قَالَ هَٰذَا رَحْمَةٌۭ مِّن رَّبِّى ۖ فَإِذَا جَآءَ وَعْدُ رَبِّى جَعَلَهُۥ دَكَّآءَ ۖ وَكَانَ وَعْدُ رَبِّى حَقًّۭا ﴿٩٨﴾
98 . (Dhul Karinaini) naagamba nti kuno kusaasira okuva eri Mukama Omulabirizi wange, n'olwekyo endagaano ya Mukama Omulabirizi wange bwelituuka, agenda kukifuula ekimerengufu, anti bulijjo endagaano ya Mukama omulabirizi wange ya mazima.