Surah As-Saaffat ( Those Ranges in Ranks )

Surah As-Saaffat ( Those Ranges in Ranks ) - Luganda Aya count 182

1. Ndayidde ba Malayika abasimbye ennyiriri ennambulukufu.
2. Olwo nno abo abagoba ebire olugoba (bigende bitonnyese enkuba).
3. N'abo abasoma ebigambo ebibuulirira.
5. Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba (n'e bugwanjuba).
6. Mazima ffe twawunda eggulu ly'okunsi n'okulabika obulungi kw'e mmunyeenye (ezirijjudde).
9. Nga zifuumuulwa emisinde era nga zigenda kufuna ebibonerezo ebitakoma.
10. Okugyako (Sitane) eyo enyakula ekigambo kyeba enyakudde olwo nno neekasukirirwa ekitawuliro ekibumbujja.
12. Wabula gwe weewuunya (ng’okungiriza) ate nga bo bajeeja bujeeja.
14. Era bwe balaba akabonero konna (mu bubonero bwa Katonda) nga bajeeja.
16. (Nebongerako nti) bwe tuliba tufudde netufuuka ettaka era netuba magumba ameereere abaffe tulizuukizibwa!.
18. Gamba nti yee (mulizuukizibwa) nga nammwe mukkakkanyiziddwa.
19. Mazima kyo (ekyo kuzuukira) luliba olufuuwa mu ngombe lumu oligenda okulaba nga bo batunula.
21. (Ba Malayika baligamba nti) luno lwe lunaku lw'okwawula (wakati wa balongoofu n’aboonoonyi) olwo lwe mwali mulimbisa.
22. (Ba Malayika baliragirwa nti) mukungaanye abo abeeyisa obubi wamu n'ababafaanana n'ebyo bye baasinzanga.
24. Era nga (temunnabatwala) mubayimirize (mu bbaliro) mazima bo balina okubuuzibwa.
25. (Olwo nno bagambibwe) nti: mubaddeki lwaki temwetaasa!.
26. Wabula bo ku lunaku olwa leero bagenda kukkiriza (nti tebalina bya kukola kuvvuunuka buzibu bwe balibeeramu).
28. (Abagoberezi) ne bagamba (bebaagoberera) nti mazima mmwe mwalinga mutujjira nga mutuyita ku ddyo.
29. (Abaagobererwa) baligamba nti nedda wabula temwali bakkiriza.
31. Olwo nno ekigambo kya Mukama omulabirizi waffe nekitukakatako (fenna) mazima ddala ffe tuteekwa kukomba (ku bibonerezo).
32. Twababuza era mazima ddala ffe (okugenda okubabuza) twali babuze.
37. Nedda (Nabbi Muhammad talinga bwe bagamba) wabula yajja na mazima era n’akakasa ababaka (abaamukulembera).
38. Mazima ddala mmwe muli ba kukomba ku bibonerezo ebiruma ennyo.
42. (Biriba) ebibala era nga nebaba nga bo bagabulwa.
44. (Baliba) ku bitanda nga buli bamu boolekedde bannaabwe.
45. Nga babayisaamu (mu kubagabula) eggiraasi z'ebyo'kunywa eziva mu nsulo ezitakalira.
46. (Eby'okunywa ebyo) nga byeru ebiriwoomera abanywi.
47. Tebigenda kubaamu kirumya mutwe era nga bwebatagenda kutamiira olw'okubinywa.
48. Era baliba balina abakyala ab'amaaso amakkakkamu amanene.
49. Abakyala abo balibanga amagi ageegenderezebwa obutayatika.
54. Omukozi w’obulungi aligamba nti abaffe mulaba ekiri mu muliro.
55. Olwo alitunulayo n’amulaba ng’ali mu makkati g’omuliro Jahiimu.
56. Aligamba nti ndayidde Katonda wabula kata onzikirize.
57. Singa si byengera bya Mukama omulabirizi wange nnaalibadde mu baleeteddwa (eri omuliro).
61. (N’olwekyo) ku lw’ebintu nga bino abatakabana baalitakabanye.
70. N’olwekyo bo mu buwufu bwabwe batwalibwa kantindiggwa.
71. Era mazima oluberyeberye lwabwe abasinga obungi mu baasooka baabula.
74. (Tewali yawona) okugyako abaddu ba Katonda abalondobemu.
78. Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma.
79. Emirembe gibeere ku Nuhu (n’okwogerwako okulungi) mu bitonde byonna.
80. Mazima ffe bwe tutyo bwe tusasula abakozi b’obulungi.
81. Mazima (Nuhu) ali mu baddu baffe abakkiriza aba nnamaddala.
82. Oluvanyuma twazikiriza abasigadde (abatakkiriza Nuhu).
84. Kubanga yajja ewa Mukama omulabiriziwe n’omutima omuyonjo.
87. Olwo Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna, ki kye mumulowoozaako?.
88. Olwo nno naatunula olutunula mu munyeenye (nga enkola ya bantube bwe yali).
89. (Naagamba nti) mazima nze ndi mulwadde.
93. Olwo kwe kutandika okubatema n’omukono gwe ogwa ddyo.
94. Olwo (abantu ba Ibrahim bwe baamanya kyakoze) bajja gyali nga banguwa.
95. (Ibrahim) naagamba nti, musinza ebyo bye mubajja!.
97. Nebagamba nti mumuzimbire ekifo (mukikumemu omuliro) olwo nno mumukasuke mu nnabeengeya w’omuliro.
98. Mu kukola ekyo, baagenderera okumukolera olukwe (bamutte) wabula bbo netubafuula ab'awansi (bwe twalemesa olukwe lwabwe).
99. (Awo Ibrahim naasalawo okusenguka) era naagamba nti mazima nze ngenda ewa Mukama omulabirizi wange ajja kunnungamya.
100. Ayi Mukama omulabirizi wange ngabira (omwana) nga wa mu balongoofu.
101. Olwo netumusanyusa nti ajja kufuna omwana omulenzi ow'ekisa.
102. Omwana oyo (Ismail) bwe yatandika okutambula naye (Ibrahim) naagamba nti owange mutabani wange nkirabye lunye mu kirooto mazima nze nga nkusala kale tunula olabe, ogamba ki? (Ismail) naagamba nti owange taata kola ekyo kyolagirwa, Katonda nga ayagadde ojja kunsanga nga ndi mu bagumiikiriza.
103. Bombi bwe baamala okwewaayo eri (ekiragiro kya Katonda) naamugalamiza nga amuwunzise.
106. Mazima ekyo (ekyatuuka ku Ibrahim n’omwana we) ddala kwe kugezesa okw'olwatu.
107. Era (Ismail) twamununula n'ensolo ensuffu eyasalibwa.
108. Netumulekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma.
111. Mazima ye wa mu baddu baffe abakkiriza (abannamaddala).
119. Era bombi twabalekerawo okwogerwako okulungi mu balijja oluvanyuma.
122. Mazima bombi ba mu baddu baffe abakkiriza (abannamaddala).
124. Jjukira ekiseera bwe yagamba abantu be abaffe temutya (Katonda).
126. Katonda ye Mukama omulabirizi wa mmwe era ye Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka.
127. Ne bamulimbisa n’olwekyo mazima bo baakuleetebwa (babitebye).
129. Era twamulekera okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma.
135. Okugyako omukadde (Mukyalawe) eyali mu baasigala.
140. Jjukira (bwe yasuulawo omulimu Katonda gwe yamukwasa) naalinnya eryato eryali limaze okutikka.
141. (Bwe lyasemberera okusaanawo olw'okuba lyali litisse nnyo), olwo nno (Yunus) yeetaba mu kalulu (ak'okusalawo ab'okukasukibwa mu nnyanja, akalulu kaagenda okuggwa) nga ali mu be kakutte (ne bamukasuka mu nnyanja).
142. Olwo nno ekyennyanja kwe kumumira nga ye y'anenyezebwa.
144. Yandibadde mu lubuto lwakyo okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.
146. Twamumereza ekimera eky'ekiryo (kimusiikirize kimugobeko n'ensowera).
149. Kaakano ggwe babuuze (aba Kuraish) nti Mukama omulabiriziwo y'aba n'abawala bo nebaba n’abalenzi!.
153. (Katonda) asalawo okutwala abawala n'aleka abalenzi!.
156. Oba mulina obujulizi obweyolefu (nga kye kibakozesa ekyo).
158. (Abatakkiriza) nebateeka oluganda wakati we (Katonda) n'amajinni, nga ate amajinni gamanyi nti mazima ggo gaakuleetebwa (mu maaso ga Katonda gabitebye).
160. Wabula abaddu ba Katonda abalondobemu (anti bbo tebagwa mu kiti kyabo abamwogerako eby'ensimattu).
161. Kale nno mazima ddala mmwe n'ebyo bye musinza.
162. Temusobola mmwe kufiiriza Katonda (ne mumujjako abaddu be).
163. Be ppo oyo y'ewokwesonseka omuliro Jahiimu (oyo musobola okumubuza).
164. (Ba Malayika ne bagamba nti) era tewali n'omu ku ffe okugyako nga alina ekifo ekimanyiddwa.
165. Era mazima ffe (bulijjo) ffe tubeera mu nnyiriri (nga tusinza Katonda).
166. Era mazima ffe ddala ffe abatendereza (Katonda).
167. Newaakubadde nga (abakaafiiri) ddala bagamba nti.
170. (Wabula kitalo byonna ebyo bwe byajja nga ne Nabbi Muhammad kwali) baabiwakanya, kale kyaddaaki balimanya.
173. Era mazima eggye lyaffe ddala bo be baba abawanguzi.
176. Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba bibatuukeko mangu.
177. Lwe birituuka mu lujja lwabwe galiba makya mabi eri abaaweebwa amawulire agabatiisa (omuliro ne batawulira).
180. Mukama omulabirizi wo, nannyini buyinza musukkulumu Ku ebyo bye boogera.
181. Era emirembe gibeere ku babaka (ba Katonda).
Share