Surah Ar-Room ( The Romans )

Surah Ar-Room ( The Romans ) - Luganda Aya count 60

1 . Alif Laam Miim.
3 . Mu nsi ey'okumpi (eriraanye Shami) ate nabo oluvanyuma lw'okuwangulwa kwa bwe, bajja kuwangula.
4 . Mu myaka mitono (egitasukka mwenda). Okusalawo kwa Katonda oluberyeberye n'oluvanyuma, olunaku olwo abakkiriza bagenda kukyakyankya.
5 . Ku lw'okutaasa kwa Katonda (Katonda) ataasa oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
11 . Katonda y'atandika e bitonde oluvanyuma agenda kubizzaawo ate oluvanyuma gyali gye mulizzibwa.
12 . Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka, aboonoonyi bagenda kukutuka n'okusuubira.
14 . Era olunaku e ssaawa ey'enkomerero lwe lituuka kw'olwo bagenda kwawukana.
17 . N'olwekyo asukkulumizibwe Katonda mu kiseera wemubeerera mu biseera eby'olweggulo ne wemubeerera mu biseera eby'okumakya.
18 . Era okutenderezebwa ku kwe mu ggulu omusanvu n'ensi ne mu kiseera eky'akawungeezi ne wemubeerera mu ttuntu.
20 . Era mu bubonerobwe (obulaga obuyinzabwe), kwe kuba nti yabatonda nga abaggya mu ttaka oluvanyuma mmwe mwabeera abantu abasaasaanira e nsi.
27 . Era yye yooyo atandikawo ebitonde era nga yaalibizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) nakyo (eky'okubizzaawo) kye kisinga obwangu ku ye, era kikye yekka ekifo ekisukkulumu mu ggulu omusanvu n'ensi era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.
28 . (Katonda) yabakubira ekifaananyi nga kikwata ku mmwe mwe nnyini nga agamba nti abaffe mwebyo bye tubagabira mulina ababeegattako mwabo emikono gyamwe bye gifuga (abaddu ba mmwe) ne muba nga mwenna mwenkana mwekyo ne mutuuka okubatya nga bwe mwetya mwennyini, bulijjo bw tunnyonnyola ebigambo eri abantu abategeera.
29 . Wabula abo abeeyisa obubi bagoberera kwagala kwabwe awatali kusinziira ku kumanya kwonna y'ate ani ayinza okulungamya oyo Katonda gwe yabuza era abo tebagenda kufuna babataasa.
31 . (N'olwekyo) mubeere abeemenyera Katonda era mumutye, era muyimirizeewo e sswala, era temubeeranga mu bagatta ku Katonda ebintu ebirala.
33 . Obuzibu bwe buba butuuse ku bantu basaba Mukama omulabirizi waabwe nga bamwemenyera, oluvanyuma bwabaloza ku kusaasira okuva gyali ogenda okulaba nga ekitundu ku bo bagatta ebintu ebirala ku Mukama omulabirizi waabwe.
36 . Bwe tuba nga tulozezza abantu ku kusaasira kwaffe basanyuka nakwo, bwe baba nga batuukiddwako ekibi kyonna olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ogenda okulaba nga bakutuka n'okusuubira (okusaasira kwa) Katonda.
37 . Abaffe tebalaba nti mazima Katonda agaziyiza eby'enfuna eri gwaba ayagadde ate naafundiza oyo gwaba ayagadde, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza.
42 . Gamba ( ggwe Muhammad) mutambule mu nsi mulabe yali etya e nkomerero y'abo abaaliwo oluberyeberye. abasinga obungi mu bo baali bagatta ku Katonda ebintu ebirala.
43 . Kale nno yolekeza ekyenyikyo eri e ddiini ennambulukufu, nga terunnajja olunaku olutagenda kuggyibwa ku Katonda neruzzibwayo, ku lunaku olwo abantu bagenda kubeera mu bibinja.
44 . Omuntu awakanya, ekibi ky'okuwakanyakwe kiri ku ye, n'oyo yenna akola emirimu emirongoofu (abo) baba bateekerateekera myoyo gya bwe.
46 . Era mu bubonerobwe kwe kuba nti atambuza empewo nga zireeta amawulire ag'essanyu (enkuba), era alyoke abaloze ku kusaasirakwe, era amaato galyoke gadduke ku lw'ekiragiro kye, era mube nga munoonya ebigabwa bye era mulyoke mwebaze (Katonda ku lw'ebyo).
51 . Wabula singa tuba tutambuzizza empewo ne babiraba (e birime) nga bifuuse bya kyenvu olw'okuwotoka, bandibadde olw'ekyo beegaana ebyengera bya (Katonda).
52 . (N'olwekyo ggwe tobafaako) anti mazima ggwe tosobola kuwuliza bafu era nga bwotasobola kuwuliza bakiggala kasita bakyuka ne bakukuba amabega.
53 . Era toli asobola kulungamya bamuzibe n'obaggya ku bubuze bwabwe, tosobola kuwuliza okugyako abo abakkiriza ebigambo byaffe nebaba nga beewadde Katonda.
56 . Ate abo abaaweebwa okumanya n'obukkiriza baligamba nti: mazima mwatuula (ku nsi) okumala ebbanga Katonda lye yabawandiikira, okutuuka ku lunaku lw'okuzuukira, kaakano luno lwe lunaku lw'okuzuukira (lutuuse) naye mazima mwali temumanyi.
60 . Kale gumiikiriza mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era tebakutiisanga abo abatakakasa kintu kyonna kikwata ku Katonda.
Share