10 . Mu bantu mulimu agamba nti nzikirizza Katonda naye bwayisibwa obubi ku lwa Katonda afuula okunyigiriza kwa bantu nga e bibonerezo bya Katonda, wabula singa okutaasa kwa Mukama omulabiriziwo kuba kuzze olwo nno bagambira ddala nti tubadde wamu nammwe, abaffe Katonda si y'asinga okumanya ebyo ebiri mu bifuba bye bitonde!.
12 . Era abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza nti mugondere enkola yaffe olwo nno naffe twetikke ebibi bya mmwe so nga tebali bo ba kwetikka kintu kyonna mu bibi bya bwe, mazima bbo balimba.
25 . (Ibrahim) naabagamba nti mulese Katonda ne mweteerawo ebifaananyi olw'enkolagana eri wakati wa mmwe mu bulamu bw'ensi, oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero abamu bagenda kwegaana bannaabwe era abamu bakolimire bannaabwe, nga n'obuddo bwa mmwe muliro, temuliba na bataasa (babadduukirira).
27 . Era (Ibrahim) ne tumugabira Ishaaka ne Yakub era netussa mu zzadderye obwa Nabbi n'ebitabo (Taurat, Zaburi, Injiiri, Kur’ani) era twamuwa empeeraye ku nsi era mazima yye ku nkomerero wa mu bakozi ba bulungi.
29 . Mazima mmwe mudda ku basajja mu kifo ky'abakyala (ne mulya ebisiyaga) ne mukutula amakubo (ku bantu nga mubateega), ne mukola e bitasaana mu bifo bya mmwe wemukunganira. Okwanukula kw'abantube tekwali okugyako okugamba nti tuleetere ebibonerezo bya Katonda bwoba nga oli mu boogera amazima.
32 . (Ibrahim) naagamba nti mazima mu kyo Luutu mwabeera, ne bagamba nti ffe tusinga okumanya abaliyo, ddala tujja kumuwonya n'abantube okugyako mukyalawe ali mu abo ab'okusigala.
33 . Ababaka baffe bwe batuuka ewa Luutu yanakuwala ku lwab bwe, era naawulira nga talina maanyi ga kubataasa, ne bamugamba nti totya era tonakuwala, mazima ffe tujja kukuwonya n'abantubo okugyako mukyalawo yye wa mu abo abookusigala.
38 . Era (Jjukira) ebyatuuka ku bantu b'ekika kya A’di ne Thamud, mazima ebibakwatako bimanyiddwa gye muli okusinziira ku mayumba gaabwe nga bwe galabika kati, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe emibi, olwo nno neebaggya ku kkubo so nga ate baali balaba (olwa ba Nabbi be baali bafunye).
40 . Buli omu twamuvunaana olw'ekibikye, mu bo mulimu betwasindikira empewo eya mayinja, ate mu bo mulimu abaatuukwako okubwatuka, era mu bo mulimu betwamiza ettaka era mu bo mulimu be twazikiriza mu mazzi naye Katonda tabangako waakubalyazaamaanya wabula bennyini be beeyisa obubi.
41 . Ekifaananyi ky'abo abeeteerawo abataasa ne baleka Katonda, balinga nabbubi eyeezimbira e nyumba ate ng'enyumba esinga obunafu y’enyumba ya nabbubi singa baali bamanyi.
46 . Era temuwakananga ne ba nannyini Kitabo okugyako nga mukozesa amakubo agasinga obulungi, okugyako ku abo abeeyisa obubi mu bo era mugambe nti (ffe) tukkirizza ekyo ekyassibwa gye tuli ne kyassibwa gye muli, nga Katonda waffe era Katonda wa mmwe ali omu, nga naffe fenna yye yekka gwe tweewa.
52 . Bagambe nti kimala wakati wange na mmwe okubeera nga Katonda ye mujulizi (akakasa nti ndi mubakawe), Katonda y'amanyi ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi, naye abo abakkiriza ebitali bituufu ne bawakanya Katonda abo nno be b'okufaafaaganirwa.
55 . Ku lunaku e bibonerezo lwe biribatuukako nga biva waggulu ne wansi w'ebigere bya bwe, era Katonda abagambe nti mukombe ku bukaawu bw'ebyo bye mwali mukola.
58 . Era abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu tujja kubawa ebisenge eby'awaggulu mu jjana nga emigga gikulukutira wansi waabyo, baakubeera mu byo olubeerera (ebyo) birungi nnyo okuba nga y'empeera ya bakola obulungi.
60 . Bimeka ebiramu ebitambula nga tebisobola kwetikka riziki yaabyo nga Katonda yekka y'abigabirira nammwe (abantu y'abgabirira) era nga yye (Katonda) ye muwulizi omumanyi ennyo.
61 . Abakaafiiri bwoba nga obabuuzizza nti ani eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'agonza e njuba n'omwezi? bajja kukugambira ddala nti Katonda, ate olwo bakyusibwa batya okuva ku mazima!.
63 . Era bwobabuuza nti ani assa amazzi okuva waggulu n'alamusa nago ensi oluvanyuma lw'okufa kwayo? ddala bajja kugamba nti Katonda, gamba nti okutenderezebwa kwa Katonda wabula abasinga obungi mu bo tebategeera.
64 . Obulamu buno obw'ensi tebuli okugyako okuba eby'amasanyu era eby'omuzannyo era mazima e nyumba ey'enkomerero yo bwe bulamu obwa nnamaddala singa baali bamanyi.
65 . Bwe baba basaabalidde mu maato basaba Katonda, ng'ekyo bakikola ku lulwe yekka, naye bwabawonya naabatuusa ku lukalu, olwo ate ne bamugattako ebintu ebirala.
67 . Abaffe tebalaba nti mazima ffe twafuula e kibuga (Makkah) eky'emizizo, e kitundu e ky'emirembe, naye ng'abantu basikulwa mu bifo ebibeetoolodde. Abaffe ebikyamu bye bakkiriza ate ne bawakanya ebyengera bya Katonda!.
68 . Era ani mubi okusinga oyo atemerera obulimba ku Katonda oba naalimbisa amazima bwe gaba gamujjidde abaffe mu jahannama temuli kifo kya bakaafiiri!.