Surah Al-Baqarah ( The Cow )

Surah Al-Baqarah ( The Cow ) - Luganda Aya count 286

1. Alif-laam-miim.
2. Ekitabo ekyo (Kur'ani) tekiriimu kubuusabuusa, (kyassibwa ku Nabbi Muhammad) nga bulungamu eri abatya Katonda.
6. Mazima abo abatakkiriza (ebyo ebyassibwa ku Nabbi Muhammad) kyenkanankana gye bali, obatiisizza oba tobatiisizza ssi ba kukkiriza.
18. Bakiggala, ba kassiru, ba muzibe, tebayinza kudda (ku kkubo ggolokofu).
19. Oba e kifaananyi kyabwe kiringa eky'abantu abali mu nkuba etonnya ng'erimu e kizikiza e kikunidde nga mulimu n'okubwatuka, n'okumyansa, ne kibatuusa okussa ennwe zaabwe mu matu gaabwe olw'okutya okubwatuka nga batya okufa. Katonda yeetoolodde abakaafiiri.
22. (Katonda) y'oyo eyabakolera e nsi nga kyaliiro n'abakolera e ggulu nga kasolya, era n'assa amazzi (e nkuba) okuva waggulu, n'ameza nago e bibala bibeere eby'okulya bya mmwe. Kale nno Katonda temumuteekangako e bintu e birala, ate nga mumanyi (nti ye yekka y'ateekwa okusinzibwa)
23. Naye bwe muba mubuusabuusa mu bye twassa ku muddu waffe (Nabbi Muhammad), kale muleeteeyo E ssuula emu efaananako nga Kur'ani, muyite abajulizi ba mmwe (bemulowooza nti bayinza okubayamba) nga ssi Katonda, bwe muba nga muli b'amazima.
31. (Katonda) N'ayigiriza Adamu amannya g'ebintu byonna oluvanyuma n'abiraga ba Malayika n'abagamba nti; mumbuulire amannya g'ebintu bino bwe mubeera nga mwogera mazima (Nti mwe musaanira okuba abasigire bange ku nsi).
32. Nebagamba nga batendereza nti; oli wanjawulo, ffe tetulina kyetumanyi okugyako ekyo kyoba otuyigirizza. Mazima ggwe muyitirivu w'okumanya omuyitirivu wa magezi.
37. Oluvanyuma Adamu yayiga ebigambo by'okusaba okuva eri Katonda omulezi we (nga yeenenya), era Katonda nakkiriza okwenenya kwe. Mazima yye (Katonda) yakkiriza okwenenya, omusaasizi owookusaasira okwenjawulo.
38. Netugamba nti, kale mwenna mugifulume (e jjana). Buli lwonna obulungamu lwe bun'abajjiranga okuva gyendi, abo abaligoberera okulungamya kwange tebaliba na kutya era tebagenda kunakuwala.
40. Abange abaana ba Israel, mujjukire (mwebaze) ebyengera byange bye nabagabira. Mutuukirize e ndagaano yange (ey'okunzikiriza n'okugondera amateeka gange), nja kutuukiriza e ndagaano yammwe (ey'okubayingiza e jjana). Era nze nzekka gwe muba mutya.
51. Era mujjukire lwe twalagaanyisa Musa ebiro amakumi ana (40) (tulyoke tumuwe e kitabo Taurat) wabula kye mwakola kwe kweteerawo ennyana (ne mugisinza) oluvanyuma lwa Musa okuvaawo, ne mubeera abalyazamaanyi.
53. Era mujjukire lwe twawa Musa e kitabo (Taurat), ekyawula wakati w'obutuufu n'obukyamu mulyoke mulungame.
54. Era mujjukire Musa, lwe yagamba abantu be; abange (mmwe) abantu bange, mazima mweryazaamanyizza mwekka olwokusinza e nnyana. Nolw’ekyo mwenenyeze omutonzi wa mmwe. Mukutuukiriza ekyo mwette mwekka. Ekyo kye kirungi gye muli ew'omutonzi wa mmwe. Bwe mwakola ekyo Katonda kwe kubasonyiwa, mazima ddala ye, yakkiriza okwenenya era omusaasizi.
55. Era mujjukire lwe mwagamba Musa nti; owange Musa, tetujja kukkiriza byogamba okugyako nga tulabye Katonda yennyini (amangu ago) okubwatuka okwamaanyi ne kubajjira (ne mufa) nga mutangaaliridde.
60. Era mujjukire e kiseera Musa weyasabira Katonda, awe abantu be amazzi, netumugamba nti kuba omuggo gwo ku jjinja. (Bwe yagukubako) Nemufukumukamu e nsulo kkumi nabbiri (12). Buli kika (kya bayisirayiri) ne kimanya obunywero bwakyo. (Katonda nabagamba nti) Mulye, munywe mu bigabwa bya Katonda, temwewaggulanga mu nsi ne mubeera aboonoonyi.
61. Era mujjukkire lwe mwagamba Musa nti, tetujja kugumiikiriza mmere ya kika kimu kyokka. Tusabire Omuleziwo (Katonda) atumereze e bimera okuva mu ttaka nga; enkoolimbo, kyukamba, katungulukyumu, ddengu n'obutungulu. (Musa) kwe kugamba nti muwanyisa ebyawansi mu kifo ky'ebirungi. Mugende awantu wonna awasobola okulimwa olwo nno munaafuna ebyo bye musabye. Nebakakasibwako obuswavu n'obunaku, era ne bakakatwako obusungu bwa Katonda. Ekyo nno lwakuba baali bawakanya ebigambo bya Katonda, era nga batta ba Nnabbi awatali nsonga ntuufu. Baakola ebyo byonna olw'obujeemu nebaba nga baasukka e nsalo z'amateeka ga Katonda.
62. Mazima abo abakkiriza (Nabbi Muhammad) n'abo abaali ku ddiini y'ekiyudaaya, (ku mulembe gwayo), naabo abaali ku ddiini y’ekinaswara (ku mulembe gwayo), ne ba sswabi-ina (Abo abataasinza masanamu nga Nabbi Muhammad tannatumwa), yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero era naakola e mirimu e mirungi, abo nno balina e mpeera zaabwe ew'omulezi waabwe era tewaliba kutya ku bo era tebagenda kunakuwala.
63. Era mujjukire (mmwe abaana ba Israel) lwe twabakozesa e ndagaano. Netuwanika waggulu wa mmwe olusozi (ne tubagamba nti) mukwate namaanyi ebyo byetubawadde (Taurat). Era mujjukire ebyo ebiri mu yo mulyoke mubeere abatya Katonda.
65. Mazima mwamanya (ekyafaayo) kyabo abamu mu mmwe abaasukka ensalo nebavuba ku lunaku lwomukaaga. Netubagamba nti mufuuke enkobe, mubeere abanyoomebwa.
66. Netukifuula ekyokulabula eri abo abaaliwo n'abo abalijja oluvanyuma. Era netukifuula ekyokubuulirira eri abo abatya Katonda.
68. Abayudaaya nebagamba nti; tubuulize Mukamaawo atunnyonnyole ente eyo ya ngeri ki? Musa naagamba nti; mazima Katonda agamba nti; ente eyo eteekwa okuba nga si nkadde, ate nga si nto nnyo, eri wakati w'enkadde n'ento. Era muteekwa okukola ekyo kye mulagiddwa.
69. (Abayudaaya) ne bagamba nti; tubuulize Mukamaawo atunnyonnyole (ente eyo) ya langi ki? Naagamba nti; Katonda agamba nti ente eyo ya langi yalusanja ng’ennyikidde bulungi nnyo, nga esanyusa abalabi.
71. (Musa) naagamba nti; (Katonda) agamba nti; erina kubeera nte etenyoomebwa, nga si nnimi era nga tefukirira nnimiro, nga nnamu bulungi, eteriimu bbala ddala lyonna. Nebagamba nti; kaakati otulaze amazima. Olwo ne balyoka basala ente, naye kaabula kata baleme okukikola.
72. Era mujjukire lwe mwatta omuntu, ensonga yokutemulwa kwe nemugikaayaniramu (ani yamusse). So nga ate Katonda yali wakuggyayo ebyo byemwali mukisizza.
73. Netugamba nti; mumukubeko ebimu ku bitundu by'ente. Bwatyo Katonda bwalizuukiza abafu, era bulijjo abalaga obubonero bwe, (obulaga obuyinza bwe) mulyoke mutegeere.
76. (Abayudaya) bwebaasisinkananga abakkiriza nga bagamba nti tukkirizza. Kyokka bwebaba bokka na bokka, abamu bagamba bannaabwe nti muyinza mutya okubabuulira ebyo Katonda bye yababikkulira ate nga bajja kubasingisa nabyo omusango ewa mukama wa mmwe (Katonda), abaffe temutegeera.
78. Era mu bo (Abayudaaya) mulimu abatasobola kusoma na kuwandiika, nga tebasobola kumanya biri mu kitabo (Taurat). Wabula babeera ku kwagala kwa mitima gyabwe. Era tebalina kyebaliko, okugyako bateebereza buteebereza.
79. Okubonaabona okwamaanyi kuli eri abo abawandiika ekitabo n'emikono gyabwe, bwebamala ne bagamba nti kino kivudde eri Katonda, nga kyebagenderera kuwaanyisaamu (byakufuna bya nsi) eby'omuwendo ogwa wansi. Bagenda kutuukwako okubonaabona olw'ebyo emikono gyabwe bye gyawandiika, ng'era bwe bagenda okutuukwako okubonaabona olw'ebyo bye baafunamu.
83. Era mujjukire lwe twakozesa abaana ba Israel endagaano nti; temusinzanga ekintu kyonna okugyako Katonda. Bo abazadde ababiri, n'abooluganda olw'okumpi, ne bamulekwa n'abanaku mubayisenga bulungi. Era mwogerenga bulungi n'abantu. Era muteekwa okuyimirizaawo e sswala, mutoole ne zzaka. Wabula (mu kifo ky'okukola ebyo) mwakyuka, okugyako batono mu mmwe ng'ate mu kukola ekyo mwali muva ku ndagaano.
85. Wabula ate mmwe mwennyini muttiηηana era nga mugobaganya abamu ku mmwe mu mayumba gabwe. Muyamba abamu ku bannammwe mu ngeri emenya amateeka, era mu ngeri y'obulumbaganyi. So nga ate abawambe bwebaba babajjidde mubanunula. Awamu n'okuba nga eky'okubagobaganya mu mayumba gabwe kyaziyizibwa. Abaffe ekitabo mukkirizaako kitundu ne muwakanya ekitundu ekirala? Kaakano kiki kyemusuubira okuba empeera y'omu mu mmwe akola ekikolwa ekyo, okugyako okuswazibwa mu bulamu obw'ensi ng'ate ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kuzzibwa eri ebibonerezo ebisinga okuba ebikakali. Katonda tasudde muguluka ebyo bye mukola.
88. Ne bagamba nti emitima gyaffe mizibikivu. Wabula Katonda yabagoba mu kusaasira kwe olw'obutakkiriza bwabwe. Nekiba nga bakkiriza kitono nnyo.
89. Ekitabo (Kur'ani) bwe kyabajjira okuva eri Katonda nga kikakasa bye baalina. Ate nga mu kusooka baali basaba Katonda abataase ku batakkiriza (abe nga abatumira Nabbi gwe baali balindirira). Wabula bwe yabajjira oyo gwe baali bamanyi, baamuwakanya. Ekikolimo kya Katonda kibeere ku batakkiriza.
90. Kibi nnyo ekyo kye baagulamu emyoyo gyabwe olw'obutakkiriza Katonda byeyassa nga kiva ku nsaalwa okuba nti Katonda assa obulungi (Obwannabbi) bwe ku oyo gw'aba ayagadde mu baddu be. Ekyo kyabatuusa ku kusunguwalirwa Katonda, nga kweyongera ku kusunguwalirwa okulala. Abatakkiriza balituusibwako ebibonerezo ebibakkakkanya nga bibaswaza.
92. Mazima Musa yabajjira n'obunnyonnnyofu wabula ate bweyavaawo okugenda (okunona amateeka) nemweteerawo ennyana nemugisinza. Mu kikolwa ekyo mwali balyazamaanyi.
93. Era mujjukire ekiseera lwe twabakozesa endagaano, nga tuwanise olusozi waggulu wa mmwe. Ne tubagamba nti, bye tubawadde mubikwate n'amaanyi era muwulire. Baayanukula nebagamba nti, tuwulidde ne tujeema. Emitima gyabwe gyabbikira mu kusinza ennyana olw'obutakkiriza bwabwe. Bagambe nti kibi nnyo enzikiriza yammwe ky'ebalagira bwe muba nga ddala muli bakkiriza.
96. Era ddala ojja kubasanga nga be basinga abantu bonna okululunkanira okuwangaala. Mu kwagala okwo basukkuluma ne ku bagatta ebintu ebirala ku Katonda nga noomu ku bo yeegomba okuwangaala emyaka lukumi, so ng'ate eky'okuwangaala ebbanga eddene tekimuwonya bibonerezo. Katonda alaba byonna bye bakola.
97. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti omuntu awalana Jiburilu, (ateekwa amanye nti) mazima ye Jiburilu yakuleetera Kur'ani nga asinziira ku kiragiro kya Katonda, ng'ekakasa ebitabo ebyagikulembera era nga kyakulungamya na kusanyusa eri abakkiriza.
100. Abaffe buli lwonna (Abayudaaya) lwe banaakolanga endagaano, abamu ku bo banaagyaawukanangako? Wabula (ekyo) bakikola (kubanga) abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
102. Nebagoberera ebyo sitaani bye zaayogeranga (eby'eddogo) ku mulembe gw'obufuzi bwa Sulaimani (nga babalowoozesa nti Sulaimani lye yakozesanga), so ng'ate Sulaiman tajeemeranga Katonda (alyoke akozese eddogo) wabula sitaani ze zaajeemera Katonda nga ziyigiriza abantu eddogo n'ebyo ebyassibwa ku ba malayika ababiri e Babilooni, Haaruta ne Maaruta.
103. Wabula singa bakkiriza (Nabbi Muhammad) era ne batya Katonda, empeera ze baalifunye okuva eri Katonda zaalibadde nnungi gye bali (okusinga eby'eddogo) singa baali bamanyi.
104. Abange mmwe abakkiriza, temukozesanga ekigambo Raa'ina (nga mwogera ne Nabbi Muhammad) wabula mugambenga Undhuruna. Era mubeerenga bawulize. Bo abo abajeemu balina ebibonerezo ebiruma ennyo.
105. Abo abajeemu mu bagoberezi b'ebitabo ebyasooka, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala, tebaagalira ddala kalungi konna okuba nga kassibwa gye muli okuva eri Omulezi wa mmwe (Katonda). So ng'ate Katonda assa okusaasira kwe n'akwawulira oyo gw'aba ayagadde. Era Katonda ye nannyini byengera ebingi.
111. Era nebagamba (nga bakubagana empawa) nti teri agenda kuyingira jjana okugyako abali mu ddiini y'abayudaaya oba ey'abannaswara. Okwo nno kwe kusuubira kwabwe. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti, muleete obujulizi bwa mmwe bwe muba nga mwogera mazima.
115. Obuvanjuba n'obugwanjuba bya Katonda, kale yonna gyemuba mwolekedde nga musaala eyo y'eri ekibula kya Katonda, mazima Katonda mugazi mu ngeri zonna era mumanyi nnyo.
118. N'abo abatalina kyebamanyi bagamba nti singa Katonda ayogera naffe butereevu, oba netuwebwa ekyamagero. Ekigambo ekyo n'abo abaabasooka baakyogera olwo nebafaanagana mu ndowooza zaabwe, so nga twannyonnyola obujulizi obw'olwatu obukakasa amazima g'ababaka be tutumye eri abantu abalina amagezi agafumiitiriza.
124. Jjukira mu kiseera awo Katonda weyagezesa Ibrahim n'ebiragiro (Ibrahim) n'abituukiriza, (Katonda) n'amugamba nti mazima nkufudde omukulembeze w'abantu. (Ibrahim) naagamba nti; nsaba ne mu zzadde lyange muveemu abakulembeze. (Katonda) n'amugamba nti endagaano yange tetwaliramu balyazamaanyi.
125. Era jjukira ekiseera lwetwafuula e nyumba (Kaaba) okuba nga bwe buddo bw'abantu era ekifo eky'emirembe, era netubalagira nti; ekifo kya Ibrahim mu kifuule awasaalirwa. Era twalagira Ibrahim ne Ismail nti mube nga mutukuza e nyumba yange ku lw'abo abagyetooloola n'abagituulamu, n'abo abakutama ne bavunnama.
126. Era Jjukira ekiseera Ibrahim bweyagamba nti; ayi mukama omulezi wange (Katonda) ekibuga kino kifuule kya mirembe era ogabirire abantu baamu ebibala, buli anakkirizanga Katonda n'olunaku lw'enkomerero. (Katonda) naagamba nti n'aliba takkiriza (ηŋenda kumugabiriranga) mulindirizeeko akaseera katono oluvanyuma ηŋenda kumuzza eri ebibonerezo by'omuliro. Obwo nno buddo bubi ddala.
127. Era jjukira ekiseera Ibrahim ne Ismail bwe baasitula omusingi gw'enyumba (Kaaba) nga bagamba nti; ayi mukama omulezi waffe (Katonda) kkiriza omulimu gwaffe guno mazima ggwe oli muwulizi era mumanyi.
128. Ayi mukama omulezi waffe (Katonda), tufuule ffembiriri abeewaayo gyoli era ne mu zzadde lyaffe oggyemu abalyewaayo gy'oli, era otulage engeri gye tuteekwa okukolamu emirimu gyaffe (egya Hijja). Era tusonyiwe, mazima ggwe oli musonyiyi oweekisa.
131. Era jjukira ekiseera omuleziwe (Katonda) lwe yamugambira nti; weeweeyo (siramuka). (Ibrahim) naagamba nti; neewaddeyo eri Katonda omulezi w'ebitonde.
132. Era Ibrahim (ekigambo kyo kwewaayo) yakiraamira abaana be, nga ne Yakuubu bwe yakiraamira ababe nti; baana bange mazima ddala mukama Katonda yabasiimira eddiini, kale nno okufa tekubatuukangako okugyako nga muli basiraamu.
135. Era (abayudaaya n'abakurisitaayo) baagamba nti; mubeere bayudaaya oba bakurisitaayo lwemunaaluηηama. Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti; nedda tujja kugoberera ddiini ya Ibrahim eragira okusinza Katonda omu yekka, era (Ibrahim) tabangako mubagatta kintu kirala ku Katonda
137. Bwe banakkiririza mu ebyo bye mukkiriza, olwo ban'aba baluηηamye. Naye bwe banaava ku nzikiriza eyo, mazima ddala bo bajja kubeera mu kuwalaaza mpaka. Era nga Katonda ajja kubakukolerako. Era ye (Katonda) awulira, era mumanyi.
138. (Obusiraamu) y'eddiini Katonda gyayagala munnyikiremu. Ate ani asinga Katonda okunnyikiza, era naffe oyo gwe tusinza.
139. Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti; mutuwakanya ku bikwata ku Katonda. Ng'ate Katonda ye mulezi waffe era omulezi wa mmwe. Tukola emirimu gyaffe nga nammwe mukola egyammwe so ng'ate ffe tumusinza mu bumu bwe yekka.
144. Tulaba nga okyuka amaaso go nga otunula ku ggulu (gwe Muhammad ng'olinda obubaka ku nsonga y'ekibula). Tujja kukwolekeza ekibula ky'oyagala. Kale yolekeza amaaso go ku luuyi oluliko omuzikiti ogw'emizizo. Na buli wonna wemubeeranga muteekeddwa okwolekeza amaaso gammwe oluuyi lwo. Mu mazima abo abaaweebwa ekitabo bakimanyidde ddala nti bino ge mazima okuva eri Katonda waabwe. Ng'ate byonna byemukola tewali kibuuka Katonda.
147. Gano ge mazima agava eri Katonda wo. Tobeereranga ddala n'omulundi n'ogumu mu abo ababuusabuusa.
152. Kale nno munzijukire nga munjogerako. Nja kubajjukira. Era munneebaze, temunjeemeranga.
158. Mazima akasozi Swaffa n'akasozi Maruwa bubalibwa mu bifo ebisinzibwamu mukama Katonda. Kale nno omuntu aba azze okwetooloola e nyumba ya Katonda (Kaaba) oba ng'azze kukola mikolo gya Umura tasaanye kutya kudduka wakati wobusozi bwombiriri. N'omuntu okukola obulungi mu ngeri ya kyeyagalire, (mumanye nti) Katonda asiima nnyo era mumanyi nnyo.
160. Okugyako abo abeenenya ne balongoosa, nebannyonnyola ebyo (bye baakweka). Abonno, nzikiriza okwenenya kwabwe ate nze muyitirivu w'okukkiriza okwenenya era omuyitirivu w'okusaasira.
162. (Abantu abo) Baakubeera mu muliro obugenderevu, tebagenda kukendeerezebwa ku bibonerezo ng'era bwebatagenda kulindirizibwa (kubonerezebwa).
163. Mazima Katonda wa mmwe ali omu, tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye omusaasizi omuyitirivu wokusaasira aliba n'okusaasira okwenjawulo (ku lunaku lw'enkomerero).
165. Naye mu bantu mulimu abaleka Katonda, nebeeteerawo ebintu ebirala nebasinza ebyo, ne babyagala nga bwe baaliyagadde Katonda. So nga bo abakkiriza baagala nnyo Katonda waabwe (omu) (nga okwagala kwabwe kuli ku ye yekka). Singa abagatta ebintu ebirala ku Katonda baali basobola okulaba ebibonerezo lwebirituuka, baalibadde bamanya nti Katonda wa maanyi nnyo era nga bwe baalibadde bamanya nti ddala Katonda muyitirivu wakubonereza.
170. Bwebaba nga bagambiddwa nti mugoberere ebyo Katonda bye yassa (ku Nabbi Muhammad) baddamu nga bagamba nti; ffe tugoberera ebyo byetwasanga ne bakadde baffe. Abaffe ne bwebabanga bakadde baabwe baalinga tebategeera kintu kyonna era nga tebaali baluŋŋamu?
171. Ekifaananyi ky'abantu abo abatakkiriza n'oyo abakoowoola okujja eri obukkiriza kiringa omulunzi akoowoola ensoloze ne zijja gy'ali naye nga tezitegeera ky'aziyitira wabula okuwulira amaloboozi n'okukoowoolwa. (Abatakkiriza abo) Bakiggala, bakassiru, bamuzibe, tebagenda kutegeera kintu kyonna.
173. Mazima ddala (Katonda) yabagaana okulya ennyamanfu, n'omusaayi, n'ennyama y'embizzi, na buli kyonna ekisalibwa ku lw'ekintu ekirala ekitali Katonda. Wabula omuntu abeera mu buzibu nga si lwabujeemu, era n'atasukka kyetaago kye, oyo nno talina musango (bw'aba aliddeko). Mazima Katonda musonyiyi, musaasizi.
176. Ekyo kiriba bwekityo kubanga Katonda yassa ekitabo nga kiraga amazima. Naye nno abo abatakkaanya ku biri mu kitabo okwawukana kwabwe kuli wala nnyo n'ebyo ebikirimu.
177. Obulungi obubalibwa eri Katonda, tebwemalidde mu kwolekera kwa mmwe ebuvanjuba oba ebugwanjuba, wabula obulungi ye muntu okukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, ne ba malayika n'ekitabo (Kur’ani) ne bannabi bonna, n'omuntu okuba nga awaayo ebyobugaggabwe (mu kkubo lya Katonda) awamu n'okuba nga abyagala, nga abiwa abooluganda olwokumpi ne bamulekwa n'abanaku n'abatambuze abalemereddwa mu ŋŋendo zaabwe, n'abasabirizi n'abaagala okwenunula okuva mu buwambe. Era n'ayimirizaawo e sswala, n'atoola ne zzaka mu by'obugaggabwe. N abo abatuukiriza endagaano zaabwe bwebaba nga balagaanyisizza, n'abagumiikiriza mu buzibu, obubenje ne mu biseera bye ntalo. Abo nno be bakkiriza okukkiriza okwannamaddala, era abo bo be batya Katonda.
178. Abange mmwe abakkiriza mulaalikiddwako nti ekibonerezo ky'oyo aba atemudde kumutta; omwana waboowo attibwa olw'okutta omwana wabobwe, n'omuddu attibwa olw'okutta muddu munne, n'omukazi attibwa ku lwokutta mukazi munne. Asse, bannannyini mufu bwe baba bamusonyiye ekintu kyonna, ababanja bateekwa okubanja mu ngeri nnungi, n'abasasula basasule mu ngeri y'emu. Okwo kwe kuwewula n'okusaasira, ebyava eri Katonda wa mmwe. (Oluvanyuma lw'okusasula) oyo alumba n'atta eyasonyiyiddwa naye ateekwa okuweebwa ekibonerezo ekiruma nga ky'akuttibwa (awatali kusonyiyibwa oba okuwa engassi).
179. Okuwa abatemu ekibonerezo ky'okufa mwemuli obulamu bwa mmwe, abange mmwe abalina amagezi, mulyoke mutye Katonda.
180. Mulaalikiddwako singa (kirabika nti) omu ku mmwe atuuse okufa n'aba nga aleseewo ebintu, ateekwa okulaamira bazaddebe bombi n'aboolugandalwe olw'okumpi nga akikola mu ngeri ennungi. Ekyo kikakafu ku batya Katonda.
182. Naye omuntu bweyeekengera mu mulaami okwekubiira oba okukola ekikyamu, ye nalongoosa wakati waabwe (abalaamirwa) oyo tayina kibi. Mazima Katonda musonyiyi, musaasizi.
184. Nga musiiba ennaku mbale bubazi, naye oyo an'abanga omulwadde mu mmwe, oba ng'ali ku lugendo, (akkirizibwa obutasiiba) ennaku ezo azisiibe mu nnaku endala. Bo abo abasiiba nga bazitoowererwa (bayinza obutasiiba) nebawa omutango nga baliisa abanaku. Bulijjo omuntu bw'akola ekirungi ekisinga kw'ekyo kyalagiddwa okukola, kye kirungi gyali. Wabula singa musiiba kiba kirungi gyemuli bwe muba nga mumanyi.
185. (Ekiseera ekibalaalikiddwako okusiiba gwe) mwezi gwa Ramadhan, Kur'ani mwe yakkira. Nga (Kur'ani) kya kulungamya eri abantu. Era nga mulimu obujulizi obunnyonnyola obulungamu era nga mulimu okulaga enjawulo wakati w'amazima n'obulimba. N'olwekyo omuntu abeerangawo ng'omwezi gwa Ramadhan gutuuse ateekwa okugusiiba. Naye oyo asangibwa nga mulwadde, oba ng'ali ku lugendo ennaku ezo azibale azisiibe mu kiseera ekirala. Bulijjo Katonda abaagaliza bwangu so si kubakaluubiriza. Kale nno mujjuze ennaku (ze mwalya mu Ramadhan) era mutendereze Katonda olw'okubaluŋŋamya, olwo mubeere abeebaza.
186. Abaddu bange bwe baba bakumbuuzizzaako bagambe nti mazima ndi kumpi, nnyanukula okusaba kw'omusabi wonna wansabira. Wabula bateekwa bannyanukule (nga bagondera ebiragiro byange) era banzikirize balyoke batuuke ku bulungamu.
187. Mukkirizibwa mu kiro ky'okusiiba okukiika eri bakyala ba mmwe, abakyala abo byambalo byammwe nga nammwe bwemuli ebyambalo by'abwe. Katonda amanyi nti mazima ddala mmwe mubadde mwebbirira, Katonda kwekukkiriza okwenenya kwa mmwe era n'abasonyiwa. Kaakati mugende gyebali era mukole ekyo Katonda kye yabakkiriza. Mulye era munywe okutuusizza ddala ewuzi enjeru (nga kye kitangaala) bwenebeeyolekera okuva mu wuzi enzirugavu (nga ye nzikiza) ng'okwo kwe kusala kw'emmambya. Olwo nno musiibe okutuusa obudde okuziba. Temukiikanga gye bali nga mutudde Itikaafu mu mizigiti. Ezo z'ensalosalo za Katonda, temuzisembereranga. Bwatyo nno Katonda bw'annyonnyola amateekage eri abantu balyoke bamutye.
193. Mubalwanyise waleme kubaawo misanvu gyonna, olwo nno okusinza kwonna kube kwa Katonda yekka. Naye bwe baba beekomyeko olwo nno tewasaanye kubaawo bulabe okugyako ku balyazamaanyi.
196. Mukole Hijja ne Umra mubujjuvu kulwa Katonda naye bwe mulemesebwanga, buli muntu ateekwa okuwaayo ekirabo ky'aba asobola, wabula temumwanga mitwe gyammwe okutuusa ekirabo nga kituuse mu kifo kyakyo. Naye oyo an'abanga omulwadde mu mmwe oba ng'alina ekizibu ekirala ku mutwe gwe oyo ateekeddwa okutoola omutango ng'asiiba oba awaayo saddaaka oba okusala ekisolo. Naye bwe mun'abanga mu mirembe, oyo yenna anaakozesanga omukisa gw'okukulembeza Umra ku Hijja atekeddwa okuwaayo ekirabo ky'aba asobodde, naye oyo an'abanga takirina ateekeddwa okusiiba ennaku ssatu ng'akyali mu Hijja nendala musanvu nga muzzeeyo, eryo nno lyekkumi (10) eryekutte. Ebyo biba bityo ku oyo amakaage nga tegali wali muzigiti gw'emizizo (Makkah). Mutye Katonda, era mumanye nti mazima ddala Katonda alina ebibonerezo ebikakali.
197. Hijja erina emyezi egimanyiddwa, kale nno omuntu eyeekakasangako nti mu myezi egyo ajja kukoleramu Hijja, tasaana kukola bya bufumbo, eby'obwonoonyi, wadde okuwakana ng'ali mu mikolo gya Hijja. Buli kirungi kyonna kyemukola Katonda akimanyi. Era muteekeddwa okwesibirira entanda. Nentanda esinga obulungi kwe kutya Katonda. Kale nno muntye mmwe abalina amagezi agasengejja.
204. Mu bantu mulimu omuntu nga ebigambo bye bikusanyusa mu bulamu obw'ensi era nga ajuliza Katonda kw'ekyo ekiri mu mutima gwe, so nga ye mulabe asingira ddala (eri obusiraamu n'abasiraamu).
210. Tebalina kye balinda, mpozzi nga balinda Katonda kubajjira ngali mu bisiikirize by'ebire ne ba malayika bajje. So nga ate (ebyo webiribeererawo) ebintu by'ensi byonna biriba bimaze okukoma, era eri Katonda y'eri obuddo bw'ebintu byonna.
213. Abantu baali bumu (naye olw'ensonga emu oba endala nebaawukana) Katonda kwe kutuma ba nnabbi nga balanga essanyu (eri abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi) era nga batiisa (ebibonerezo ebirituuka ku bajeemu). Katonda nabassaako obubaka obujjudde amazima alyoke abe ngalamula abantu mwe byo bye bayawukanamu. Naye tewali bayawukana mu bubaka okugyako abo bennyini abaabuweebwa, era nga mu kujja kw'obubaka obwo baali baafuna obunnyonnyofu. Ekyo kyali bwe kityo olw'obujeemu bwabwe. Katonda kwe kulungamya abo abakkiriza ku lw'ekisakye eri amazima ago, bali gebaayawukanamu. Era bulijjo Katonda aluŋŋamya gwaba ayagadde eri ekkubo eggolokofu.
Era bulijjo bajja kubalwanyisanga okutuusa lweban'abajja ku ddiini yammwe, singa bakisobola. Naye oyo gwekanaatanda mu mmwe naava ku ddiiniye n'atuuka okufa nga mukaafiiri; abo nno bayonoonekerwa emirimu gyabwe ku nsi ne ku nkomerero, era abo be bagenda okutuula mu muliro era baakugubeeramu bugenderevu. 218. Mazima ddala abo abakkiriza era abaasenguka ne balafuubana mu kkubo lya Katonda; abo nno be basuubira okusaasira kwa Katonda. Era Katonda musonyiyi, musaasizi.
219. Bakubuuza ebikwata ku mwenge ne zzaala, bagambe nti mu by'ombiriri mulimu ekibi kinene, nga bwe mulimu emigaso eri abantu. Naye ekibi kyabyo kye kinene okusinga emigaso egibirimu. Ate era bakubuuza nti baweeyo kigero ki mu mmaali zaabwe, bagambe nti mugabenga ekyo ekiba kifisse ku byetaago byammwe. Bwatyo nno Katonda bwa bannyonnyola amateekage mulyoke mufumitirize.
220. (Musobole okutegeera) ebikwata ku bulamu buno obw'okunsi n'obwoluvanyuma. Era bakubuuza ku bikwata ku bamulekwa, bagambe nti okubakolera ebyabwe nga byetongoredde kirungi, naye singa mubigatta n'ebyammwe anti baganda ba mmwe, era Katonda amanyi omwonoonyi n'omukozi w'obulungi. Singa Katonda yayagala yandibakaluubirizza. Mazima Katonda wa maanyi wa magezi.
221. Temuwasanga abagatta ku Katonda ebintu ebirala okutuusa lwe bakkiriza. Omuzaana omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Katonda ebintu ebirala newakubadde nga gwe mwandyagadde. Era temufumbizanga bawala ba mmwe eri abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala okutuusa lwe basiramuka. Omuddu omukkiriza ye mulungi okusinga oyo agatta ku Katonda ebintu ebirala newakubadde nga gwe mwandyagadde. (Mumbeera zaabwe zonna) bakoowoola abantu nga babazza eri omuliro, so nga ate Katonda abakoowoola kubazza eri jjana n'ekisonyiwo okusinziira ku kwagala kwe, era annyonnyola abantu ebigambo bye balyoke basobole okwekuba mu kifuba.
223. Bakyala ba mmwe nnimiro zammwe musobola okugenda mu nnimiro zammwe nga muyita wonna wemuba mwagadde era bulijjo mwetegekere (nga mukola emirimu emirungi) era mutye Katonda mumanye nti mazima ddala mugenda kumusisinkana, era sanyusa abakkiriza.
224. Temufuulanga erinnya lya Katonda ekyekwaso eky'obutamenyawo birayiro byammwe, nemutuuka obuteeyisa bulungi n'obutatya Katonda nemutuuka n'obutasobola kulongoosa wakati w'abantu. Bulijjo Katonda awulira era mumanyi nnyo.
226. Abo ababa beetemye engalike nti tebagenda kuddayo kulabagana na bakyala baabwe baweebwa ebbanga lya emyezi ena, bwe baddira bakyala baabwe mu myezi egyo mazima ddala Katonda musonyiyi musaasizi.
227. Naye bwe baba baguggubidde ku ky'okuta bakyala baabwe, mazima ddala Katonda awulira, amanyi nnyo.
228. Abakyala abaweereddwa talaka bateekeddwa okumala ebbanga lya ntukula ssatu era tebakkirizibwa kukweka ekyo Katonda kyaba atonze mu nnabaana waabwe bwe baba ddala nga bakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero. Era (mu kiseera ekyo) ba bbaabwe be balina okubaddira. Ekyo nno bwe baba nga bagenderera kulongoosa. Abakyala abo bateekeddwa okuweebwa nga ekyo nabo kyebateekeddwa okuwaayo mu ngeri ennungi, naye nga abasajja babalinako enkizo. Anti Katonda y'asinga okuba ow'obuyinza era nga bwa singa okuba ow'amagezi.
229. Okuta omukyala (nga omwami aweebwa omukisa okumuddira) kibaawo emirundi ebiri. Mu kiseera ekyo omwami ayinza okusalawo okuddira mukyalawe mu mwoyo mulungi, oba okumuta mu ngeri ennungi. Era temukkirizibwa kujja ku bakyala ba mmwe (be mutadde) kintu kyonna kwebyo bye mwabawa okugyako nga beekengedde obutatuukiriza mateeka ga Katonda mu bufumbo. Kati bwekiba nga mutidde (mwe abatabaganya) nti abafumbo bombi tebajja kusobola kutuukiriza mateeka ga Katonda mu bufumbo, tebalina musango gwonna mu kutwala ekyo omukyala kyaba yeenunula nakyo. Ago ge mateeka ga Katonda temugasukkanga. Oyo yenna amenya amateeka ga Katonda; abo nno be balyazamaanyi.
230. Naye omusajja bwaba atadde mukyalawe (talaka ey'okusatu) aba takyakkirizibwa kumuddira mu bufumbo oluvanyuma lwa taraka eyo okugyako nga amaze okufumbirwa omusajja omulala. Omusajja oyo omulala bw'aba amutadde tewaba musango okuddingana (N'oli eyasooka okumuta enta essatu) kasita basuubira nti bombi banaatuukiriza amateeka g'obufumbo. Ago nno gemateeka ga Katonda agannyonnyola abantu abategeera.
231. Bwe muba mutadde abakyala (etali Talaka esembayo) ebbanga lyebalina okutuula neliggwaako (mwe ababayinako obuyinza) temubalemesanga okuddamu okwewoowa nebabbaabwe kavuna baba bakkaanyizza mu ngeri e nnnungi (mukole ekimu kubibiri) okubaddira mu bufumbo mu ngeri e nnungi oba okwawukana nabo mu ngeri y'ekintukiramu. Temubaddiranga olw'okubalumya nga mumenya amateeka g'obufumbo. Omuntu akola ekyo aba yeereetedde yekka obuzibu. Temufuula amateeka ga Katonda ag'olusaago. Mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa n'ebyo byeyabassiza mu Kur’ani ne mu njigiriza (ya Nabbi Muhammad) ebyo by'ababuulirira nabyo. Mutye Katonda mumanye nti buli kintu kyonna kyemukola akimanyi.
233. Abazadde (abakyala) balina okuyonsa abaana baabwe emyaka ebiri egijjudde, eri abo ababa baagadde okuyonsa okujjuvu. Kikakata ku ba taata b'abaana okubalabirira n'okubambaza mu ngeri esaana, omuntu taakakibwenga ky'atasobola. N'omukyala taayisibwenga bubi olw'omwana gw'ayonsa. Wadde kitaawe w'omwana naye tasaanidde kuyisibwa bubi olw'omwanawe. N'oyo aba asikidde taata wa baana ayisibwa mu ngeri y'emu. Bwebaba nga bakkiriziganyizza bombi okuggya omwana ku mabeere nga bayise mu kuteesa olwo tewaba namusango gwonna. Bwe muba mwagadde omukyala omulala okubayonseza omwana temulina musango gwonna kasita muba nga muwaddeyo ebyo byemukkiriziganyizzaako mu ngeri ennungi. Era mutye Katonda, era mumanye nti mazima Katonda alaba byonna bye mukola.
234. Ate abo ababa bafudde mu mmwe nebaleka abakyala bateekwa okwekuuma nga tebanaddamu kufumbirwa ebbanga lya myezi ena ne nnaku kumi. Bweriba nga ebbanga eryo liweddeko, temulina musango mwekyo kyebaba bakoze mu by'okwewunda (n'okukkkiriza abaagala okubawoowa) mu ngeri y'ekintukiramu (etemenya mateeka gabusiraamu). Katonda mumanyi nnyo ku byemukola.
235. Era temulina musango olw'ekyo kyemuba mukoze nga temwatudde nga mugenderera okwogereza abakyala (abo) oba kyemuba mukwese mu mitima gyammwe. Katonda amanyi nti mujja kwogera nabo (kunsonga y'okubawasa) naye temubalagaanyisanga mukyama mu ngeri yaakukukuta, okugyako nga mubagamba ebigambo ebirungi. Temwetantalanga kukola ndagaano y'abufumbo n'abakyala abo (abali mu Idda) okutuusa ebbanga (lya Idda) nga liweddeko. Era musaana mumanye nti mazima Katonda amanyi ebiri mu myoyo gyammwe. Mumwegendereze awamu n'ekyo mumanye nti muyitirivu waakusonyiwa era waakisa kingi.
237. Wabula bwe muba nga mubatadde nga temunnaba kwegatta nabo naye nga mwabagerekera amahare, mubawe kitundu kyago, okugyako nga abakyala abo bagasonyiye oba nga asonyiye oyo alina obuyinza okukakasa endagaano y'obufumbo (omusajja). Naye bwe muba nga musonyiye, ekyo kye kisinga okuba okumpi n'okutya Katonda. Temwerabiranga enkolagana ennungi ebadde wakati wa mmwe. Mazima Katonda alaba ebyo byonna byemukola.
238. Munyiikirire nnyo e sswala zonna ettaano, naddala e sswala y'omumakkati; muyimirire mu maaso ga Katonda nga muli bakkakkamu.
239. Wabula bwe muba nga mutidde (omulabe) musaale nga mutambula oba nga mwebagadde. Wabula bwekuba nga okutya kuvuddewo mutendereze Katonda (nga musaala) nga bweyabayigiriza ebyo byemwali temumanyi.
240. Abo abatuukwako okufa mu mmwe nebaba nga balese abakyala, Katonda alagira nti abakyala abo bateekwa okulabirirwa omwaka mulamba awatali kubagobaganya mu mayumba g'aba bbaabwe. Wabula bwe bagavaamu kyeyagalire olwo nno muba temukyalina buvunaanyizibwa kw'ekyo kyebaba bakoze mu kwekolako nga beenyiriza. Bulijjo Katonda wa maanyi, ate nga agoba nsonga.
241. (Mu ngeri y'emu) n'abakyala ababa batalakiddwa bateekeddwa okusibirirwa mu ngeri ennungi. Ekyo kikakafu kwabo abatya Katonda.
248. Nabbi waabwe n'abagamba nti mazima akabonero akakakasa obw’akabaka bwe kwekuba nti mujja kujjirwa essanduuke ng'erimu obutebenkevu okuva eri Mukama Katonda wa mmwe. Era nga mulimu ebyasigalawo kw'ebyo abantu ba Musa () n’abantu ba Haruna () bye baaleka (Essanduuko eyo) ejja kuba esituddwa ba malayika. Mazima ekyo nno ddala kirimu obujulizi gyemuli, bwe muba ddala nga muli bakkiriza.
249. Twaluta bweyatandika okutambula n’eggye yabagamba nti (okugenda tugenda naye mukimanye) Mazima ddala Katonda ajja kubagezesa nga akozesa omugga. Oyo yenna anaagunywako ajja kuba takyali wamuggye lyange. Naye oyo ataagekatankire oyo nno yewange ddala, mpozzi omuntu asobola okusenayo olusena lumu n’olubatulwe. Bonna baaganywa okugyako batono mubo. Bweyamala okugusomoka wamu n'abakkiriza abaali naye, nebagamba nti olwaleero luno tetuyinza kusobola Jjaluuta n'eggye lye. Bo abaakakasa nti bagenda kusisinkana Katonda kwe kugamba nti bimeka ebibiina ebitono ku lw'obuyinza bwa Katonda ebiwangula ebibiina eby'abantu abangi, era bulijjo Katonda abeera wamu n'abagumiikiriza.
252. Ebyo nno bigambo bya Katonda bye tukusomera ebyamazima, era mazima ddala ggwe (Nabbi Muhamadi) oli mu luse lw'abatume.
255. Katonda yekka, ateekwa okusinzibwa, yooyo omulamu obulamu obwolubeerera nga yeyimirizaawo yekka awatali kwetaaga buyambi bwonna, takwatibwa kusumagira wadde otulo, nannyini wa byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, tewali agenda kwetantala kuwolereza (munne) ewa Katonda okugyako nga amukkirizza, Katonda amanyi ebyo ebiri mumaaso gaabwe n'emabega wabwe ate bo tebasobola kumanya mubujjuvu kintu kyonna mwebyo byamanyi okugyako kyaba ayagadde, entebe ye ngazi okumalayo eggulu ne nsi, so nga ate eggulu ne nsi okubikuuma byombi tekimukaluubirira. Era ye yaasinga okuba owa waggulu, ow'ekitiibwa e kisuffu.
259. Oba twala ekyokulabirako kyoyo eyayita ku kyalo nga obusolya bwakyo buguddemu naagamba nti ekyalo kino Katonda agenda kukizzaawo atya nga kyafa dda! Katonda naamutta okumala emyaka kikumi oluvanyuma naamuzuukiza naamugamba nti omaze bbanga ki nga ofudde? Naamuddamu nti maze olunaku lumu oba ekitundu kyalwo, naamugamba nti nedda omaze emyaka kikumi, Ggwe tolaba emmere yo n'ebyokunywa byo tebyonoonese!!! Ate tunula ku ndogoyi yo (eweddeko ennyama neeba magumba meerere), nga ekigendererwa tukufuule ekyokulabirako eri abantu. Tunuulira olabe amagumba ge ndogoyi yo nga bwetugayunga olwo nno netugambaza ennyama, bweyamala okulaba nga bwegutyo bweguli naagamba nti kaakano nkitegedde Katonda asobola okukola buli kintu.
260. Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gyolizuukizaamu abafu, Katonda naagamba nti tokkirizanga! Ibrahim naagamba nti nakkiriza naye ekyo nkisaba lwakwongera mutima gwange kumatira, Katonda naamugamba nti kwata ebinyonyi bina obitwale obisale, obitemeteme bwomala ku buli lusozi oteekeko ekifi kimu, oluvanyuma obikoowoole bijja kuggya gyoli mubwangu, bulijjo kiteekwa okumanyibwa nti mazima Katonda nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga.
261. Abo, abawaayo ebimu ku bintu byabwe mu kubo lya Katonda, bafaananako omuntu asiga empeke emu emera n'eweeka ebirimba musanvu nga buli kirimba kiriko empeke kikumi, bulijjo Katonda ayongeza ebigabwabye eri oyo gwaba ayagadde, anti bulijjo Katonda mugazi mu mbeera ze zonna ate nga muyitirivu wa kumanya.
263. Ekigambo akyobuntu bulamu n'obutayogerera bubi musabi kirungi okusinga saddaaka egoberezebwako ebigambo ebitasanyusa, bulijjo Katonda ssi mwetaavu (era) ow'ekisa ekingi.
264. Abange mmwe abakkiriza temwonoonanga saddaaka zammwe kulwokuziraalasa n’okuzigoberezaako ebigambo ebinyiiza gamba nga omuntu awaayo emmaali ye olwabantu okumulaba naye nga takkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero, omuntu oyo alinga olwaazi oluliko ettaka namuttikwa w'enkuba naalutonnyako naaluleka nga lukalu, nabwekityo abantu abakola kulwabandabe byonna byebakola bifuumuuka nebaba nga tebabifunamu mpeera mumaaso g’a Katonda bwatyo nno Katonda talungamya bantu bajeemu.
265. Kyo ekifaananyi kyabo abawaayo emmaali yaabwe nga banoonya kusiima kwa Katonda n'okusinziira ku kukkiriza kwabwe Katonda okwa namaddala, baba nga ennimiro eri ku ttaka eggimu neetonnyebwamu namutikwa wenkuba ebibala byayo nebyebazaamu emirundi ebiri nebweba tefunye namutikwa wa nkuba waakiri olufuuyirize. Bulijjo Katonda alabira ddala byonna byemukola.
268. Obukodo n'okwagala okuwaayo ebitali birungi nga ye saddaaka, Sitane y'ebibassaamu, anti yyo Sitane ebatiisa obwavu neebalagira okukola ebibi so nga Katonda abalagaanyisa kisonyiwo okuva gyali nakubawa birungi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mubyagaba mumanyi nnyo.
269. Katonda awa okutegeera ensonga, oyo gwaba ayagadde era oyo aba aweereddwa okutegeera ensonga aba aweereddwa ebirungi ebiyitirivu. Tewali bayinza kwegasa nakino okugyako abalina amagezi agakola ennyo.
270. (Muteekwa mukimanye nti ) buli kyonna kyemuba muwaddeyo oba naziri yonna gyemuba mwetemye mazima Katonda abimanyi. Abeeyisa obubi nebatatuukiriza kyebateekwa kukola, tebagenda kufuna abataasa ku Katonda.
272. (Ebyo ebyogeddwa waggulu bimala okumatiza omuntu) Ssi ggwe ovunaanyizibwa ku kulungama kwaabwe, wabula Katonda alungamya oyo gwaba ayagadde, buli kirungi kyemuwaayo kigasa mmwe, (nga abakkiriza) buli kyonna kyemuwaayo mugenderera kudda eri Katonda, buli kirungi kyonna kyemuwaayo kigenda kubasasulwa mu bujjuvu era temugenda kulyazaamanyizibwa.
275. Abo abalya Ribba (emaali ey'okuwola okw’okwongeramu) ku lunaku lwokuzuukira tebagenda kuyimuka wabula nga bwayimuka oyo aba akubiddwa Sitane naagwa eddalu, ekyo nno lwakuba bagamba nti okusubula ne Ribba tebirina njawulo (anti byonna kuwaanyisiganya byamaguzi na kufuna magoba) wabula ekituufu kiri nti Katonda yasalawo nti okusuubula kuli Halaali, yo Ribba eri Haramu. Kale nno oyo anaatuukwako okubuulirira okuva eri Katonda naava kunkola eya Ribba ebyo byeyakola mukusooka tebimuvunaanwa, ensonga ze zisigadde wa Katonda we, naye oyo anaddayo kunkolagana eya Ribba, abo nno, be bantu b'omu muliro ba kugubeeramu obugenderevu.
276. Katonda agya emikisa mu mmaali ya Ribba kyokka naayaza emmaali etoolwamu Saddaaka, Katonda tayagala mujeemu yenna awalaaza empaka (alemera ku Ribba aba agugubidde ku kibi n'okujeemera Katonda).
280. Abanjibwa bwaba nga ali mu buzibu asaanidde alindirizibwe okutuusa lwanabeera nga ali mu mbeera mwasobolera okusasula, (naye mmwe ababanja) singa muba musonyiye bemubanja kyekirungi gyemuli singa mumanyi.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓا۟ إِذَا تَدَايَنتُم بِدَيْنٍ إِلَىٰٓ أَجَلٍۢ مُّسَمًّۭى فَٱكْتُبُوهُ ۚ وَلْيَكْتُب بَّيْنَكُمْ كَاتِبٌۢ بِٱلْعَدْلِ ۚ وَلَا يَأْبَ كَاتِبٌ أَن يَكْتُبَ كَمَا عَلَّمَهُ ٱللَّهُ ۚ فَلْيَكْتُبْ وَلْيُمْلِلِ ٱلَّذِى عَلَيْهِ ٱلْحَقُّ وَلْيَتَّقِ ٱللَّهَ رَبَّهُۥ وَلَا يَبْخَسْ مِنْهُ شَيْـًۭٔا ۚ فَإِن كَانَ ٱلَّذِى عَلَيْهِ ٱلْحَقُّ سَفِيهًا أَوْ ضَعِيفًا أَوْ لَا يَسْتَطِيعُ أَن يُمِلَّ هُوَ فَلْيُمْلِلْ وَلِيُّهُۥ بِٱلْعَدْلِ ۚ وَٱسْتَشْهِدُوا۟ شَهِيدَيْنِ مِن رِّجَالِكُمْ ۖ فَإِن لَّمْ يَكُونَا رَجُلَيْنِ فَرَجُلٌۭ وَٱمْرَأَتَانِ مِمَّن تَرْضَوْنَ مِنَ ٱلشُّهَدَآءِ أَن تَضِلَّ إِحْدَىٰهُمَا فَتُذَكِّرَ إِحْدَىٰهُمَا ٱلْأُخْرَىٰ ۚ وَلَا يَأْبَ ٱلشُّهَدَآءُ إِذَا مَا دُعُوا۟ ۚ وَلَا تَسْـَٔمُوٓا۟ أَن تَكْتُبُوهُ صَغِيرًا أَوْ كَبِيرًا إِلَىٰٓ أَجَلِهِۦ ۚ ذَٰلِكُمْ أَقْسَطُ عِندَ ٱللَّهِ وَأَقْوَمُ لِلشَّهَٰدَةِ وَأَدْنَىٰٓ أَلَّا تَرْتَابُوٓا۟ ۖ إِلَّآ أَن تَكُونَ تِجَٰرَةً حَاضِرَةًۭ تُدِيرُونَهَا بَيْنَكُمْ فَلَيْسَ عَلَيْكُمْ جُنَاحٌ أَلَّا تَكْتُبُوهَا ۗ وَأَشْهِدُوٓا۟ إِذَا تَبَايَعْتُمْ ۚ وَلَا يُضَآرَّ كَاتِبٌۭ وَلَا شَهِيدٌۭ ۚ وَإِن تَفْعَلُوا۟ فَإِنَّهُۥ فُسُوقٌۢ بِكُمْ ۗ وَٱتَّقُوا۟ ٱللَّهَ ۖ وَيُعَلِّمُكُمُ ٱللَّهُ ۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَىْءٍ عَلِيمٌۭ ﴿٢٨٢﴾
282. Abange mmwe abakkiriza bwe muba muwolaganye nga ebbanja liriko ekiseera ekigere muwandiikenga, omuwandiisi ateekeddwa okuwandiika endagaano wakati wa mmwe mubwenkanya, omuwandiisi tasaanye kugaana kuwandiika nga Katonda bweyayigiriza, (omuwandiisi) ateekwa awandiike, gwebabanja y'ateekwa okwogera ebiwandiikwa mu ndagaano era mu kukola kino ateekeddwa okutya Katonda mukamaawe, tasaanye kulekayo kintu kyonna kikwata ku bbanja eryo, gwebabanja bwaba wantegeera nnafu oba nga mwana muto oba nga tasobola kuba nti yaayogera ebiwandiikibwa mu ndagaano olwobutasobola obuli ku mubiri gwe, amulabirira y'ateekwa okwogera ebiwandiikibwa mu ndagaano nga akikola mu bwesimbu. (Nga mukola endagaano zino) muteekengawo abajulizi babiri nga basajja mu mmwe, bwebataba basajja babiri, kale abe omusajja omu n'abakyala babiri nga mubalonda mwabo bemulabye nga basaanira okuba abajulizi, era nga singa omukyala omu obujulizi buba bumutabuseeko mu mmwe, munne asobola okumujjukiza, abajulizi tebagaananga okujja bwe baba nga bayitiddwa temwekaanyanga okuwandiika ebbanja kalibe ttono oba ddene, muwandiike nga mulaga ekiseera kyalyo werigwerayo, okuwandiika ebbanja mu ngeri eyo kiragira ddala obwenkanya obuli mu mateeka ga Katonda, era kyekisinga okuyamba obujulizi obutabula mu ngeri yeemu kyekisinga okubayamba obutabaawo kubuusabuusa (nti ebbanja lyali lyenkanawa oba lyakusasula ddi) okugyako nga kubadde kugulana okw'ekiggwerawo kwemukolaganamu mu nkola eyabulijjo mwekyo tumulina musango bwe muba nga temukoze ndagaano, era nebwe muba nga mugulaanye musseewo abajulizi (mukimanye) omuwandiisi wendagaano n'omujulizi tebasaanye kuyisibwa bubi, naye nemumala mukikola kiba kikolwa kya bugyemu okuva mu mmwe, bulijjo muteekeddwa okutya Katonda era Katonda bulijjo abayigiriza ebyo ebirimu emigaso gyammwe anti Katonda amanyi buli kintu.
285. Omubaka yakkiriza naakakasa ebyo ebyassibwa ku ye nga biva ewa mukama omulabiriziwe Katonda we n'abakkiriza bwebatyo nebakakasa, buli omu ku bo yakkiriza Katonda ne ba Malayika be neebitabo bye n'ababakabe era nebagamba nti tetwawula wakati wa babakabe era nebagamba nti tuwulidde netugonda, Ayi Mukama Katonda waffe tukusaba ekisonyiwo era gyoli yeeri obuddo.
Share