Surah Al-Anbiya ( The Prophets )

Surah Al-Anbiya ( The Prophets ) - Luganda Aya count 112

1 . Kusemberedde abantu okubalibwa kwa bwe nga bo bali mu butafaayo, era nga bo bakola byennyume.
2 . Tewali kujjukiza kwonna kubajjira okupya okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okuba nti bakuwuliriza nga bwe bazannya.
4 . (Nabbi Muhammad) naagamba nti: Mukama omulabirizi wange amanyi ekigambo ekiri mu ggulu ne mu nsi era yye y'awulira ennyo, amanyi ennyo.
5 . (Wabula Abakaafiiri) baagamba nti: okwo kulogojjana mu kuloota oba ye yennyini yaabyegunjirawo, si nakindi yye mutontomi, (bwaba ayagala tukkirize byagamba) kale atuleetere akabonero nga abaasooka bwe baatumwa.
8 . Era tetwafuula (ba Nabbi) mubiri nga tebalya mmere (nga ba Malayika) era tebaali ba kubeera mu nsi lubeerera.
9 . Oluvanyuma twabatuukiririza endagaano (gye twabawa) netubawonya awamu n'abo be twayagala era netuzikiriza abaayonoona ekisukkiridde.
15 . Okuwanjaga kwa bwe okwo kwali bwe kutyo okutuusa lwe twabafuula nga ennimiro ekunguddwa ne ggwawo.
22 . Singa (ensi n'eggulu) byalimu ba katonda abalala atali Katonda omu byombi byaliyonoonese, (ekyo nno kikulage) nti yasukkuluma Katonda Mukama omulabirizi wa Arishi kw'ebyo bye boogera.
24 . Abo bateekawo ba katonda ne baleka Katonda omu, gamba nti muleete obujulizi bwa mmwe (ku ekyo). Kuno kwe kubuulirira abali nange era kwe kubuulirira kw'abo abaakulembera wabula abasinga obungi mu bo (Abakaafiiri) tebamanyi mazima olwo nno bo bagakuba amabega.
25 . Era tetwatuma oluberyeberyelwo Mubaka yenna okugyako nga tumutumira obubaka nti tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze (Katonda) kale munsinze.
26 . Era baagamba nti: Katonda ow'ekisa ekingi yeeteerawo omwana, musukkulumu (ku ebyo byonna) wabula (ba malayika bebamugattako) baddu abaweebwa ekitiibwa.
32 . Era netufuula eggulu akasolya akakuumibwa, wabula bbo tebafaayo ku bya magero bya byo (ebya byonna ebyogeddwa waggulu).
37 . Omuntu yatondebwa nga ayanguyiriza nja ku balaga obubonerero bwange kale temunsaba kubanguyiriza bibonerezo.
38 . Era abakaafiiri bagamba nti ekiragaanyiso ekyo kiribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima.
39 . Abo abaakaafuwala singa bamanyi (ekiribaawo) mu kiseera we batalisobolera kuziyiza muliro kutuuka ku byenyi bya bwe wadde e migongo gya bwe, era nga tebagenda kutaasibwa.
41 . Mazima ababaka (bangi) baagyejebwa olubereberyelwo, nebituuka ku abo abaabanyoomanga ebyo bye baalinga bajeeja. (Abo abaali babajeeja baatuukibwako ebibonerezo bye baali bajeeja)
42 . Bagambe nti ani abakuuma ekiro n'emisana okubawonya ekyandibatuseeko okuva ewa Katonda ow'ekisa ekingi wabula bbo abatakkiriza beesamba okwogera ku Mukama omulabirizi waabwe.
43 . Abaffe balina ba katonda abalibawonya ku ffe abatali ffe (ba katonda baabwe bennyini) tebagenda kusobola kwetaasa era tebagenda kufuna gwe baliba naye abawonya ku ffe.
46 . So nga bwe balituukwako akatundu ku bibonerezo bya Mukama omulabiriziwo bagenda kugambira ddala nti zitusanze mazima ffe tubadde tweyisa bubi.
47 . Tugenda kussaawo minzane entuufu ezirikozesebwa ku lunaku lw'enkomerero, olwo nno tewali muntu aliryazaamaanyizibwa kintu kyonna, ne bwe kiriba kyenkana obuzito bwe mpeke ya khardali tugenda kukireeta. Kimala bumazi okuba nti ffe tuliba ababazi.
48 . Twawa Musa ne Haruna amateeka (Taurat) agaawula wakati wa mazima n'obulimba era nga kitangaaala era nga kya kubuulirira eri abatya Katonda.
49 . Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe awamu n'okuba nga tebamulaba era nga nabo beeraliikirira ekiseera ky'enkomerero.
57 . Era ndayira Katonda amasanamu ga mmwe nja kugasalira amagezi singa munaaba mugaleseewo ne mubaako wemulaga.
58 . (Yagabetenta) naagafuula bubajjo okugyako (essanamu) erigasinga obunene, olwo nno badde gye liri (lye baba babuuza).
65 . Ate oluvanyuma (lw'ekyo) beekyusa, (mu kifo ky'okwenenya baalemera ku bukaafiiri era nebagamba nti) mazima okimanyi nti amasanamu ago tegoogera.
68 . Nebagamba nti (oba bwatyo bwagamba) mumwokye mutaase ba katonda ba mmwe bwe muba nga mulina kye munaakola.
76 . Era (mujjukire) Nuhu bwe yasaba oluberyeberye nga abantu (bamulemeredde) netwanukula okusaba kwe netumuwonya wamu n’abantube mu kabi akanene.
78 . Era mujjukire Dauda ne Sulaiman mu kiseera bombi bwe baalamula omusango ogukwata ku nnimiro, embuzi z’abantu bwe zaaliiramu, era ku kulamula kwabwe twali bajulizi.
79 . (Omusango ogwo) twawa Sulaiman okutegeera obulungi, naye buli omu twamuwa okugoba ensonga n’okumanya, era twagondeza Dauda ensozi nga zitendereza, n’ebinyonyi bwe bityo, (buli lwe yatenderezanga nga nabyo bitendereza). Era ebyo twali tusobolera ddala okubikola.
83 . Era (jjukira) Ayubu bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe nti mazima nze ntuukiddwako obuzibu, era ggwe musasizi asinga abasaasizi bonna.
84 . Twamwanukula (okusaba) kwe netumuggyako obuzibu obwali bumutuuseeko netumuwa abantube (abaali bafudde) netumuwa n’abalala awamu nabali, ekyo nga kusaasira okuva gye tuli era nga kya kubuulirira eri abasinza (Katonda).
87 . Era (jjukira) ekyafaayo kya nannyini kyenyanja (Yunus) bwe yagenda nga musunguwavu naalowooza nti tetugenda kumusobola, ate bwe yamala okubeera mu kizikiza yakoowoola nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako ggwe wasukkuluma (Mukama wange) mazima nze mbadde mu beeyisa obubi.
89 . Era jjukira Zakaria bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe (naagamba nti) ayi Mukama omulabirizi wange tondeka bwannamunigina (ne bwompa ezzadde nsigala ndi mukkiriza) anti ggwe osinga abasigalawo bonna.
90 . Awo nno twayanukula okusabakwe, era netumuwa Yahaya netusobozesa mukyalawe okuzaala, mazima bbo baalinga bettanira okukola ebirungi era nga batusaba ku lw'okwagala okufuna ebirungi bye tulina ne ku lw'okutya ebibonerezo byaffe era baalinga batugondera.
91 . Era (jjukira) ekyafaayo ky'omukyala (Mariyamu) oyo eyakuuma obwereerebwe olwo nno netumufuuwamu omwoyo ogwava gye tuli netumufuula yye n’omwanawe nga kya kulabirako eri ebitonde byonna.
93 . (Naye abantu) baayawukana mu kigambo ky'eddiini yaabwe wakati waabwe (wabula) bonna gye tuli gye bagenda okudda.
97 . Endagaano eya mazima neba nga esembedde olwo nno oligenda okulaba nga amaaso gaabo abaakaafuwala galalambadde (olw'entiisa nebagamba nti) zitusanze ekintu kino tubadde tukigayaaliridde si kyokka wabula tubadde tweyisa bubi.
98 . Mazima mwe n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda mugenda kubeera nku za Jahannama (omuliro) mwe muli ba kuguyingira.
99 . Singa ebyo (bye musinza) nga baali ba Katonda ddala tebyandiguyingidde naye bonna ba kugubeeramu bugenderevu.
100 . Balituukibwako nga bali mu gwo okuyiriitira era tebagenda kuwulira nga bali mu gwo.
102 . Tebagenda kuwulira lukwakwayo lwa gwo era mazima bo ku ebyo emyoyo gya bwe gye byagala ba kubeera mu byo obugenderevu.
103 . Ebikangabwa ebisinga okuba ebyamanyi tebigenda kubatiisa, ba Malayika balibaaniriza nga babayozaayoza nti luno lwe lunaku lwa mmwe olwo lwe mwali mulagaanyisibwa..
104 . Olunaku lwe tulizingako eggulu nga eggwandiikiro bwe rizingako ebiwandiiko. Mu ngeri y'emu nga bwe twatandika ebitonde bwe tugenda okubizikiriza, nga kikakafu ku ffe anti mazima ekyo tusobolera ddala okukikola.
106 . Mazima ebyo, (ebyogeddwako wano) kwe kubuulirira okwannamaddala eri abantu abasinza Katonda.
107 . Tetwakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) okugyako nga oli kya kusaabira eri ebitonde.
108 . Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima mpeebwa obubaka (nga obubaka bugamba) nti: mazima Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abaffe mmwe munaasiramuka?.
109 . Kale nno bwe bamala nebaawukana ku ekyo, (nebatasiramuka) olwo nno ggwe bagambe nti mwenna mbawulizza kyenkanyi (nga tewali gwe ndeseeyo) era siri nze amanyi nti bye mulagaanyisibwa biri kumpi oba biri wala.
111 . Era simanyi obanga (okubalindiriza n'atabakangavvulirawo) nga kikemo gye muli era nga kubaleka kweyagala okutuusa ebbanga eggere.
112 . (Nabbi Muhammad) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange salawo mu butuufu (wakati wange n'abo abannimbisa) era Mukama omulabirizi waffe omusaasizi ow'ekisa ekingi gwe tusaba obuyambi ku ebyo bye mwogera.
Share