3. Era yye yooyo eyagaziya ensi Nassa mu yo e nsozi n'emigga, ate nabuli bibala, yateeka mu yo emitendera ebiri (ekisajja n'ekikazi) obudde bw'ekiro abubikkisa emisana. Mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abafumiitiriza.
4. Ate ne mu ttaka mulimu ebitundu ebiriraanye (naye ate tebifaanagana) era nga mulimu amalimiro ag'e Nzabibu era nga mulimu n'ebimera n'emitende ekikolo eky'emiti emingi n'ekikolo eky'omuti ogumu (nga byonna) binywekerezebwa ku mazzi ge gamu, era tusukkulumya ebimu ku binnaabyo mu kuwooma, mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abalina amagezi.
5. Bwoba oli wa kwewuunya, kyewuunyisa ekigambo kyabwe bwe bagamba nti: bwe tulimala okufuuka ettaka (nga tufudde) abaffe tuliddamu ne tutondebwa, abo nno beebo abaajeemera Mukama omulabirizi waabwe era abo enkoligo zigenda kubeera mu nsingo zaabwe era abo be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo.
6. Bakusaba batuusibweko ekibi mu bwangu mu kifo ky'okuba nga bandibadde bakusaba birungi, ate nga ebibonerezo bingi ebyaliwo oluberyeberye. era mazima Mukama Omulabiriziwo ajjudde okusonyiwa eri abantu ku kweyisa kwa bwe obubi, era ddala Mukama omulabiriziwo muyitirivu wa bibonerezo.
11. (Buli muntu) aliko (ba Malayika) abakolera mu mpalo, buli kiseera babeera mu maasoge n'emabegawe nga bamukuuma nga ekyo kiragiro kya Katonda, mazima Katonda takyusa mbeera nnungi eri ku bantu okugyako nga bo bennyini be bakyusizza, Katonda bwaba ayagaliza obubi okutuuka ku bantu tewali ayinza kubuzzaayo, era tebayinza kufuna ng'oggyeko Katonda mukuumi mulala yenna.
14. Okusaba okutuufu kwolekezebwa yye, bo abo abasaba atali yye tebasobola kubaanukula ku kintu kyonna, okugyako okuba nga omuntu agolodde ebibatu bye eri amazzi agaleete eri omumwa gwe naye nga tasobola kugatuuka. Era tekuli okusaba kwa bakaafiiri okugyako okubeera mu bubuze.
16. Gamba (Ggwe Muhammad) nti ani Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi bagambe nti: Katonda ate bagambe nti ate olwo mweteerawo mutya abakuumi, yye ne mumuleka, so nga ekirungi n'ekibi ebibatuukako tebiri mu mikono gya bwe, bagambe nti abaffe muzibe n'omuntu alaba benkana oba ebizikiza n'ekitangaala byenkana oba Katonda bamussaako ababeezi nga batonda nga okutondakwe nekiba nti okutonda (okw'emirundi ebiri) kwe kwabatabula, bagambe nti Katonda ye Mutonzi wa buli kintu, era yye y'oyo ali omu (obwannamunigina) nnantalemwa.
19. Abaffe oyo amanyi nti ebyassibwa ku ggwe okuva ewa Mukama omulabiriziwo ge mazima ayinza okuba nga oyo muzibe (atalaba mazima ago). Mazima aba magezi be bajjukira.
21. Era abo abayunga ekyo Katonda kyeyalagira okuyunga era ne batya ne babeera nga buli kiseera beeraliikirira Mukama omulabirizi waabwe, era ne batya okubalibwa okubi (okutaliimu kulekera kwonna).
22. Era abo abagumiikiriza ku lw'okwagala okubeera ku ludda lwa Mukama omulabirizi waabwe era nebayimirizaawo e sswala, era nebawaayo ku ebyo bye twabagabirira nga bakikola mu kyama ne mu lwatu era nga ekibi bakiggyisaawo ekirungi, abo nno balifuna ekifo ekisiimwa ku nkomerero.
23. (Ekifo ekyo) ze jjana ez'olubeerera zebaliyingira, nga baliba wamu n'abo abalongoosa mu bakadde babwe, ne be baali nabo mu bufumbo, ne zzadde lya bwe ba Malayika baliba bayingira gye bali, nga bayita mu buli mulyango.
25. Ate abo abamenya endagaano za Katonda oluvanyuma lw'okuzikakasa, ne bakutula ekyo Katonda kye yalagira okuyunga era ne boonoona mu nsi abo baliko ekikolimo era bagenda kuweebwa e nyumba embi (ku lunaku lw'enkomerero).
26. Katonda agaziya riziki eri oyo gwaba ayagadde era agifundiza (gwaba ayagadde, bo abantu abalowoolereza mu by'ensi) badda mu kusanyuka n'obulamu obw'ensi so nga ate obulamu bw'ensi tebulina kye buli ku bulamu bw'enkomerero okugyako mpozzi lusanyuka lwa mulundi gumu.
28. (Abeenenya) be bo abakkiriza Katonda, era nga emitima gya bwe gitebenkera olw'okwogera ku Katonda. Abange anti bulijjo emitima gitebenkera olw'okwogera ku Katonda.
30. Nabwekityo twakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) mu bantu nga oluberyeberye lwa bwe waaliyo ebibiina bingi obe nga obasomera ekyo kye twassa gyoli, nga bali ku kuwakanya Katonda ow'ekisa ekingi, bagambe nti yye ye Mukama omulabirizi wange, tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye, ye gwenneekwasizza era gyali gye njolekeza okwenenya kwange.
36. N'abo be twawa ekitabo basanyuka olw'ekyo ekyassibwa gyoli ate mu bibiina byabwe (ebimu) mulimu abawakanya ebimu ku bye watumwa nabyo, bagambe nti nalagirwa okuba nga nsinza Katonda era mbe nga simugattako kintu kyonna, nkowoola abantu okudda gyali era gyali yeeri obuddo bwange.
37. Era bwe tutyo bwe twassa Kur’ani nga esalawo ku buli kintu nga eri mu luwarabu, singa ogoberera okwagala kwa bwe oluvanyuma lw'okumanya okukujjidde, tolina mukuumi wadde omutaasa ku Katonda.
41. Abaffe tebalaba nti mazima ffe mpolampola tugenda tukendeeza ensi nga tutandikira gy'ekoma, kiri nti Katonda yasalawo tewali agobereza kigambo ku kusalawo kwe, era nga ye mwangu mu kubala.
43. Era abo abaakaafuwala bagamba nti toli mutume, bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange na mmwe, n'abo abalina okumanya nga kuva mu kitabo (Abayudaaya na Banaswara).