Surah As-Sajdah ( The Prostration )

Surah As-Sajdah ( The Prostration ) - Luganda Aya count 30

1 . Alif Laam Miim.
2 . Okussibwa kw'ekitabo kino (Kur'ani) tekuliimu kubuusabuusa (okuba nti) kyava ewa Mukama omulabirizi w'ebitonde.
3 . Oba bagamba nti (Muhammad) yakyegunjirawo, si bwe kiri, kyo g'emazima agava ewa Mukama omulabiriziwo, obe nga otiisa abantu abatajjirwa mutiisa oluberyeberyelwo olwo nno babe nga balungama.
5 . (Katonda) atambuza e bintu byonna (nga ebiragiro) biva mu ggulu ne bijja ku nsi, oluvanyuma (ebikwata ku bikoleddwa) birinnya ne byambuka gyali mu lunaku nga e kigero kyalwo kyenkana emyaka lukumi mu egyo gye mubala.
10 . Era (abatakkiriza) baagamba nti bwe tulimala okusaanirawo mu ttaka, abaffe walibaayo okutonda okupya (ne tuddawo), ekiboogeza ekyo si kirala wabula lwa kuba nti bawakanya okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe.
11 . Bagambe nti Malayika walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe gye mulizzibwa.
12 . Singa olisobola okulaba aboonoonyi webalikutamiza emitwe gyabwe, mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, nga bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulabye era tuwulidde, n'olwekyo tuzzeeyo tukole e mirimu e mirungi mazima ffe tumaze okukakasa.
13 . Era singa twayagala buli mwoyo twaliguwadde obulungamu bwago, naye mazima kyakakata e kigambo okuva mu nze nti: nja kujjuliza ddala omuliro Jahannama okuva mu Majinni n'abantu bonna awamu.
14 . (Baligambibwa nti) kale mukombe (ku bibonerezo) ku lw'okwerabira kwa mmwe okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, mazima ffe tubeerabidde era mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera olw'ebyo bye mwali mukola.
15 . Mazima abakkiriza e bigambo byaffe, beebo buli lwe baba babuuliriddwa nabyo nga babutama wansi ne bavunnama era nebatendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era bulijjo bbo tebeekuza.
16 . Nga e mbiriizi zaabwe ziva ku buliri (e kiro) ne baba mu kusaba Mukama omulabirizi waabwe olw'okutya (ebibonerezo bye) n'olwokululunkana (okufuna ebirungi bye), era bulijjo bawaayo nga baggya Mu ebyo bye tubagabirira.
18 . Abaffe oyo abeera nga mukkiriza ayinza okuba nga oyo omwonoonyi! (e kituufu kiri nti) tebenkana.
21 . Era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebinafu (mu bulamu obw'ensi) nga tebannatuuka ku bibonerezo ebinene (ku lunaku lw'enkomerero), oba oli awo ne badda (eri obutuufu).
24 . Era twassaawo nga tuggya mu bo abakulembeze abalungamya (abantu) nga bakolera ku kiragiro kyaffe, kavuna bagumiikiriza era ne baba nga bakakasa obubonero bwaffe.
26 . Abaffe tebakimanyanga mu bulambulukufu nti e mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, ate nga batambulira mu bitundu gye baabeeranga, mazima mu ekyo mulimu obubonero bwaffe. Abaffe tebawulira!.
28 . Era bagamba nti okuwangula (okwo kwe mwogerako) kulibaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima?.
29 . Bagambe nti olunaku lw'okuwangula (bwe lulituuka) abo abaakaafuwala obukkiriza bwa bwe, (bwe baliyagala okukola mu kiseera ekyo) tebulibagasa, era tebagenda kulindirizibwa.
Share