Surah An-Noor ( The Light )

Surah An-Noor ( The Light ) - Luganda Aya count 64

3 . Omusajja omwenzi tawasa okugyako omukazi omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, n’omukazi omwenzi tawasibwa okugyako omusajja omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, era ekyo kyaziyizibwa ku bakkiriza.
7 . Ne ku mulundi ogw'okutaano (ayongerako nti) mazima ekikolimo kya Katonda kibe ku ye bwaba nga wa mu balimba.
9 . Ne ku mulundi ogw'okutaano (ayongerako nti) mazima obusungu bwa Katonda bube ku ye (bba) bwaba mu boogera amazima.
10 . Singa si bulungi bwa Katonda bwabawa na kusaasirakwe (mwandisanze) obuzibu mu kusalawo ensonga) era mazima Katonda akkiriza okwenenya mugoba nsonga.
18 . Era Katonda abannyonnyola amateeka. Era bulijjo Katonda amanyi nnyo ate nga mugoba nsonga.
20 . Singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa (mwandituuseeko ebizibu naye nga bulijjo) mazima Katonda wa kisa musaasizi.
25 . Ku lunaku olwo Katonda agenda kubasasula mu bujjuvu empeera yaabwe ebasaanira, era bagenda kumanya nti mazima Katonda yye ye mazima owa nnamaddala.
26 . Abakazi ab'empisa embi ba basajja ab'empisa embi, n'abasajja ab'empisa embi ba bakazi ab'empisa embi, n'abakazi abeeyisa obulungi ba basajja abeeyisa obulungi, n'abasajja abeeyisa obulungi ba bakazi abeeyisa obulungi, abo (bebatemerera obwenzi) batukuvu ku ebyo (bali) bye boogera, balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa.
31 . Era gamba abakyala abakkiriza bakkakkanye ku maaso gaabwe era bakuume obwereere bwa bwe, era teboolesa eby'okwewunda bya bwe okugyako ebyo ebiba biteekwa okulabika, era bateekwa beebikkirire obukaaya bwa bwe (nga butuuka) ku bifuba bya bwe, era teboolesa bya kwewunda bya bwe okugyako eri ba bbaabwe, oba ba kitaabwe, oba ba taata ba ba bbaabwe ,oba abaana baabwe, oba abaana ba ba bbaabwe, oba bannyinaabwe, oba abaana ba bannyinaabwe, oba abaana ba baganda baabwe, oba abakyala nga bbo, oba abo abaddu emikono gya bwe egyaddyo be gyafuna, oba abaweereza abalala abasajja abatakyalina bwetaavu eri bakyala, oba abaana abato abatalabanga ku bwereere bwa bakyala, era (abakyala abakkiriza bwe baba batambula) tebakuba bigere bya bwe kibe nga kituuka okumanyika ekyo kye bakusise mu by'okwewunda bya bwe. Mwenna mwenenyeze Katonda abange mmwe abakkiriza kibayambe okutuuka ku buwanguzi.
32 . Mufumbize mu mmwe abatali bafumbo, nabwekityo mufumbiriganye abalongoofu mu baddu ba mmwe n'abazaana ba mmwe, bwe baba baavu Katonda ajja kubagaggawaza nga aggya mu bigabwabye bulijjo Katonda mugazi (mu byalina) mumanyi nnyo.
33 . Abo abatasobola kuwasa bateekwa okwessaamu ensa okutuusa Katonda lwabawa ekimala ekyetaago kya bwe nga aggya mu bigabwabye, ate abo abasaba okuweebwa ekiwandiiko (ekibakkiriza okunoonya sente beenunule) mu baddu ba mmwe abo emikono gya mmwe egya ddyo be gyafuna mukibawandiikire singa mubalabamu akalungi, (mmwe abakulembeze) mubawe nga ku mmaali ya Katonda eyo gye yabawa, era temuwalirizanga abazaana ba mmwe okukola obwa malaaya (mu kikola mutya) ng'ate bbo baagala kuba na nsa! (ekibatuusa okukola ekyo) lwa kwagala kufuna bya bulamu byansi, oyo yenna abawaliriza mazima Katonda oluvanyuma lw'okubawaliriza musonyiyi musaasizi.
34 . Era mazima twassa gye muli ebigambo (bya Kur'an) ebinnyonnyola, era (netussa) eby'okulabirako ebikwata ku abo abaaliwo oluberyeberye lwa mmwe era ekyo nga kya kubuulirira eri abatya Katonda.
35 . Katonda kitangaala ky'eggulu omusanvu n'ensi ekifaananyi ky'ekitangaalakye kiringa akafo akaazimbirwa mu kisenge nga ka kuteekamu ttaala (naye nga tekayitamu kitangaala kuva bweru, ettaala bwe yaka ekitangaala kyayo kikoma ku kisenge kya kafo ako, ekiyamba abali mu kisenge kya kafo okufuna ekitangaala obulungi, akafo ako) nga kalimu ettaala nga ettaala eri mu kirawuli ekirawuli nga kiringa emmunyeenye etangalijja nga eteekebwamu amafuta agava mu muti omuzayituni ogw'omukisa nga si gwe buvanjuba wadde ebugwanjuba (mu nnimiro mwe gwakulira ne guba nga gwafunanga ekitangaala ky'enjuba ebbanga erimala), amafuta gaagwo kumpi gaaka newaakubadde nga tegatuukiddwako muliro, nekiba nga kitangaala ku kitangaala kinnaakyo (anti ekitangaala kye ttaala kyegatta ku kitangaala ky'ekirawuli ate nno bwogattako amafuta amalungi ennyo negubula asala). Katonda alungamya eri ekitangaalakye oyo gwaba ayagadde era Katonda akubira abantu ebifaananyi era Katonda bulijjo amanyi ebifa ku buli kintu.
36 . Mu mayumba (e mizikiti) Katonda geyakkiriza gazimbibwe era n'alagira erinnyalye libeere nga lyogerwako mu go, (omwo nno) bamutendereza mu go enkya n'olweggulo.
40 . (Oba abaakaafuwala emirimu gya bwe giringa) ebizikiza ebiri mu nnyanja ey'ennyanga nga ebikkiddwa amayengo ng'ate waggulu waayo waliyo amayengo amalala ng'ate waggulu waago waliyo ebire ne biba bizikiza ebiri waggulu wa binnaabyo (omuntu singa abadde mu kifo ekyo) bw'ajjayo omukonogwe aba kumpi obutagulaba oyo yenna Katonda gwatawadde kitangaala tayinza kufuna kitangaala.
41 . Abaffe tolaba nti mazima Katonda bimutendereza byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi n'ebinyonyi nga byanjuluzza ebiwawaatiro (mu kumutendereza) buli kimu (Katonda) amanyi okusinza kwa kyo n'okutendereza kwa kyo.Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.
53 . Era (abannanfusi) balayira Katonda olw'okukkaatiriza ebirayiro bya bwe, nti singa obalagidde (okugenda ku lutabaalo naawe) ddala bajja kugenda naawe, bagambe nti temulayira, okugonda kwa mmwe (kwe mulangirira) kumanyiddwa (nga kwa bulimba). Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye mukola.
54 . Bagambe nti: mugondere Katonda era mugondere omubaka, bwe bagaana mazima (Nabbi) avunaanyizibwa ku ebyo ebyamutikkibwa nga nammwe bwe muvunaanyizibwa ku ebyo ebyabatikkibwa, naye bwe mumugondera mujja kulungama, era omubaka tabanjibwa okugyako okutuusa obubaka okw'olwatu.
58 . Abange mmwe abakkiriza bateekeddwa okubasaba okuyingira mu biseera bya mirundi esatu abo begyafuna e mikono gya mmwe egya ddyo, n'abo abatannaba kutuuka myaka gya bukulu mu mmwe, (bwe baba nga bayingira gye muli mu biseera ebyo, nabyo) e sswala ya Subuhi nga tennatuuka, ne mu kiseera we mweyambulira engoye zammwe mu ttuntu, n'oluvanyuma lw’e sswala ya Isha, (ebyo) biseera bya mmwe bisatu okubeera obwereere, nga oggyeko ebiseera ebyo, mmwe nabo temulina musango mwena wamu bwe bayingira gye muli nga tebasabye, abantu abo babeetoololeramu ng'abamu musisinkana ba nnammwe, bwatyo (Katonda) bwa bannyonnyola e bigambo anti bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.
61 . Muzibe talina kibi, n'omulema talina kibi wadde omulwadde talina kibi (nga bbo) namwe temulina kibi okulya mu maka gammwe, oba mu maka ga ba kitammwe, oba mu maka ga ba nnyammwe, oba mu maka ga baganda ba mmwe, oba mu maka ga bannyinammwe, oba mu maka ga ba kitammwe abato oba mu maka ga ba senga mmwe, oba mu maka ga ba kojjammwe oba mu maka ga ba maama ba mmwe abato, oba amaka ge mufuga ebisumuluzo byago, oba amaka ga mukwano gwa mmwe temulina kabi okuliira awamu oba nga mweyawudde yawudde, bwe muyingiranga amayumba mwetoolere ‘salaamu’, ekyo nga kiramuso eky'omukisa ekirungi ekiva ewa Katonda. Bwatyo Katonda bwabannyonnyola ebigambo (bye) mulyoke mutegeere.
Share