Surah Al-Qasas ( The Stories )

Surah Al-Qasas ( The Stories ) - Luganda Aya count 88

1 . Twaa Siin Miim.
10 . Omutima gwa Maama wa Musa gwali gwagaana okutereera (nga yeeraliikirira) yabula kata okumulaga (nga bwe yali omwanawe) singa tetwassa bunywevu ku mutimagwe (olwo nno) alyoke abe mu bakkiriza.
11 . (Maama wa Musa) yagamba mwannyina (wa Musa) nti mulondoole, awo nno naamulaba nga ali wala naye nga bo tebamanyi.
12 . Twamulemesa okukkiriza amabeere (g'omuyonsa yenna) okuva ku ntandikwa, (Mwannyina) naabagamba nti: abaffe mbalagirire abantu b'enyumba emu abanaamubalerera era nga nabo bajja kumubuulirira.
16 . (Musa) naagamba ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze neeyisizza bubi nsaba onsonyiwe, (Katonda) naamusonyiwa, anti mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo.
17 . Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange okusinziira ku byengera byongonnomoddeko sigenda kubeera muyambi wa boonoonyi.
21 . Awo nno naakifuluma (ekibuga) nga atidde yeekengera, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mponya abantu abeeyisa obubi.
23 . Bwe yatuuka ku mazzi g'eMadiyana yasangawo ekibinja ky'abantu nga banywesa (ensolo zaabwe) era nga waliwo ku (bbali) abakazi babiri, nga bagaana (ensolo zaabwe okunywa amazzi) naabagamba nti ate mmwe ogubadde gwe gwaki? Nebagamba nti tetunywesa okutuusa abalunzi abalala lwe baggyawo ensolo zaabwe, ate nga ne kitaffe mukadde nnyo.
24 . Naabanyweseza, bwe yamala ne yeewogoma mu kisiikirize olwo naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze ndi mwetaavu nnyo eri ekirungi kyonna kyoba ompadde.
25 . (Aba ali awo) omu ku bombi (abakazi) najja gyali mu ngeri ey'ensonyi, naagamba nti mazima Kitange akuyita abe nga akusasula empeera y'okutunyweseza, (Musa) bwe yatuuka waali (Kitaawe wa bawala) era naamunyumiza emboozi (y'ebimufaako) yamugamba nti totya omaze okuwona abantu abeeyisa obubi.
29 . Musa bwe yamala okutuukiriza ekiseera (kye baalagaana), yatambula n'abantube (nga bagenda e misiri) naalaba omuliro ku ludda lw'olusozi, naagamba abantube nti: mulindeeko wano katono, mazima nze nina wendabye omuliro, si kulwa nga mbaleetera amawulire okuva we guli oba nembaleetera e kitawuliro mulyoke mwote.
31 . Era (Katonda naamugamba nti) kasuka omuggogwo (naye kwe kugukasuka) olwo nno bwe yagulaba nga gwenyeenya, nga gulinga omusota omwangu mu ntambula yaagwo, yakyuka nga adda emabega era n'atatunula gyava (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange ggwe Musa komawo era totya anti mazima oli mu balina e mirembe.
33 . (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nabattamu omuntu, n'olwekyo ntya si kulwa nga banzita.
34 . Ate Muganda wange Haruna y'ansinga olulimi olwatufu, kale nno mutume wamu nange nga muyambi abe nga akkaatiriza amazima gange, anti mazima nze ntya okuba nga bajja kunnimbisa.
35 . Katonda naamugamba nti tujja kunyweeza omukonogwo (kukuwagira) ne mugandawo, era tubawe mwembiriri obusobozi babe nga tebasobola kubatuusaako kabi. olw'obubonero bwaffe, mmwe mwembiriri nabuli yenna abagoberera mmwe mujja okuwangula.
37 . Musa naagamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo azze n'obulungamu ng'abuggya gyali era n'oyo aliba n'enkomerero e nnungi, anti bulijjo abeeyisa obubi tebayinza kutuuka ku buwanguzi.
41 . Ne tubafuula abakulembeze nga bakoowoola abantu okuyingira omuliro, era nga ne ku lunaku lw'enkomerero tebagenda kutaasibwa.
44 . Era (ggwe Muhammad) tobangako ku ludda olw'ebugwanjuba bwe twawa Musa ekigambo (ekiragiro eky'okugenda ewa Firaawo) era tewali mu baaliwo (mu kiseera ekyo).
46 . Era tewaliiwo ku ludda lw'olusozi mu kiseera we twakoowolera (Musa tumuwe obubaka), wabula kwali kusaasira kwa Mukama omulabiriziwo (ggwe okumanya ebyaaliyo), obe nga weekesa abantu abatajjirwanga mutiisa yenna nga ggwe tonnajja olwo nno babe nga beebuulirira.
48 . Naye ate amazima bwe gaamala okubajjira okuva gye tuli baagamba nti singa aweereddwa nga ebyaweebwa Musa (naye) abaffe tebaawakanya ebyo ebyaweebwa Musa oluberyeberye ne bagamba nti (ebigambo bya Musa ne Muhammad) byombi ddogo, erimu liyamba linnaalyo era ne bagamba nti mazima ffe tuwakanya buli kyonna ekigwa mu kiti ky'ebyo.
49 . Bagambe (ggwe Muhammad) nti (bwe kiba bwe kityo) kale (mmwe) muleete ekitabo okuva ewa Katonda nga kyo kirungamu okusinga biri ebibiri nja kukigoberera bwe muba nga mwogera mazima.
57 . Era (abatakkiriza) ne bagamba nti singa tugoberera naawe obulungamu tujja kusikulwa mu nsi yaffe (naye) abaffe tetwabatebenkereza Haram (Makkah) nga ejjudde e mirembe nga ebibala ebya buli kika bireetebwa gyeri, nga okwo kugabirira okuva gye tuli naye wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.
58 . Bitundu bimeka bye twazikiriza ebyayonoona obulamu bwa byo (olw'okufuula obulamu obw'okweyagaliramu obweyagazi) amayumba gaabwe gaago, tegaddangayo kusulwamu oluvanyuma lwa bwe okugyako matono era ffe twafuuka abaagasikira.
61 . Abaffe oyo gwe twalagaanyisa endagaano ennungi era nga w'akugituukako ayinza okuba nga oyo gwe twawa eby'okweyagala by'obulamu bw'ensi, ate nga yye ku lunaku lw'enkomerero agenda kubeera mu balireetebwa okubonerezebwa.
65 . Era (bajjukize) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti: kiki kye mwayanukula ababaka.
69 . Era Mukama Omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bye bikwese n'ebyo bye bassa mu lwatu.
70 . Era yye Katonda tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako yye okutenderezebwa ku kwe, ku ntandikwa ne ku nkomerero era obuyinza bwonna bubwe era gyali gye mulizzibwa.
78 . (Karuna) naagamba mazima (bye nnina) nnabiweebwa lwa kumanya kwe nnina. Abaffe teyamanya nti ddala Katonda yazikiriza oluberyeberyerwe e mirembe gy'abo abaali bamusinga amaanyi era nga baakungaanya bingi okumusinga. Era aboonoonyi tebasabibwa (kunnyonnyola bikwata ku) byonoono bya bwe (anti Katonda abimanyi).
87 . Era tewabangawo akuggya ku bigambo bya Katonda oluvanyuma lw'okuba nti byassibwa gyoli, era koowoola (abantu) okujja ewa Mukama omulabiriziwo era tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Katonda.
88 . Era tosabanga awamu ne Katonda ekisinzibwa ekirala kyonna, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, buli kintu kyakuggwawo okugyako yye, okusalawo kwonna kukwe era gyali gye mulizzibwa.
Share