Surah Hud

Surah Hud - Luganda Aya count 123

1. Alif Laam Raa, ekitabo kino e bigambo by'akyo byasengekebwa oluvanyuma nebinnyonnyolwa mu bujjuvu okuva ewa Katonda akola buli kintu ng’asinziira ku nsonga ng’ate amanyi mu bujjuvu buli kintu.
2. Kitegeeza abantu nti temusinzanga kintu kyonna wabula Katonda yekka mazima nze gye muli ndi mutiisa (ku bibonerezo bye) era omusanyusa (olw'emperaye eri abalongoosa).
3. (Era kibagamba) nti mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwenenyeze olwo nno ajja kubeeyagaza olweyagaza olulungi okutuusa ku kiseera ekigere era buli oyo yenna ateekeddwa okufuna obulungi agenda kumuwa obulungibwe, naye bwe muva ku ekyo mazima nze mbatiirira ebibonerezo by'olunaku oluzibu.
5. Abange mazima bbo (abatakkiriza) bakweka ebifuba byabwe babe nga beekweka Katonda, abange (mukimanye nti) ne mu kiseera webeebikkira engoye zaabwe Katonda amanya ebyo bye bakweka ne bye boolesa, anti mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
6. Tewali kitonde kyonna mu bitambula ku nsi okugyako nga okugabirirwa kwa kyo kuli ku Katonda, era amanyi byonna ebikikwatako mu bulamu bw'ensi n’obwoluvanyuma, buli kimu kiri mu kitabo ekyeyolefu.
13. Oba bagamba nti (Kur’ani eno Muhammad) yagigunjawo bagambe nti kale muleeteeyo essuula kkumi enjiiye ezifaanana (Kur’ani) era ng'oggyeko Katonda muyite yenna gwe musobodde (abayambeko) bwe muba nga mwogera mazima.
14. Bwe bataabaanukule, olwo nno mumanye nti mazima yyo (Kur’ani) yassibwa na kumanya kwa Katonda era tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, abaffe mmwe mwewaddeyo ewa Katonda (ne musiramuka).
17. Abaffe balimbisa oyo (Muhammad) ku bunnyonnyofu obuva ewali Mukama omulabiriziwe, era nga abusoma omujulizi (Jiburilu) ava ewa Katonda nga n'oluberyeberyelwe waliwo ekitabo kya Musa nga kiraga ekkubo era nga kusaasira, abo (Muhammad n'abantube) bagikkiriza ate ebibiina byonna ebitagikkiriza omuliro y'endagaano yaabwe, tobeeranga mu kugibuusabuusaamu, mazima yyo ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo. Naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza.
26. (Mbategeeza) nti temusinza kintu kyonna okugyako Katonda mazima nze mbatiiriddeko e bibonerezo by'olunaku olw'okuluma obugigi.
28. Nuhu naagamba nti abange bantu bange mulaba mutya singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange era nampa okusaasira okuva gyali naye mmwe ekyo ne mutakiraba, abaffe tusobola okukibawaliriza ng’ate mmwe temukyagala.
29. Era abange mmwe abantu bange (kye mbagamba) si kibasabirako sente, empeera yange teri wantu wonna okugyako ewa Katonda (era nnyaniriza abo bonna ababa bangoberedde) era siri nze w'akugoba abo abakkiriza (ne bwe bataba ba bitiibwa) mazima ddala bo baakusisinkana Mukama omulabirizi waabwe naye mazima ddala nze mbabala mmwe nga muli bantu abatamanyi.
35. Oba bagamba nti (Muhammad, Kur’ani) yagunja ngunje, bagambe bwe mba nagyegunjirawo ekyonoono ekyo kiri kunze, naye nange sirina kakwate ku ebyo bye mwonoona.
37. Kale kola eryato nga naffe tukutunuulidde era okole okusinziira ku ndagirira yaffe era toyogera nange ku bikwata ku abo abeeyisa obubi, mazima ddala bo baakufiira mu mazzi.
40. (Baabeera bwe batyo) okutuusa ekiragiro kya ffe lwe kyajja ettanuuru neefukumuka amazzi netugamba (Nuhu) nti pakira mu lyo, ngojja mu buli mutindo gwabiramu bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, era pakiramu abantu b'o mu maka go okugyako oyo eyakakatako edda ekigambo (ekyokuzikirira) era pakiramu buli yenna eyakkiriza, wabula tewaali bakkiriza baali naye okugyako batono.
41. (Nuhu) naagamba nti mulinnye e lyato, okutambula kwa lyo n'okuyimirira kwa lyo byonna bibeewo ku lwe linnya lya Katonda, mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi.
42. Nalyo neriseeyeeya nabo, mu mayengo agenkana ensozi, mu kiseera ekyo Nuhu yakowoola Mutabaniwe eyali awo ku mabbali g'elyato naamugamba nti mwana wange linnya ogende naffe tosigala n'abakafiiri (n'ozikirira).
43. (Omwana) naagamba nti njakulinnya olusozi lujja kumponya amazzi. (Nuhu) naagamba nti tewali ayinza kuwonya olwa leero ( muntu n'asimattuka ) ku kiragiro kya Katonda, okugyako Katonda gwanaaba asaasidde. Awo nno amayengo ga yawula wakati waabwe (omwana) naabeera mu baasaanawo.
44. (Ng'ebitonde bimaze okuzikirira) waalangirirwa nti owange ttaka mira amazzi naawe ggulu lekera awo okutonnyesa enkuba era amazzi gaakalira ensonga neekoma awo eryato neritereera ku lusozi oluyitibwa Juudi era newalangirirwa nti okwesamba okusaasira kwa Katonda kubeere ku bantu abeeyisa obubi.
45. Nuhu n'akoowoola Mukama omulabiriziwe naagamba nti Mukama omulabirizi wange mazima Mutabani wange y'omu ku bo mu maka gange era mazima endagaano yo ya mazima era ggwe osinga abalala bonna okugoba e nsonga.
48. Newalangirirwa nti owange Nuhu kka (ove mu lyato), ebiva gye tuli, gibe mirembe na mikisa ku ggwe, ne ku bibiina bya bantu ebiri naawe ne ku bibiina bya bantu betujja okweyagaza mu nsi, oluvanyuma ebibonerezo ebiruma ennyo bibatuukeko okuva gye tuli.
50. Era ab'ekika kya A’di twabatumira muganda waabwe Hudu naagamba nti abange abantu bange musinze Katonda, ngoggyeko yye tewali kirala kyonna kisinzibwa, temuli mmwe okugyako abagunja obugunja bye musinza.
52. Era abange bantu bange, mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe, oluvanyuma mwenenye mudde gyali, ajja kubasindikira okuva mu bire waggulu enkuba etonnya ngeddingana, era abongere amaanyi ku maanyi ga mmwe, era temukyukanga nemuva ku ekyo ne muba aboonoonyi.
53. Nebagamba nti owange ggwe Hudu totuleetedde bujulizi bweyolefu (ku ebyo byogamba) ate era naffe tetuyinza kuleka ba katonda baffe olw'okuba ogambye, era ffe tetugenda kukukkiriza.
54. (Okusinziira ku ebyo by'oyogera) tetulina kye tugamba okugyako nti abamu ku ba katonda baffe be bakuliko mu ngeri eyo embi. (Hudu) naagamba nti era mazima nze njuliza Katonda na mmwe mujulire nti ddala nze ndi wala n'ebyo bye mugatta ku Katonda.
56. Mazima nze neekwasizza Mukama Katonda omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kitambula ku nsi okugyako yye y'akutte akawompo kakyo, mazima Mukama omulabirizi wange ali ku kkubo ggolokofu.
57. Bwe munaava ku ekyo mazima nze mmaze okubatuusaako ekyo kye nnatumwa nakyo era Mukama omulabirizi wange mu kifo kya mmwe ajja kussaawo abantu abalala abatali mmwe, era temulina kabi kemugenda kumutuusaako. Mazima Mukama omulabirizi wange buli kyonna ekikolebwa akilondoola (tewali kimubuuka).
59. Abantu abo ab'ekibiina kya A’di baawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe ne bajeemera ababakabe ne bagoberera ekigambo kya buli eyeekuza awalaaza empaka.
60. Mu nsi muno nebagoberezebwako ekikolimo, mu ngeri yeemu ne ku lunaku lw'enkomerero, abange mazima ab'ekika kya A’di baajeemera Mukama omulabirizi waabwe abange okubula okwewala ennyo kutuuke ku b'ekika kya A’di abantu ba Hudu.
61. Bo ab'ekika kya Thamud twabatumira Muganda waabwe Swaleh, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaayo kintu kyonna kigwanidde kusinzibwa okugyako yye, yye yeeyabatandikawo ng’abaggya mu nsi, ate naabakwasa obuyinza okugikulaakulanya, kale mumwegayirire, era mwenenye, mudde gyali mazima Mukama omulabirizi wange ali kumpi ayanukula (abamusaba).
62. Nebagamba nti owange Swaleh, mazima obadde mu ffe, nga tukulinamu essuubi, nga kino tekinnabaawo. Otugaana okusinza ebyo bakadde baffe bye basinza era mazima ffe tulina okubuusabuusa okujjudde okutankana ku ekyo ky'otuyita okujja gye kiri.
63. Naagamba nti abange bantu bange, mukiraba nti singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange, era nenfuna okusaasira okuva gyali, kale ani anantaasa ku Katonda bwe mmugyemera (singa nkolera ku bya mmwe), temulina kye munnyogera okugyako okufiirwa.
64. Abange bantu bange eno engamiya evudde wa Katonda nga kabonero gye muli (okukakasa obwa Nabbi bwange), n'olwekyo mugireke erye ebiri mu nsi ya Katonda, temugezaako ne mugituusaako akabi konna nekibaviirako okutuukibwako ebibonerezo ebya mangu.
65. (Nebamuwakanya era) nebagifumita olwo nno ye (Swaleh) kwe kubagamba, mweggalire mu mayumba gammwe okumala ennaku ssatu (zokka), eyo ndagaano etalimbisibwa.
66. Ekiragiro kya ffe bwe kyamala okujja, twawonya Swaleh n'abo abakkiriza abaali naye olw'okusaasira okuva gye tuli era netubawonya ne mu buswavu obw'olunaku olwo, anti mazima Mukama omulabiriziwo ye wa maanyi nantakubwa ku mukono.
67. Abo nno abeeyisa obubi ne batuukibwako olubwatuka (olw'amanyi) olwo nno nebakeesa nga mirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe.
68. (Engeri gye baazikirizibwamu) baali nga abatawangalirangako mu go, abange mazima abantu b'ekika kya Thamud baawakanya Mukama omulabirizi omulezi waabwe, abange abantu ba Thamud babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda.
69. Mazima ababaka baffe (Ba Malayika) bajja eri Ibrahim n'amawulire ag'essanyu, nti (Yye ne Mukyalawe bajja kuzaala omwana Ishaka) ne bamugamba nti mirembe naye naabagamba (ng’abaddamu) nti mirembe, waayitawo akaseera katono naabaleetera ennyana enjokye.
70. (Ibrahim) bwe yalaba emikono gya bwe nga tegituuka ku nnyama naabekengera, (Ba Malayika) bo kwe kumugamba nti totutya, mazima ffe tuli ba Malayika tutumiddwa eri abantu ba Luutu (okubazikiriza).
71. Nga mukyala wa Ibrahim (Sarah) ayimiridde (abawulira) naaseka (nga yeewuunya olw'ebyo bye yawulira) olwo nno ne tumuwa amawulire ag'essanyu ag'okuba nti ajja kuzaala Ishaka ate nga n’oluvanyuma lwa Ishaka wajja kuzaalibwayo Yakub (omuzzukulu).
72. (Omukyala Sarah bwe yamala okufuna amawulire g’okuzaala Ishaka) naagamba (nga bwe yewuunya) nti: gano nga mawano nze (Sarah) ngenda kuzaala omwana nga ndi mukadde bwe nti nga n'ono baze kinvinvi, mazima kino kintu ekye wuunyisa nnyo.
73. (Ba Malayika) ne bagamba nti: butya bwe weewuunya ekiragiro kya Katonda! okusaasira kwa Katonda n'emikisagye bibeere ku mmwe abantu benju (ya Ibrahim). Mazima Katonda atenderezebwa nnyo wa kitiibwa nnyo.
74. Ensisi bwe yamala okuggwa ku Ibrahim, ng’amaze n'okufuna amawulire ag'essanyu, yagenda mu maaso nga atukaayanya (nga awolereza) abantu ba luutu.
75. Mazima Ibrahim yali wa kisa nnyo ate nga asaba nnyo Katondawe era nga amwenenyeza ku buli nsonga.
76. (Ba Malayika nebamugamba nti) owange Ibrahim ebyo biveeko mazima kimaze okutuuka ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo era mazima bo bagenda kujjirwa ebibonerezo ebitali bya kuzzibwayo.
77. Ababaka baffe bwe bajja ewa Luutu, tebaamusanyusa naawulira bubi (olw'okuba yali tasobola kubakuuma) era naagamba nti luno lunaku luzibu.
80. (Luutu) naagamba nti (neegomba) singa mbadde nina amaanyi ku mmwe, oba empagi engumu gyensobola okwesigamako, (abantu abasobola okuntaasa).
81. (Ba Malayika) nebagamba nti owange Luutu ffe tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo (abo) tebajja kukutuukako, tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro, era takyuka omu ku mmwe (naatunula emabega, genda n'abantubo) okugyako Mukyalawo, anti mazima kiri nti ajja kutuukwako ebinaatuuka ku bali. Mazima ekiseera ekibalagaanyisiddwa bwe budde bw'oku makya, obudde bw'oku makya tebuli kumpi!.
82. (Ekitundu mwe baali babeera), ekiragiro kyaffe bwe kyajja, waggulu wa kyo wetwazza wansi era netukiwandagazaako amayinja amakole mu bbumba ejjokye nga gajjira kumukumu.
83. (Amayinja ago) nga malambe okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ekibonerezo ng'ekyo tekiri wala ku buli abo bonna abeeyisa obubi.
84. Ate abe Madiyana twabatumira Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaawo kirala kyonna kye mulina kusinza ekitali yye, temukendeezanga ebipimo ne minzani, mazima nze mbalaba nga musigala muli bulungi (bwe muba temukendeezezza mu bipimo ne minzani). Era mazima nze mbatiiriddeko ebibonerezo by'olunaku olugenda okwetooloola buli kimu.
86. Ebilekeddwa Katonda (nga oggyeko byayogedde wa ggulu ebitaliimu kukumpanya bantu) bye birungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza. Era nze siri kalondoozi ku mmwe.
88. Naagamba nti abange bantu bange mulaba nti singa mbadde ku bulungamu obwava ewa Mukama omulabirizi wange, nampa ne Riziki ennungi ate nnyinza okubaleka (nessibagambako) ate era saagala kubaawukanako nenzira ku ebyo bye mbagaana sirina kyengenderera kyonna okugyako okulongoosa nga bwemba nsobodde, era okulungama kwange tekuli okugyako ewa Katonda yye gwenneekwasiza era gyali gyengenda okudda.
90. Era musabe Mukama omulabirizi wa mmwe ekisonyiwo olwo nno mwenenye okudda gyali mazima Mukama omulabirizi wange musaasizi mwagazi nnyo (wa bitondebye).
92. Naagamba nti abange bantu bange ekika kyange kye ky'ekitiibwa gye muli okusinga Katonda ne mutuuka okumussa emabega wa mmwe nga mumukubye amabega mazima Mukama omulabirizi wange yeetoolodde byonna bye mukola.
95. Nebaba nga abatagabeerangamu, abange abantu be Madiyana babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda nga abantu ba Thamud bwe beesamba okusaasira kwa Katonda.
100. Ebyo bye bimu ku bigambo ebikwata ku bitundu bye twazikiriza, tubikutegeeza ggwe (Muhammad), mu byo mulimu ebikyaliwo nga n'ebirala byasaanawo.
102. Bwe kutyo bwe kuba okukwata kwa Mukama omulabiriziwo. Bwakwata e bitundu nga biri mu mbeera ey'okweyisa obubi mazima okukwata kwe kuluma nnyo era kuyitirivu.
103. Mazima ekyo mulimu ekyokulabirako eri oyo atya ebibonerezo byo lunaku lw'enkomerero, olwo lwe lunaku ku lwalwo abantu bonna bagenda kukunganyizibwa era olwo olunaku abantu bonna baakulubaako.
104. Era tetululindiriza okugyako okutuuka ku kiseera kya lwo ekigere.
105. Olunaku bwe lulituuka teri muntu yenna agenda kwogera okugyako lwa kukkiriza kwa Katonda, nga mu bo mulibaamu abonoonefu n'abalongoofu.
107. Baakugubeeramu ebbanga eggulu (omusanvu) ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ekiseera Mukama omulabiriziwo kyaliba ayagadde mazima Mukama omulabiriziwo akola ekyo kyaba ayagadde.
108. Bo abo abaweebwa obulongoofu baakuyingira e jjana nga baakugibeeramu ebbanga eggulu omusanvu ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ebbanga Mukama omulabiriziwo lyaliba ayagadde nga okwo kuweebwa okutalibaako kutaataaganyizibwa.
110. Mazima twawa Musa ekitabo ne kyawukanwamu, singa si kigambo ekyava ewa Mukama omulabiriziwo ekyakulembera, eggoye lyandisaliddwawo (nebazikirira) era mazima bo bali mu kubuusabuusa era nga batankana (ku nsonga ya Kur’ani).
112. Kale beera mwesimbu nga bwolagiddwa, n'abo abeenenyezza naawe era temubeera ba kiwagi, anti mazima ye (Katonda) bye mukola abiraba.
115. Era gumiikiriza, bulijjo Katonda tayinza butasasula mpeera ya bakozi ba bulungi.
117. Mukama omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza ebitundu mu bulyazaamaanyi nga ate abantu baabyo bakozi ba bulungi.
119. Okugyako oyo Mukama omulabiriziwo gwaba asaasidde. N'olwekyo kyeyava abatonda, era kyakakata ekigambo kya Mukama omulabiriziwo nti ngenda kujjuza omuliro Jahannama nga nzija mu majinni n'abantu okutwalira awamu.
Share