Surah At-Takathur ( The piling Up )

Surah At-Takathur ( The piling Up ) - Luganda Aya count 8

1. Okunoonya okufuna ebingi, kubalabankanyizza (ne kubajja ku kugondera amateeka ga Katonda).
3. Nedda, kyaddaki mujja kumanya (mu kiseera ky'okufa)
4. Ate era oluvanyuma, kyaddaki mujja kumanya (nga muyingidde kabbuli)
5. Nedda, singa nga mubadde mumanyi mu bukakafu bw'okumanya (temwandirabankanyiziddwa na kukungaanya bingi)
6. Mujja kulabira ddala omuliro “Jahiim”.
7. Ate oluvanyuma omuliro ogwo mujja kugulaba mugutegeerere ddala.
8. Ate ddala oluvanyuma mugenda kubuuzibwa e byengera bye mwafuna ku nsi (mwabifuna mu makubo ki, era mwabisaasaanya mu makubo ki).
Share