Surah Luqman

Surah Luqman - Luganda Aya count 34

1 . Alif Laam Miim
6 . Mu bantu mulimu agula emboozi ezitaliimu makulu, olwo nno abeere nga abuza (abantu) n'abaggya ku kkubo lya Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna, era nga ebigambo (bya Katonda) abifuula bya lusaago, abo nno balina e bibonerezo ebinyoomesa.
9 . Baakutuula muzo obugenderevu, nga eyo ye ndagaano ya Katonda ey'amazima, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
12 . Era mazima twawa Lukman okumanya ensonga (ne tumugamba) nti weebaze Katonda, era omuntu eyeebaza yeebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Katonda talina kye yeetaaga (eri kitonde kyonna) era atenderezebwa nnyo.
13 . Era jjukira Lukman bwe yagamba Mutabaniwe bw eyali amubuulirira nti: owange mwana wange togattanga ku Katonda ekintu ekirala mazima okugatta ku Katonda ekintu ekirala kwe kweyisa obubi okubi ennyo.
14 . Era twakalaatira omuntu okuyisa obulungi bakaddebe bombi, nnyina amusitula mu lubuto nga bunafu obweyongera ku bunafu, era nga okumuggya ku mabeere (kubaawo) mu banga lya myaka ebiri, (era ne tumugamba) nti neebaza era weebaze bakaddebo. Gyendi yokka yeeri obuddo.
16 . Owange Mutabani wange mazima kyo (e kikolwa) ne bwe kiba kyenkana obuzito bwempeke ya Khardali, keebe nga eri mu lwazi oba mu ggulu omusanvu oba e nsi, Katonda agenda kukireeta (asasule e yakikola) mazima Katonda amanyidde ddala ebitalabika, ate buli kintu akimanyidde ddala okuva ku ntobo yaakyo.
17 . Owange Mutabani wange yimirizaawo e sswala olagire (abantu) okuyisa obulungi, obakomeko ku kweyisa obubi era ogumiikirize ku ebyo ebiba bikutuuseeko. Mazima ebyo (ebikugambiddwa) bye bimu ku bigambo e bikakafu.
18 . Tokyusizanga ettamalyo abantu olw'okwekuza (ng'obalengezza) era totambulanga mu nsi nga weewulira, mazima Katonda tayagala buli yenna eyeekuluntaza omwewulize.
19 . Pima entambulayo (tosaayirira ate totambula nga nawolovu) kakkanya e ddoboozilyo, mazima eddoboozi erisinga obubi mu maloboozi gonna ddoboozi lya ndogoyi.
20 . Abaffe temulaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era n'abawa mu bungi ebyengerabye eby'okungulu n'ebyomunda, naye mu bantu mulimu abawalaaza empaka ku bikwata ku Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna wadde obulungamu wadde e kitabo ekibamulisiza e kkubo.
25 . Singa obadde obabuzizza nti: ani yatonda eggulu omusanvu n'ensi? ddala bajja kugamba nti Katonda, bagambe nti (n'olwekyo) okutenderezebwa kwonna kwa Katonda. Wabula abasinga obungi ku bo tebamanyi.
26 . Bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, mazima Katonda yye y'atalina kye yetaaga (era) atenderezebwa.
27 . Era mazima singa e miti gyonna egiri mu nsi zaali kalaamu, nga n'ennyanja (eziriwo) ziyambibwako ennyanja musanvu oluvanyuma lwa zino, ebigambo bya Katonda tebyaliweddeyo, mazima Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
28 . Okutondebwa kwa mmwe n'okuzuukira kwa mmwe tekuli okugyako okuba nga kulinga okutonda n'okuzuukiza omuntu omu. Mazima Katonda awulira nnyo alabira ddala.
30 . Ekyo kiri bwe kityo, lwa kuba nti Katonda yye ye mazima, era ddala ebyo bye basaba ne baleka Katonda bye bikyamu, era mazima Katonda yye ye wa waggulu asinga okuweebwa e kitiibwa.
32 . (Abatakkiriza bwe babeera mu maato ago) amayengo bwe gababikka ne genkana ng'ensozi (olwo nno) basaba Katonda, nga eddiini yonna bagikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya, naabatuusa ku lubalama, mu bo mu baamu abeegendereza (ne baba wakati w'okukola e mirimu e mirungi n'emibi) era tawakanya bubonero bwaffe okugyako buli wa nkwe omukaafiiri.
34 . Mazima Katonda ewuwe yokka y'eri okumanya ebifa ku lunaku lw'enkomerero, era y'atonnyesa e nkuba, era yamanyi ekyo ekiri mu nnabaana, omuntu tayinza kumanya kiki kyaanaafuna enkya, era omuntu tayinza kumanya alifiira mu nsi ki, mazima Katonda amanyi nnyo ategeerera ddala buli kintu okuva ku ntobo yaakyo.
Share