Surah Al-Isra ( The Night Journey )

Surah Al-Isra ( The Night Journey ) - Luganda Aya count 111

1 . Musukkulumu nnyo oyo eyatambuza omudduwe ekiro okumuggya ku muzikiti ogw'emizizo (Makkah) naagenda ku muzikiti ogusinga okuba ogw'ewala (Jerusalemu), ogwo ebitundu ebigwetoolodde bye twawa omukisa, olwo nno tumulage obumu ku bubonero bwaffe. Mazima yye (Katonda) y'awulira ennyo alaba.
2 . Era twawa Musa ekitabo era netukifuula eky'okulungamya eri abaana ba Israil (nga mbagamba) nti nga oggyeko nze temweteerangawo omukuumi omulala yenna.
3 . (Abange mmwe) ezadde ly'abo be twatwala ne Nuhu mu lyato (mubeere nga Nuhu), mazima ye yali muddu eyeebaza.
5 . Bwerituuka endagaano y'omulundi ogusooka ku gyombi, tugenda kubatumira abaddu baffe ab'amaanyi amasuffu, bagenda kutuuka ku buli kanyomero ka mayumba, (nga batuusa obuzibu ku buli omu), era (eyo) neeba nga ndagaano eteekwa okutuukirizibwa.
7 . (Netubagamba nti) bwe mulongoosa mulongoseza myoyo gya mmwe, naye bwe mwonoona era gye mwonoonera, endagaano y'enkomerero bwelijja (tulibasindikira abantu) boonoone ebyenyi bya mmwe (babakkakkanye), era bagenda kuyingira omuzikiti (Jerusalemu) nga bwe baaguyingira omulundi ogwasooka, olwo nno bye baliba bawangudde babibetente olubetenta.
8 . Bwe muyisa obulungi kisoboka Mukama omulabirizi wa mmwe okubasaasira, naye bwe muddamu naffe nga tuddamu, ate nga omuliro Jahannama twagufuula ekkomera lya bakaafiiri.
11 . Omuntu (olw'ebizibu ebimutuukako) yeesabira ebibi nga bwe yandyesabidde ebirungi, anti bulijjo omuntu ayanguyiriza.
14 . Olwo nno aliragirwa nti soma ekitabokyo, kimala bumazi okuba nti olwa leero ggwe wennyini ggwe ogenda okwebala.
16 . Bwetuba twagadde okuzikiriza ekitundu kyonna (olw'obujeemu bwakyo) tulagira abali mu byengera (okweyisa obulungi) naye ate nebeeyisa bubi mu kyo, olwo nno ekigambo (eky'okubonerezebwa) nekikikakata, olwo nno netukisesebbula olusesebbula.
17 . Mirembe emeka gye twazikiriza oluvanyuma lwa Nuhu (nga mingi!), Mukama omulabiriziwo amalira ddala ku bikwata ku bibonerezo bya baddube, okuba nti amanyidde ddala alaba.
18 . Oyo ayagala eby'amangu (ensi) tumwanguyiza muyo ekyo kye tuba twagadde si buli omu wabula oyo gwe tuba tusazeewo, oluvanyuma netumuteerawo omuliro Jahannama agenda kugwesogga nga avumirirwa nga agobeddwa (mu kusaasira kwa Katonda).
20 . Buli bamu (abalungi n'ababi ku nsi) tuwa bano nabali okuva mu bigabwa bya Mukama omulabiriziwo. Okugaba kwa Mukama omulabiriziwo tekussibwangako kkomo (ku muntu yenna kuno ku nsi).
21 . Tunula olabe engeri gye twasukkulumya abamu ku balala, wabula enkomerero y'erimu amadaala agasinga obukulu era y'erimu okusingana okusinga obulungi.
24 . Beetoowalize era wekkakkanye gye bali olw'okubasaasira.Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange basaasire bombi nga bwe bandera nga ndi muto.
25 . Mukama omulabirizi wa mmwe, y'asinga okumanya ebyo ebiri mu myoyo gya mmwe (bye mukwese), bwe muba nga muli abalongoosa, bulijjo musonyiyi w'abo abamwemenyera.
28 . Naye bwobanga tobawadde (olw'ensonga yonna), naye ate nga oyagala era nga osuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagambe ekigambo ekigonvu.
29 . Omukono gwo togufuulanga oguwanikiddwa ku nsingoyo (olw'obukodo), ate togwanjuluzanga n'ogumalayo (olw'okudiibuuda), n'ofuuka anenyezebwa atasigazizza.
30 . Mazima Mukama omulabiriziwo ayanjuluriza riziki oyo gwaba ayagadde, naawa mu ngeri y'empola (eri omulala) anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku baddube era alaba.
33 . Era temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okutta okugyako nga waliwo ensonga, oyo yenna attibwa nga alangibwa bwereere mazima twawa nannyiniye obuyinza (okutta eyatta omuntuwe) wabula mu kutta tosaanye kusukka kikomo anti mazima yye (attiddwa) ataasibwa (n'etteeka).
39 . Ebyo bye bimu ku ebyo Mukama omulabiriziwo byassa gyoli mu bigambo eby'amagezi, era tossanga ku Katonda ba katonda abalala, n'okakatibwako okukasukibwa mu muliro Jahannama, ng'ovumirirwa era nga ogobeddwa mu kusaasira kwa Katonda.
40 . (Abange mmwe abatakkiriza), Mukama omulabirizi wa mmwe yasalawo mmwe abawe abaana abalenzi ate yye neyeewa abawala mu ba Malayika! mazima mmwe mwogera ekigambo ekibi ennyo.
41 . Mazima twannyonnyola mu Kur’ani eno buli kintu (eri abantu), babe nga bajjukira (beebuulirire), wabula tekibongera okugyako okweyongera (okwesamba amazima).
42 . Bagambe (Ggwe Muhammad) singa Katonda aliko ba katonda abalala nga bwe bagamba, olwo nno (ba katonda abo) bandibadde beetaaga ekkubo eribatuusa ewa (Katonda) nnyini Arish.
47 . Ffe tumanyi ennyo lwaki bawuliriza bwe bajja okukuwuliriza, era tumanyi kye babaako mu nkiiko zaabwe ez'ekyama, mu kiseera awo abeeyisa obubi webagambira nti mazima gwe mugoberera talina kyali okugyako okubeera omusajja omuloge.
48 . Tunula olabe engeri gye bakukubira ebifaananyi nebatuuka okubula nebatasobola kulaba kkubo (libazza eri amazima).
49 . Era bagamba nti bwe tulimala okubeera amagumba (amamerengufu) netufuuka obutundutundu obutakyayawulwa na ttaka, abaffe tulizuukizibwa nga tuli bitonde bipya!.
50 . Gamba nti kamube mayinja oba byuma (mujja kuzuukizibwa).
51 . Oba mube ekitonde kyonna mu ebyo bye mulaba nga binene mu kutegeera kwa mmwe (era mujja kuzuukizikibwa) olwo nno bagamba nti ani alituzzaawo! Bagambe nti oyo eyabatandikawo omulundi ogwasooka y'alibazzaawo, bajja kukunyeenyeza emitwe nga bwe bagamba nti kyo kyaddi?, bagambe nti ddala kiri kumpi.
52 . (Kigenda kubaawo) ku lunaku lwalibakoowoola nemwanukula nga mumutendereza era mugenda kulowooza nti temwamala ku nsi okugyako akaseera katono.
56 . Bagambe nti kale musabe abo bemulowooza nti ba katonda nemuva ku ye, ate nga tebasobola kuggya ku mmwe kabi wadde (okukakyusa) okukazza ku mulala
59 . Tewali kitugaana kuweereza by'amagero, okugyako okuba nti abaasooka baabirimbisa nga bwe twaleetera abantu ba Thamud engamiya nga kyamagero eky'olwatu, nebeeyisa bubi ku yo, era tewali kituweerezesa byamagero okugyako okutiisa (abantu bave ku bujeemu).
60 . Era jjukira bwe twakugamba nti mazima Mukama omulabiriziwo yeetoolodde abantu (abo, n'olwekyo tobatya) era tetwaleeta ndooto eyo gye twakulaga okugyako olw'okugezesa abantu era mu ngeri y'emu omuti ogwakolimirwa mu Kur’ani nakyo kigezo era tubatiisa (nga tubabuulira) ebiribaawo ku lunaku lw'enkomerero naye tebibongera okugyako okubula okuyitirivu.
62 . Era (Sitaane) naagamba nti ggwe bwotyo bwolabye nti oyo omusukkulumizza ku nze. Singa onnindiriza (nemba mulamu) okutuuka ku lunaku lw'enkomerero nja kubuliza ddala ezzadderye okugyako abatono ennyo.
63 . Katonda naAgamba nti kale genda (ekyo nkikuwadde) naye buli alikugoberera mu bo mazima Jahannama yempeera yammwe eribasasulwa mu bujjuvu.
68 . Abaffe mulina obukakafu (Katonda) okuba nti tayinza kulagira ludda lwansi (gye mulaze) nelubamira, oba n'abasindikira kibuyaga, nemuba nga temuyinza kufuna mukuumi yenna.
71 . (Bajjukize) olunaku lwe tulikoowoola buli bantu nga tuyita linnya lya mukulembeze waabwe (mulungi oba mubi),oyo aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo abo nno bagenda kusoma ebitabo byabwe, era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde akantu akatono.
72 . Era oyo yenna muzibe mu bulamu buno obw'ensi ku lunaku lw’enkomerero agenda kuba muzibe, era nga abuze nnyo okuva ku kkubo.
73 . Newaakubadde nga baabula kata bakubuze okuva ku bubaka obwo bwe twakutumira ggwe (Nabbi Muhammad) obe nga ogunja ku ffe ekintu ekirala ekitali bwo, era singa okola ekyo balikufudde ffa nfe waabwe.
75 . Olwo nno (singa obagondera) twandi kukombesezza ku bibonerezo byo ku nsi, nga bibaziddwamu era netukukombesa ne ku bibonerezo byokufa, nga nabyo bibaziddwamu era tewandifunye akututasaako.
76 . Newaakubadde nga basemberera okukunyenya bakuggye mu nsi (yo) olwo nno bagikugobemu, ekyo nebwekituukirira nga gwe ofulumye, tebayinza kugituulamu okugyako ebbanga ttono.
77 . Eyo y'enkola (yaffe) kwabo betwatuma oluberyeberyelwo mu babaka baffe, toyinza kulaba nkyukakyuka yonna mu nkola yaffe.
78 . Yimirizaawo e sswala enjuba nga ekyuse okutuusa ku nzikiza y'ekiro nabwekityo Kur’ani y'okumakya (Sswala ya Subuhi) mazima Kur’ani y'okumakya ba Malayika bagibaako.
79 . Ne mu kiro saala nga ogisoma (Kur’ani), (ekyo) nga nnyongeza gyoli olwo nno Mukama omulabiriziwo ajja kukuzuukiza mu kifo ekiweesa ekitiibwa.
80 . Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, nyingiza mu mulyango ogwa mazima era onfulumize mu mulyango ogwamazima, era ompe okuva gyoli obusobozi obunzirukirira.
87 . (Era wabisigaza ssi lwa nsonga ndala yonna) okugyako okusaasira okuva eri Mukama omulabiriziwo, anti mazima ebirungibye ku ggwe bisuffu.
93 . Oba obe n’enyumba nga yazimbwa mu Zaabu, oba olinnye mu ggulu era tetujja kukkiriza kulinnya kwo okugyako nga otuleetedde ekitabo netukisoma. Gamba ggwe (Muhammad) Mukama omulabirizi wange musukkulumu, nalimbaddeko (ekintu kyona) okugyako okubeera omuntu obuntu omubaka!.
96 . Bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange nammwe, anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala era alaba ebikwata ku baddube.
97 . Oyo yenna Katonda gwalungamya, yye, yaaba omulungamu ate oyo gwaba abuzizza oba toyinza kubafunira bayambi batali yye, (Katonda) era tugenda kubazuukiza ku lunaku lw'enkomerero nga babutamidde ebyenyi bya bwe nga ba Muzibe ba Kasiru, ba Kiggala, obuddo bwa bwe buliba muliro Jahannama buli lwe gunaakenderanga nga tugubaseesezamu.
99 . Abaffe tebalaba nti mazima Katonda oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi asobola okuddamu okubatonda nga bwe baali, era nti yabassaako ekkomo mu bulamu bwa bwe eritaliimu kubuusabuusa, ate olwo nno abeeyisa obubi bagaana (buli kintu) okugyako (okukalambira) ku bukaafiiri.
100 . Gamba ggwe (Muhammad) nti singa mmwe mufuga amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wange, mwandibadde mukwatirira olw'okutya okusaasaanya bulijjo omuntu muganiriza.
102 . (Musa) naagamba nti mazima omanyi ggwe (Firawo) tewali assizza (by'amagero) ebyo okugyako Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu ne nsi, abireese nga bujulizi (okulaga obutuufu bwe bigambo byange) era mazima nze nkulabira ddala ggwe Firawo nga ozikiridde.
105 . (Kur’ani eno) twagissa na mazima era yaleeta mazima era tetwakutuma okugyako lwa kuba nga owa amawulire ag'essanyu era nga oli mutiisa.
106 . Era Kur’ani twagyawulamu ebitundu obe nga ogisomere abantu mu ngeri y'empola mpola era twagissa olussa (olw'ebitundu tundu).
108 . Era nga bagamba nti Mukama omulabirizi waffe musukkulumu, endagaano ya Mukama omulabirizi waffe bulijjo etuukirizibwa.
Share