Surah Al-Maidah ( The Table spread with Food )

Surah Al-Maidah ( The Table spread with Food ) - Luganda Aya count 120

2. Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Halaali ebyo Katonda byeyabalambira nti biri Haramu, era nga bwemutaasanye kukyusa myezi gya mizizo nemugifuula egyokulwaniramu, era temwekiikanga mu kkubo lyebirabo ebiba bireetebwa e Makkah wadde ensolo ennambe nga z’abirabo, wadde abantu abagenda okulambula e nyumba ey’emizizo, ababa bagenda okunoonya obulungi n’okusiima okuva ewa Katonda waabwe, naye bwe muba musumulukuse okuva mu mizizo gya (Hijja ne Umurah) olwonno muyiggenga. Olwokuba nti abantu baabaziyiza okutuuka ku muzikiti ogw’emizizo, tekibatuusanga okubayisa obubi, era muyambaganenga ku kukola obulungi n’okutya Katonda, so temuyambagananga ku kukola ebibi n’obulumbaganyi, era mutye Katonda, mazima Katonda muyitirivu w’abibonerezo.
3. Muziyiziddwa okulya ennyamanfu n’omusayi (Kafece) nennyama y’embizzi n’ekyo ekiba kyogereddwako eritali linnya lya Katonda nga kisalibwa, n’ekifudde olw’okukubwa, n’ekifudde olwokugwa, n’ekitomeddwa kinnakyo, n’ekiriiriddwako ensolo enkambwe, okugyako byemuba mwanguyidde nemubisala, era muziyiziddwa okulya ennyama y’ebisolo ebiba bisaliddwa olwokubiwongera atali Katonda omu ateekwa okusinzibwa, era muziyiziddwa okweraguza nga mukozesa obusaale. Okukola ekimu kwebyo, buba bugyemu, olwaleero abo abakaafuwala tebakyalina ssuubi kubalemesa ddiini yammwe, kale temubatya, mutye nze. Olwaleero mbajjulizza eddiini yammwe, era nembajjuliza ebyengera byange, era nembasalirawo obusiramu okuba nga yeddiini (yammwe) kale nno omuntu eyeesanga mu buzibu obwenjala, so ssi lwakugenderera kumenya tteeka (naamala alya ku bigaaniddwa), mazima Katonda musonyiyi wa kisa.
4. Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) ebibakkirizibwa (okulya), gamba nti mukkirizibwa okulya ebirungi, era (mukkirizibwa okulya) n’okulya ebyo ebikwatiddwa ebiyigga byemutendese nemuyigiriza ddala okusinziira nga Katonda bweyabayigiriza, bweguba gutyo mulye ebyo bye bibakwatira, era mubyogerereko erinnya lya Katonda (nga mubisindika okugenda okukwata ensolo) era mutye Katonda, anti mazima Katonda mwangu wa kubala.
5. Olwaleero mukkirizibwa okulya e birungi, nga era n'ennyama esaliddwa abaaweebwa ekitabo bwekkiriziddwa gyemuli, n'ennyama yammwe ekkiriziddwa gye bali, era mukkirizibwa okuwasa ab'ensa mu bakyala abakkiriza nga bwemukiriziddwa abakyala abensa mwabo abaaweebwa ekitabo oluberyeberye lwa mmwe, kavuna mubawa Amahare gaabwe nga mubawasa mu bufumbo obutukuvu, so ssi mu bwenzi wadde okuba nti mubatwala nga bakyala ba mmwe abebbali, n'omuntu atakolera ku mateeka g’abukkiriza emirimu gye giba gimufudde, nga naye ku lunaku lw’enkomerero agenda kubeera mu bafaafaganiddwa.
6. Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugenda okusaala muteekeddwa okunaaza ebyenyi byammwe, n’emikono gyammwe okutuusa mu nkokola, era musiige ku mitwe gyammwe, munaaze n’ebigere byammwe okutuuka ku bukongovule, bwe muba nga mulina Janaba muteekeddwa okunaaba naye bwe mubanga abalwadde, oba nga muli ku safari, oba omu ku mmwe nga avudde mukumala ekyetaago ekyobutonde, oba nemukwata ku bakyala (mumbera ezo zonna) nemutafuna mazzi, kale nno, mutayammame, nga mukozesa ettaka eddungi, (ekyo mukikola) nga musiiga ku byenyi byammwe n’emikono gyammwe, Katonda tayagalangako kubateerawo bukalubo bwonna, naye ayagala kubatukuza era abajjulize ekyengerakye musobole okubeera nga mwebaza.
19. Abange mmwe abaweebwa ekitabo, mazima abagyidde omubaka waffe nga abayigiriza oluvanyuma lwokuyitawo akaseera nga tewali mubaka, muleme kugamba nti tetwajjirwa atuwa mawulire ga ssanyu ag’ejjana oba okututiisa omuliro, ekituufu kiri nti abawa amawulire agessanyu, era nga abatiisa n’omuliro yabajjira. Bulijjo Katonda muyinza waabuli kintu.
25. (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze sifuga okugyako omwoyo gwange ne muganda wange, lamula wakati waffe ne wakati w’abantu abonoonyi.
26. Katonda (n’alamula) wakati waabwe naagamba nti ekyokuyingira kibagaaniddwa okumala emyaka ana, gyebaamala nga babulubuutira mu nsi, n’olwekyo tewennyamira olwabantu abajeemu.
29. Mazima nze njagala ogende n’ekibi kyange n’ekikyo (singa onzita), olwo nno obeere mu bantu bo mu muliro, era nga bulijjo eyo ye mpeera y’abantu abeeyisa obubi.
33. Mazima ddala empeera y’abo abalwanyisa Katonda n’omubaka we nebasaasaanya obwonoonefu mu nsi, (ekibonerezo kyabwe) kuttibwa, kukomererwa ku musaalaba, oba emikono na magulu gaabwe kutemwaako mu ngeri y’okuwaanyisibwa (nga bwebamutemako omukono ogwa dddyo, okugulu bamutemako kwa kkono) oba bawangangusibwe okuva mu nsi yaabwe, ekyo nno nga kubakkakkanya kuno ku nsi era nga ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kutuusibwako ebibonerezo ebikakali.
35. Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era munoonye ekkubo erituuka gy'ali, era munyiikire nnyo mu kuweereza mu kkubo lye, ekiribayamba okubeera mu balituuka ku buwangizi (ku lunaku lw’enkomerero).
36. Mazima abo abaakaafuwala singa mazima byonna ebiri mu nsi n’ebiringa byo nga obitadde wamu nebaagala okwenunula nabyo okuwona ebibonerezo by’olunaku lw’enkomerero, tebyandikkiriziddwa okuva gyebali, era baakussibwako e bibonerezo e biruma e nnyo.
38. Omubbi omusajja n'omubbi omukazi mubatemeko emikono gyaabwe bombi, nga mpeera (kibonerezo) yeekyo kyebakoze, era nga kyakulabirako ekyassibwawo Katonda ekikanga abalala, bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
39. Oyo yenna eyeenenya oluvanyuma lwokweyisa kwe obubi naalongoosa, mazima Katonda akkiriza okwenenya kwe, anti bulijjo mazima Katonda musonyiyi musaasizi.
41. Owange ggwe omubaka, tebakunakuwazanga abo abavuganya mu kuwakanya(obwannabbi bwo), mu abo abagamba n'emimwa gyaabwe nti tukkirizza so nga e mitima gyabwe tegikkiriza. Ne mu Bayudaaya abakkiriza e bigambo byobulimba, era abawuliriza kulwa bantu abalala ababa tebazze mu nkungaanazo nebakyusa e bigambo okubiggya mu bifo byabyo nga bagamba (bannaabwe nti), bwemuweebwa kino mukitwale, bwekitabaweebwa mwekeke, naye Katonda gwaba ayagadde okugezesa toyinza kumuyamba mu kintu kyonna ewa Katonda, abo beebo Katonda baatayagala kutukuza mitima gyaabwe, obuswaavu buli ku bo kuno ku nsi, era ne ku lunaku lw’enkomerero bagenda kussibwaako ebibonerezo ebikambwe.
45. Era (mu Taurat eyo) twabalaalikako nti mazima omuntu attibwa olwokutta omuntu, n’eriiso liggyibwamu olw’okugyamu eriiso, nennyindo esalwako olwokusala ennyindo y'omulala, n'okutu kusalwako olwokusala okutu kw'omuntu, n'erinnyo balikulamu olwokukuula erinnyo lyomuntu, n'ebiwundu bisasulwa. Wabula omuntu akisonyiwa kimubeerera e nsonga yo kumusonyiwa e bibibye. Era bulijjo omuntu yenna atalamuza Katonda bye yassa abo nno be bantu abeeyisa obubi.
50. Ennamula y’ebiseera byobutamanya gyebaagala okukozesa! ani ayinza okuwa okulamula okulungi okusinga okuva ewa Katonda eri abo abakozesa amagezi gaabwe mu butuufu!.
56. Oyo yenna asalawo mukwano gwe ow’omunda okuba Katonda n'omubaka we, n'abo abakkiriza, anti bulijjo e kibiina kya Katonda bo be b'okuwangula.
59. Gamba nti: abange mmwe abaaweebwa e kitabo, abaffe waliwo kyemutunyiigira okugyako okuba nti tukkiriza Katonda n'ebyo e byassibwa gyetuli, n'ebyo e byassibwa oluberyeberye era nga na lwakuba nti abasinga mu mmwe boonoonyi.
69. Mazima abo abakkiriza, na Bayudaaya ne ba Swabi-uuna (be bantu abataasinza bintu bitali Katonda omu so nga ate tebaalina ddini ya mu ggulu yonna gyebaaliko) n'abakrisitayo, oyo yenna eyakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero naakola e mirimu e mirungi (abo) tebalina kutya era tebagenda kunakuwala.
71. Baalowooza nti ekyo tekijja kuvaako mutawaana, naye nebafuuka ba muzibe era bakiggala, oluvanyuma Katonda yakkiriza okwenenya kwaabwe, ate bangi mu bo baddamu nebafuuka ba muzibe era bakiggala, Katonda bulijjo alaba byebakola.
75. Masiya mutabani wa Mariam tali kintu kirala kyonna okugyako okuba nti Mubaka wa Katonda era nga ddala ababaka bangi abaamukulembera, ne Maama we yali Mukazi omukkiriza ow'amazima bombi baalyanga emmere, tunula olabe engeri gyetubannyonnyolamu ebigambo ate tunula olabe engeri gyebawugulwa.
76. Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abaffe musinza ebintu ebitali Katonda, ebitayinza kubatuusaako kabi konna wadde ekirungi, era Katonda yye bulijjo awulira era amanyi nnyo.
77. Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekigero ekyetaagisa nga mukola eddiini yammwe ebyobutaliimu, era temugobereranga okwagala kw’abantu, mazima bo basooka nebabula era nebabuza n’abantu bangi, era nebabulira ddala okuva ku kkubo eggolokofu.
82. Ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'obulabe eri abo abakkiriza be bayudaaya naabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala era ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'omukwano ogw'okumpi eri abo abakkiriza beebo abagamba nti mazima ffe tuli ba Kristayo, ekyo nno lwakuba nti mazima ddala mu bo mulimu abayivu mu bye ddiini, na Basosorodoti era nalwakuba nti bo tebeekuluntaza.
84. Tuyinza tutya obutakkiriza Katonda ku mazima gano agamaze okutujjira! ate nga era tuyaayaanira okuba nga Mukama omukuumi waffe atuyingiza e jjana awamu n'abantu abalongoofu.
87. Abange mmwe abakkiriza temufuulanga Haramu e birungi ebyo Katonda bye yabakkiriza, mu ngeri y'emu temusukkanga e nsalo z'ebyo Katonda bye yabagaana, bulijjo mazima Katonda tayagala basukka nsalo (z’amateekage).
92. Era mugondere Katonda, mugondere n’omubaka mwewalire ddala e bikolwa e bibi, bwemutakola mutyo olwo nno mumanye nti mazima ddala omubaka waffe kyateekwa okukola, kyekyokutuusa obubaka mulwatu.
94. Abange mmwe abakkiriza (bwe munaabeeranga mu mikolo gya Hijja ne Umrah) Katonda ajja kubagezesa n’ensonga y’okuyigga ebisolo nga mubikwata n’emikono gyammwe, era nga mubifumita n'amafumu gammwe olwo nno Katonda alyoke amanye oyo amutya mu mmwe, awamu n’okuba nti tamulabako, oyo yenna an’amenya e tteeka lino oluvanyuma lw’okumanya bino agenda kutuusibwako e bibonerezo e biruma e nnyo.
95. Abange mmwe abakkiriza temuyigganga, nga muli mu mizizo gya Hijja oba Umrah, oyo yenna mu mmwe atta e kisolo kyo muttale nga agenderedde, ateekwa okuwa omutango, nga awaayo mu nsolo e zirundibwa e yenkana neeri gyeyasse, (nga ekyo okukituukako), kisalibwawo abantu babiri abeesimbu mu mmwe, ekyo nga kirabo e kiteekwa okutuusibwa ku Kaaba. Bwekitaba ekyo, ateekwa okuwa omutango gwokuliisa abanaku, oba okusiiba e nnaku ezenkana omutango ogwo, ebyo byonna biri bwebityo alyoke abe nga akomba ku bukaawu bwekikolwa kye yetantala. Byo e byakulembera Katonda yabisonyiwa, naye oyo addamu Katonda agenda kumubonereza, bulijjo Katonda nantakubwa ku mukono asobola okubonereza oyo gwaba asazeewo okubonereza.
96. Mukkirizibwa okuvuba n'okulya e biva mu nnyanja ku lw'okuyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'obwabatambuze naye mugaaniddwa okuyigga ku lukalu ebbanga lyemumala nga muli mu mizizo gya Hijja ne Umrah, bulijjo mutye Katonda oyo gyali gye mulikunganyizibwa.
97. Katonda yassaawo Kaaba e nyumba e y'emizizo nga y’eyimiriddeko e ntambuza y’ebintu byonna e bikwata ku bantu era nateekawo e myezi e gyemizizo n’ebisolo e bitonebwa, nebisolo e birekebwa nga birambiddwa e byo byonna bibayambe okumanya nti mazima ddala Katonda amanyi ebyo byonna e biri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi, era nti mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku buli kintu.
98. Muteekeddwa okumanya nti mazima Katonda muyitirivu wabibonerezo era nga ddala bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa.
99. Omubaka talina kyavunaanwa, okugyako okubatuusaako obubaka, era bulijjo Katonda amanyi byemukola mulwatu ne bye mukweka.
100. Gamba (ggwe Nabbi Muhammad nti) e kibi n'ekirungi tebifaanana newaakubadde nga oluusi osikirizibwa obungi bw'ekibi, kale mutye Katonda abange mmwe abalina amagezi agakola obulungi mulyoke mube mu balituuka ku buwanguzi (ku lunaku lw'enkomerero).
103. Katonda ssi ye yateekawo (e byokulondobamu ebisolo e bimu e birundibwa n’ebiweebwa amasanamu) nga okusalako okutu kw’ensolo bweba e zadde e nzaalo e ziwera, wadde eyo gyebaawulako nga y’alubaale, wadde e kyokwevuma ensolo e zaala e nkazi zokka, wadde e kyokwekwasa seddume w'e ngamiya e zaazisizza e ngamiya e nnyingi. Naye mazima ddala abo abaakaafuwala (mu kuwanuuza kwa bwe okwo), batemerera Katonda, wabula bulijjo bangi mu bo tebategeera.
106. Abange mmwe abakkiriza omu ku mmwe bwawulira, nga ayinza okuba nga asemberedde okufa, mussengawo abajulizi babiri abeesimbu mu mmwe nga akola ekiraamo, oba abalala babiri abatali ba mu mmwe. Bwe mubanga ku safari nemutuukibwako ekizibu kyokufa (abajulizi ababiri) mubatuuza oluvanyuma lw’esswala nebalayira ku linnya lya Katonda, ekyo mukituukako bwe muba nga mufunye okubuusabuusa (era bateekeddwa okugamba nti) tetugenda kukkiriza kukyusa kiraamo kino olwekintu kyonna, newaakubadde nga gwetuwaako obujulizi wa luganda lwaffe olw,okumpi, era tetugenda kukweka bujulizi bwa Katonda anti bwetukikola tubeera mu boonoonyi.
107. Bwekizuulwa nti abajulizi beekobanye nebakola ekibi ku nsonga y’obujulizi, olwo mangu ddala musseewo abalala babiri badde mu kifo kyabwe bombi, nga baggyibwa mu bantu bali ababiri mwe baggyibwa, nebalayira Katonda (era nebagamba nti) obujulizi bwaffe bwa maanyi okusinga obwa bali ababiri era tetugenderedde kubaweebuula anti bwetukola ekyo, tuba tugudde mu luse lwa beeyisa obubi.
109. Mujjukire olunaku Katonda lwalikunganya ababaka nagamba nti abantu baabaanukula batya, ne bagamba nti: tetumanyi bye baagamba anti mazima bulijjo ggwe omanyidde ddala e bikusike.
110. Era mufumiitirize Katonda bwaligamba nti owange Isa mutabani wa Mariam, jjukira e byengera byange bye nnakuwa ne bye nnawa Maamawo, bwe nnakuwagira ne mwoyo mutukuvu n'oyogera n’abantu ng’okyali mu kibaya, ne bwe wasajjakula, era jjukira bwennakuyigiriza okuwandiika n’okukozesa amagezi ne Taurat ne Injili, era jjukira bwe wasobola okubumba mu ttaka e kibumbe kye kinyonyi ku lw’okukkiriza kwange, n’okifuuwamu ne kiba e kinyonyi ku lw'okukkiriza kwange, era n’osobola okuwonya ba Muzibe n’abolukeke, byonna lwa kukkiriza kwa nge, era jjukira bwe wasabiranga abafu ne bazuukira olw'okukkiriza kwange, era jjukira bwe nnakuwonya abaana ba Israil bwe wabajjira n’obunnyonnyofu, abaakaafuwala mu bo ne bagamba nti bino byaleese si kirala okugyako ddogo e ryeyolefu.
116. Era jjukira Katonda bwe yagamba nti owange Isa Mutabani wa Mariam ggwe wagamba abantu nti nze ne Mmange ffembi mutufuule ba Katonda, muve ku Katonda. Naagamba nti Mukama omulabirizi wange oli musukkulumu, siyinza kwetantala kwogera kitali kyange, mu butuufu, bwe mba nakyogera mazima wakimanya, anti omanyi byonna ebiri mu nze atenga nze simanyi biri mu ggwe, (ekireeta e njawulo eyo) anti mazima ddala ggwe omanyi e byekusifu.
117. Ssaabagamba okugyako kye wandagira, e ky’okubagamba nti: musinze Katonda mukama omulabirizi wange era nga ye mukama omulabirizi wa mmwe, era nali mujulizi ku byonna bye baakolanga e bbanga lye nnamala nga ndi nabo, naye bwe wantwala, ggwe wasigala omanyi byonna bye bakola. Anti bulijjo ggwe osobola okumanya e bikwata ku buli kintu.
Share