa buli kintu, atuukiridde mu buli kimu, kiwamirembe, akakasa obukkiriza bwa baddube, kalondoozi wa buli kintu, nantakubwa ku mukono, kkirimaanyi, kabwejungira. Katonda wanjawulo nnyo kwe byo bye bamugattako.
24. Yye Katonda, yooyo omutonzi, eyatandikawo ebitonde mu kubitonda nga talina kyalabirako, eyafaananya buli kintu nga bwa kyagala, alina amannya amalungi, buli ekiri mu ggulu n'ensi kimutendereza. Era yye Katonda, ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
Share