4 . Katonda tateekanga munda wa muntu mitima ebiri, era bakyala ba mmwe abo be mulayira obuteegatta nabo Katonda tabafuulanga ba Maama ba mmwe, olw'okuba nti muba mugambye nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyammwe, era abaana be mufuula abaana ba mmwe (nga si mmwe mu bazaala) tabafuula baana ba mmwe, ebyo mmwe bigambo byammwe bye mwogera obwogezi n'emimwa gya mmwe. Era Katonda ayogera mazima, era yye y'alaga e kkubo (erisaana okukwata).
5 . Mubateekenga ku ba kitaabwe, ekyo kye kituufu ewa Katonda, bwe muba temumanyi ba kitaabwe (mu bayite baganda ba mmwe) anti baganda ba mmwe mu ddiini, era bannammwe (mu ddiini) era temulina kibi mu ekyo kye mukola mu butanwa, naye (ekibavunaanwa) kyekyo emitima gya mmwe gye kiba gikoze mu bugenderevu, era bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
6 . Nabbi abakkiriza gwe basaanira okuwa e kitiibwa okusinga bo bennyini, era bakyalabe baba ba Maama baabwe, bo ab'oluganda abamu ku bo be basinga okusaanira bannaabwe (mu by'obusika) ekyo bwe kityo bwe kiri mu kitabo kya Katonda, okusinga bwe bandibadde eri abakkiriza n'abaasenguka, okugyako nga mukoledde ba nnammwe eky'obuntu bulamu, ebyo nno byawandiikibwa mu Kitabo.
7 . Era jjukira bwe twakozesa ba Nabbi endagaano yaabwe, ne ku ggwe ne ku Nuuhu ne ku Ibrahim, ne ku Musa ne ku Isa Mutabani wa Mariam, era twabakozesa e ndagaano nga nzito.
10 . Mujjukire bwe baabajjira nga bayitira engulu ne mmanga wa mmwe, era mujjukire amaaso lwe gaakanuka era emitima ne gituuka mu malokooli, nemulowooza ku Katonda ebirowoozo ebyenjawulo.
13 . Era mujjukire e kibiina mu mmwe bwe kyagamba nti, abange mmwe abantu be Yathriba (Madinah) temusobola kubeera wano, n'olwekyo muddeeyo (mu Maka gammwe), ate e kibiina ekirala mu bo baasaba Nabbi (S.A.W.) abakkirize baleme kugenda ku lutalo, nga bagamba nti, mazima amayumba gaffe meereere, so nga tegaali meereere, baali tebalina kye baagala kyonna okugyako okudduka.
14 . Era singa baali balumbiddwa okuva mu mpuyi zaakyo (e kibuga) oluvanyuma ne basabwa bakaafuwale (era balwanyise abasiraamu) baalikikoze era tebaalisibyemu okugyako kaseera katono.
15 . Ate nga mu kusooka baali baalagaanyisa Katonda nti tebagenda kukyuka kukubayo mabega (ne badduka mu lutalo), era bulijjo e ndagaano ya Katonda ebuuzibwako (okulaba oba etuukiriziddwa).
17 . Bagambe nti, ani oyo ayinza okubawonya ku Katonda singa abadde abaagalizza akabi, oba nga abaagalizza kusaasira, era bulijjo okugyako Katonda tebayinza kufuna mukuumi oba omutaasa.
18 . Mazima Katonda amanyi abalemesa mu mmwe (ababa baagala okugenda mu lutalo) n'abo abagamba baganda baabwe nti mujje gyetuli) muve ku Muhammad (s.a.w.), era tebaagala kugenda ku lutalo okugyako kitono.
19 . Bulijjo baba bakodo ku mmwe, tebaagala (kubayamba ku lutalo). Ekiseera ekya kazigizigi bwe kijja obalaba nga bakukanulira amaaso gaabwe nga gakyuka ng’oyo azirise ng'agenda okufa, naye akaseera ka kazigizigi bwe kavaawo bakkakkana ku mmwe ne nnimi enjogi nga balulunkanira e birungi, abo tebakkirizanga, olwo nno Katonda asangula e mirimu gya bwe era ekyo ku Katonda kyangu nnyo.
20 . (Abannanfusi olw'obutiitiizi bwabwe) batuuka okulowooza nti ab'amagye g'omukago (abalumbaganyi) tebannagenda, singa amagye gajja (omulundi omulala), abannanfusi bandyegombye singa bbo babeera mu ba nnamalungu ne baba nga babuuza bubuuza ebikwata ku mmwe (nga bali eyo) era singa baali mu mmwe tebandirwanye okugyako kitono.
21 . Mazima mulina mmwe mu Mubaka wa Katonda ekyokulabirako ekirungi eri oyo abeera nga akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero, era naayogera nnyo ku Katonda nga amutendereza.
23 . Mu bakkiriza mulimu abasajja abaatuukiriza ekyo kye baaweerako Katonda obweyamu (bwe baagamba nti bwe tulisisinkana omulabe bugenda ku twefuka), kale nno mu bo mulimu eyatuukiriza obweyamubwe nga bwe mulimu akyalindirira era tebakyusangako (ku ekyo) kukyusa kwonna.
26 . Era yawanula abo abaabayamba mu ba nannyini kitabo ng'abajja mu bikomera byabwe, nassa mu mitima gya bwe okutya ne muba nga mutta e kitundu ate ne muwamba e kitundu e kirala (mu bo).
29 . Naye bwe muba nga mwagala Katonda n'omubakawe, ne nyumba ey'enkomerero mazima Katonda yateekerateekera abakola obulungi mu mmwe, e mpeera e nsuffu.
30 . Abange mmwe abakyala ba Nabbi oyo yenna mu mmwe akola e kikolwa eky'obuwemu, wekikakasibwa nti yakikoze, e kibonerezo ekimuweebwa kibazibwamu emirundi ebiri (olw'okuba Mukyala wa Nabbi) era ekyo kyangu ku Katonda.
33 . Era mukkalire mu mayumba gammwe era temwejaajaamyanga enneejaajaamya ey'obutamanya obwaliwo mu kusooka era muyimirizeewo e sswala ne Zakka mugitoole, era mugondere Katonda n’omubakawe mazima Katonda ayagala okubaggyako ebibi abange mmwe abantu bo mu nyumba (ya Nabbi) era abatukuze olutukuza olwa nnamaddala.
34 . Era mujjukirenga ebyo ebisomerwa mu mayumba gammwe mu bigambo bya Katonda n’ebigambo eby'amagezi (Hadith za Nabbi), mazima bulijjo Katonda akwata bulungi (abaddu) ate nga amanyi byonna ebibafaako.
36 . Tekigwanirangako omukkiriza omusajja oba omukkiriza omukazi, Katonda n’omubaka we okumala okusalawo ekintu ate bo nebaba nga balina okwesalirawo ku nsonga yaabwe ate nga oyo yenna ajeemera Katonda n’omubaka we mazima aba abuze olubula olweyolefu.
37 . Jjukira bwe wagamba oyo Katonda gwe yawa ekyengera (n'asiramuka) naawe n'omuwa ekyengera (eky'okumuggya mu buddu) nti beera ne mukyalawo (toyawukana naye) era tya Katonda , ate ggwe nookweka mu mwoyo gwo ekyo Katonda kyanassa mu bbanga, n'oba nga otya abantu ate nga Katonda y'asinga okusaanira okuba nga gwotya, olwo nno Zaidi bwe yamala okumala obwetaavu (bwe) ku ye, twamukufumbiza olw'ensonga nti waleme kubaawo kuwulira bubi mu bakkiriza kuwasa baka baana baabwe (be batazaalira ddala) wabula bo be bayita obuyisi abaana baabwe. Wonna webaba bamalidde kye beetaaga ku bo, (nebaba nga tebakyabaagala nebabawa talaka) nga bulijjo ekiragiro kya Katonda kiteekwa kussibwa mu nkola.
40 . Muhammad tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Katonda, era ow'enkomerero wa ba Nabbi. Era bulijjo Katonda amanyidde ddala ebifa ku buli kintu.
50 . Owange ggwe Nabbi mazima ffe twakukkiriza okuba ne bakyala bo abo bewawa amahare gaabwe, n'abo bonna omukono gwo ogwa ddyo begufuga nga bajjira mu ebyo Katonda byaba akuwadde mu ntalo nga (eminyago), era twakukkiriza bawala ba Kitaawo omuto ne bawala ba ba sengabo, ne bawala ba Kojja wo ne bawala ba Maama bo abato (baganda ba nnyoko), abo abaasenguka naawe, nabwekityo omukyala yenna omukkiriza bwaba nga yeewadde Nabbi, Nabbi n'aba nga ayagadde okumuwasa ekyo nga kikyo wekka, so ssi abakkiriza abasigadde. Mazima tumanyi ebyo bye twabalaalikako (bo) ku bikwata ku bakyala baabwe n'abo emikono gya bwe egya ddyo begifuga, olwo nno obe nga towulira buzibu. Era bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.
51 . Olindiriza oyo gwoba oyagadde ku bo ate nootwala oyo gwoba oyagadde ate oyo gwoba osazeewo mu abo boolindirizza tolina kibi (singa oba osazeewo noomutwala) ekyo kye kitandikirwako mu kutebenkeza amaaso gaabwe ne batanakuwala era bonna nebasiima ebyo byoba obawadde, era Katonda amanyi ebyo ebiri mu mitima gya mmwe, anti bilijjo Katonda mumanyi nnyo wa kisa.
59 . Owange ggwe Nabbi gamba bakyalabo ne bawalabo ne bakyala ba bakkiriza babe nga beebikkirira obukaaya bwabwe, ekyo kye kyanguya okuba nga bamanyika (nti ba kitiibwa) olwo nno baleme kunyiizibwa. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira.